Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 63

Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda.

63 (A)Ayi Katonda, oli Katonda wange,
    nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
emmeeme yange ekwetaaga,
    omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira,
nga nnina ennyonta ng’ali
    mu nsi enkalu omutali mazzi.

(B)Nkulabye ng’oli mu kifo kyo ekitukuvu,
    ne ndaba amaanyi go n’ekitiibwa kyo.
(C)Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu;
    akamwa kange kanaakutenderezanga.
(D)Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna;
    nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
(E)Emmeeme yange enekkutanga ebyassava n’obugagga;
    nnaayimbanga nga nkutendereza n’emimwa egy’essanyu.

(F)Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange,
    era nkufumiitirizaako mu ssaawa ez’ekiro.
(G)Olw’okuba ng’oli mubeezi wange,
    nnyimba nga ndi mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
(H)Emmeeme yange yeekwata ku ggwe;
    omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.

(I)Naye abo abannoonya okunzita balizikirizibwa,
    baliserengeta emagombe.
10 Balisaanawo n’ekitala;
    ne bafuuka emmere y’ebibe.

11 (J)Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda;
    bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda,
    naye akamwa k’abalimba kalisirisibwa.

Zabbuli 98

Zabbuli.

98 (A)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
    kubanga akoze eby’ekitalo.
Omukono gwe ogwa ddyo,
    era omukono omutukuvu, gumuwadde obuwanguzi.
(B)Mukama ayolesezza obulokozi bwe,
    era abikkulidde amawanga obutuukirivu bwe.
(C)Ajjukidde okwagala kwe okutakoma
    n’obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isirayiri.
Enkomerero z’ensi yonna zirabye
    obulokozi bwa Katonda waffe.

(D)Muyimbire Mukama n’essanyu lingi mwe ensi yonna;
    muyimbe ennyimba mu maloboozi ag’essanyu.
(E)Mutendereze Mukama n’ennanga ez’enkoba;
    n’ennanga ez’enkoba n’amaloboozi ag’okuyimba,
(F)n’amakondeere n’eddoboozi ly’eŋŋombe.
    Muyimbe n’essanyu mu maaso ga Mukama era Kabaka.

(G)Ennyanja eyire ne byonna ebigirimu,
    n’ensi ne byonna ebigirimu bijaguze.
(H)Emigga gikube mu ngalo
    n’ensozi zonna ziyimbire wamu olw’essanyu;
(I)byonna biyimbe mu maaso ga Mukama,
    kubanga ajja okulamula ensi.
Aliramula ensi mu butuukirivu;
    aliramula amawanga mu bwenkanya.

Zabbuli 103

Zabbuli Ya Dawudi.

103 (A)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange;
    ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu.
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange,
    era teweerabiranga birungi bye byonna.
(B)Asonyiwa ebibi byo byonna,
    n’awonya n’endwadde zo zonna.
Anunula obulamu bwo emagombe, n’akusaasira
    era n’akwagala n’okwagala okutaggwaawo.
(C)Awa emmeeme yo ebintu ebirungi byeyagala;
    obuvubuka bwo ne budda buggya ng’empungu.[a]

Mukama asala mu butuukirivu ne mu bwenkanya,
    ensonga z’abo bonna abajoogebwa.

(D)Yamanyisa Musa ebyo by’ayagala,
    n’alaga abaana ba Isirayiri ebikolwa bye.
(E)Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira,
    tasunguwala mangu, era alina okwagala okutaggwaawo.
(F)Taasibenga busungu ku mwoyo,
    era tasunguwala kumala bbanga lyonna.
10 (G)Tatukola ng’okwonoona kwaffe bwe kuli,
    wadde okutusasula ng’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri.
11 (H)Ng’eggulu bwe litumbidde ennyo waggulu w’ensi,
    n’okwagala kwe bwe kuli okunene bwe kutyo eri abo abamutya.
12 (I)Ebibi byaffe abituggyako
    n’abitwala wala ng’ebuvanjuba bw’eri ewala okuva ebugwanjuba.

13 (J)Kitaawe w’abaana nga bw’asaasira abaana be,
    ne Mukama bw’atyo bw’asaasira abo abamutya.
14 (K)Kubanga amanyi nga bwe twakolebwa
    era ng’ajjukira nti tuli nfuufu.
15 (L)Wabula omuntu, ennaku z’obulamu bwe ziri ng’omuddo;
    akula n’agimuka ng’ekimuli eky’omu nnimiro;
16 (M)empewo ekifuuwa, ne kifa;
    nga ne we kyali tewakyajjukirwa.
17 Naye okwagala kwa Katonda eri abo abamutya tekuggwaawo
    emirembe gyonna,
    n’obulokozi bwe eri abaana b’abaana baabwe.
18 (N)Be bo abakuuma endagaano ye
    ne bajjukira okugondera amateeka ge.

19 (O)Mukama anywezezza entebe ye ey’obwakabaka mu ggulu,
    n’obwakabaka bwe bufuga ensi yonna.

20 (P)Mwebaze Mukama mmwe bamalayika be,
    mmwe ab’amaanyi abakola ky’agamba,
    era abagondera ekigambo kye.
21 (Q)Mwebaze Mukama mmwe amaggye ge ag’omu ggulu,
    mmwe abaweereza be abakola by’ayagala.
22 (R)Mwebaze Mukama, mmwe ebitonde bye byonna
    ebiri mu matwale ge gonna.

Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.

Ekyamateeka Olwokubiri 8:1-10

Ekisa kya Mukama mu Ddungu

(A)Mugonderanga amateeka gonna ge nkulagira leero, mulyoke mubeerenga balamu era mwale, muyingire ensi Mukama Katonda gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa mmwe ng’obutaka bwammwe. (B)Onojjukiranga emyaka gino gyonna amakumi ana Mukama Katonda gy’azze ng’akukulembera okukuyisa mu ddungu alyoke akugezese, akukakkanye obeere muwombeefu omwetoowaze, era yeekkaanye mu mutima gwo alabe obanga onookwatanga amateeka ge. (C)Era yakukkakkanya n’akulumya enjala, n’akuliisa emmaanu, gye wali tolabangako wadde bakadde bo okugiwulirako, alyoke akuyigirize nti omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Mukama Katonda. (D)Mu myaka gino gyonna amakumi ana, engatto zo tezaakukaddiwako n’ebigere byo tebyazimba. (E)Noolwekyo osaana okitegeere mu mutima gwo nti, Ng’omusajja bw’akangavvula mutabani we, ne Mukama Katonda wo bw’akukangavvula.

(F)“Onookwatanga amateeka ga Mukama Katonda wo ng’otambuliranga mu makubo ge, era ng’omutya, ng’omussaamu ekitiibwa. (G)Kubanga Mukama Katonda wo akutwala mu nsi ennungi ennyo: ensi erimu emigga, n’ebidiba, n’ensulo ez’amazzi agakulukutira ku nsozi ne mu biwonvu. Ensi omukula eŋŋaano ne sayiri, n’emitiini n’emikomamawanga, ensi ey’emizabbibu n’omubisi gw’enjuki; ensi, emmere gy’eteebeerenga ya bbula, nga buli ky’oneetaaganga onookifunanga; ensi, ng’ebyuma ge mayinja gaayo, era gy’onoosimanga ekikomo mu nsozi zaayo. 10 (H)Awo bw’onoolyanga n’okkuta, weebazenga Mukama Katonda wo olw’okukuwa ensi ennungi bw’etyo.

1 Abakkolinso 1:17-31

17 (A)Kristo teyantuma kubatiza wabula yantuma kubuulira Njiri. Era sigibuulira mu magezi ga bigambo bugambo, si kulwa ng’omusaalaba gwa Kristo gumalibwamu amaanyi gaagwo.

Kristo amagezi n’amaanyi ga Katonda

18 (B)Ekigambo ky’omusaalaba kya busirusiru eri abo abazikirira naye eri ffe abaalokolebwa ge maanyi ga Katonda. 19 (C)Kubanga kyawandiikibwa nti,

“Ndizikiriza amagezi g’abagezi,
    ne nzigyawo okumanya kw’abayivu.”

20 (D)Kale omugezi aluwa? N’omuwandiisi aluwa? Omuwakanyi w’omulembe guno aluwa? Katonda teyafuula amagezi ag’ensi eno okuba obusirusiru? 21 Kubanga Katonda, mu magezi ge, yalaba ng’ensi teyinza kumumanya ng’eyita mu kutegeera kwayo. Katonda kyeyava asiima okuyita mu busirusiru bw’okubuulira Enjiri okulokola abakkiriza. 22 (E)Kubanga Abayudaaya banoonya bubonero, Abayonaani bo ne banoonya amagezi, 23 (F)naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa. Eri Abayudaaya nkonge, eri Abaamawanga busirusiru, 24 (G)naye eri abaayitibwa, Abayudaaya n’Abamawanga, Kristo ge maanyi ga Katonda, era amagezi ga Katonda. 25 (H)Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga amagezi g’abantu, n’obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.

26 Kubanga mulabe okuyitibwa kwammwe abooluganda, bangi ku mmwe temwali bagezi mu mubiri, era nga bangi temuli b’amaanyi, era nga bangi temwazaalibwa nga muli ba kitiibwa. 27 (I)Naye Katonda yalonda ebisirusiru eby’ensi, akwase abagezi ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby’ensi, akwase ab’amaanyi ensonyi, 28 (J)era n’alonda abakopi ab’ensi n’abo abanyoomebwa; era n’ebitaliiwo alyoke aggyewo ebiriwo, 29 (K)waleme kubaawo muntu n’omu eyeenyumiriza mu maaso ga Katonda. 30 (L)Kyokka ku bw’oyo muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, bwe butuukirivu, n’okutukuzibwa, n’okununulibwa, 31 (M)nga bwe kyawandiikibwa nti eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe.

Makko 2:18-22

Yesu Bamubuuza ku by’Okusiiba

18 (A)Abayigirizwa ba Yokaana n’ab’Abafalisaayo baali basiiba. Abantu ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Lwaki abayigirizwa ba Yokaana n’abayigirizwa b’Abafalisaayo basiiba, naye abayigirizwa bo ne batasiiba?” 19 Awo Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala abali n’awasiza omugole bayinza batya okusiiba, ng’awasizza omugole ali nabo? 20 (B)Naye ekiseera kirituuka awasizza omugole bw’alibaggibwako; okuva olwo ne balyoka basiiba. 21 Teri muntu atunga kiwero kiggya mu lugoye olukadde kubanga ekiwero ekiggya kiyuza olugoye olukadde, n’ekituli ne kyeyongera okugaziwa. 22 Teri muntu ateeka mwenge musu mu nsawo z’amaliba nkadde kubanga omwenge omusu gwabya ensawo enkadde, omwenge ne guyiika, n’ensawo ne ziyulika. Naye omwenge omusu baguteeka mu nsawo mpya.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.