Book of Common Prayer
93 (A)Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa.
Mukama ayambadde ekitiibwa
era yeesibye amaanyi.
Ensi yanywezebwa;
teyinza kunyeenyezebwa.
2 (B)Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda.
Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe.
3 (C)Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama;
ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo,
n’amazzi g’ennyanja gayira.
4 (D)Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi;
oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja.
5 (E)Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu,
n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo,
ennaku zonna.
96 (A)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya;
muyimbire Mukama mmwe ensi yonna.
2 (B)Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye,
mulangirire obulokozi bwe buli lukya.
3 Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna,
eby’amagero bye mubimanyise abantu bonna.
4 (C)Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa;
asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.
5 (D)Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi;
naye Mukama ye yakola eggulu.
6 (E)Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola;
amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu.
7 (F)Mugulumize Mukama mmwe ebika eby’amawanga byonna;
mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
8 (G)Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye;
muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze.
9 (H)Musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe.
Ensi yonna esinze Mukama n’okukankana.
10 (I)Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga.
Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako;
Mukama aliramula abantu mu bwenkanya.
11 (J)Kale eggulu lisanyuke n’ensi ejaguze;
ennyanja eyire ne byonna ebigirimu.
12 (K)Ennimiro n’ebirime ebizirimu bijaguze;
n’emiti gyonna egy’omu kibira nagyo gimutendereze n’ennyimba ez’essanyu.
13 (L)Kubanga Mukama ajja;
ajja okusalira ensi omusango.
Mukama aliramula ensi mu butuukirivu,
n’abantu bonna abalamule mu mazima.
Ya Dawudi. Bwe yeefuula okuba omugu w’eddalu mu maaso ga Abimereki, oluvannyuma eyamugoba, era naye n’amuviira.
34 (A)Nnaagulumizanga Mukama buli kiseera,
akamwa kange kanaamutenderezanga bulijjo.
2 (B)Omwoyo gwange guneenyumiririzanga mu Mukama;
ababonyaabonyezebwa bawulire bajaguzenga.
3 (C)Kale tutendereze Mukama,
ffenna tugulumizenga erinnya lye.
4 (D)Nanoonya Mukama, n’annyanukula;
n’ammalamu okutya kwonna.
5 (E)Abamwesiga banajjulanga essanyu,
era tebaaswalenga.
6 Omunaku ono yakoowoola Mukama n’amwanukula,
n’amumalako ebyali bimuteganya byonna.
7 (F)Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama,
n’abawonya.
8 (G)Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi!
Balina omukisa abaddukira gy’ali.
9 (H)Musseemu Mukama ekitiibwa mmwe abatukuvu be,
kubanga abamutya tebaajulenga.
10 (I)Empologoma zirumwa enjala ne ziggwaamu amaanyi;
naye abo abanoonya Mukama, ebirungi tebiibaggwengako.
11 (J)Mujje wano baana bange, mumpulirize;
mbayigirize okutya Mukama.
12 (K)Oyagala okuwangaala mu bulamu obulungi,
okuba mu ssanyu emyaka emingi?
13 (L)Olulimi lwo lukuumenga luleme okwogera ebitasaana,
n’akamwa ko kaleme okwogera eby’obulimba.
14 (M)Lekeraawo okukola ebibi, okolenga ebirungi;
noonya emirembe era ogigobererenga.
15 (N)Amaaso ga Mukama gatunuulira abo abatuukirivu,
n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.
16 (O)Mukama amaliridde okumalawo abakola ebibi,
okubasaanyizaawo ddala n’obutaddayo kujjukirwa ku nsi.
17 (P)Abatuukirivu bakoowoola Mukama n’abawulira
n’abawonya mu byonna ebiba bibateganya.
18 (Q)Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.
Ekisa eri Abeenenya
14 (A)Era kiryogerwa nti,
“Muzimbe, muzimbe, mulongoose ekkubo!
Muggyeewo enkonge zonna mu kkubo ly’abantu bange.”
15 (B)Kubanga bw’atyo bw’ayogera oyo ali waggulu
omugulumivu omulamu emirembe n’emirembe,
ow’erinnya ettukuvu nti,
“Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu
awamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza,
okuzzaamu amaanyi
omwoyo gw’abakkakkamu,
era n’ogw’abo ababoneredde.
16 (C)Kubanga sirirumiriza bantu bange emirembe n’emirembe
era siribasunguwalira bbanga lyonna.
Kubanga omutima gw’omuntu gwandigwereddewo mu maaso gange nga ndaba,
emmeeme y’omuntu nze gye nakola.
17 (D)Olw’okwegomba kwe okw’obutali butuukirivu nnali nzijjudde obusungu.
Namubonereza ne nkweka amaaso gange olw’obusungu obungi
naye yeeyongera okugenda mu maaso mu makubo amabi.
18 (E)Nalaba by’akola, naye ndimuwonya.
Ndimuluŋŋamya ne muddiza emirembe era ne mbeesabeesa abo abakungubaga.
19 (F)Mirembe, era mirembe,
eri abo abali ewala n’eri abo abali okumpi,
era ndibawonya,” bw’ayogera Mukama.
20 (G)Naye ababi bali ng’ennyanja esiikuuse,
eteyinza kutereera,
ey’amayengo agasiikuula ebitosi n’ebitaka.
21 (H)“Tewali mirembe, eri aboonoonyi,” bw’ayogera Katonda wange.
Katonda akangavvula abaana be
12 (A)Kale nga bwe tulina ekibiina ekinene eky’abajulirwa ekyenkana awo, twambulengamu buli ekizitowa, awamu n’ekibi ekitwesibako amangu, tuddukenga n’okugumiikiriza embiro ez’empaka ezatutegekerwa, 2 (B)nga tutunuulira Yesu eyatandika okukkiriza era y’akutuukiriza, olw’essanyu lye yali alindirira bwe yagumiikiriza omusaalaba, ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku luuyi olwa ddyo olw’entebe ya Katonda. 3 (C)Kale mulowooze oyo eyagumiikiriza okuwakanyizibwa okw’abakozi b’ebibi bwe kutyo, mulemenga okukoowa mu mmeeme zammwe nga mutendewererwa ne mu mutima. 4 (D)Temunnalwanagana na kibi okutuusa ne kukuyiwa omusaayi! 5 Mwerabidde ebigambo ebizzaamu amaanyi byayogera nammwe ng’abaana be? Agamba nti,
“Mwana wange, tonyoomanga kukangavvulwa kwa Mukama,
so toggwangamu maanyi ng’akunenyezza.
6 (E)Kubanga Mukama gw’ayagala amukangavvula,
Era abonereza buli gw’ayita omwana we.”
Ensulo z’Amazzi amalamu
37 (A)Awo ku lunaku olw’embaga olusembayo, olusingira ddala obukulu, Yesu n’ayimirira n’ayogera n’eddoboozi ery’omwanguka n’agamba nti, “Buli alina ennyonta, ajje gye ndi anywe! 38 (B)Ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti buli akkiriza Nze emigga egy’amazzi amalamu girikulukuta nga gifuluma mu mutima gwe!” 39 (C)Yesu yali ayogera ku Mwoyo Mutukuvu, abamukkiriza gwe baali bagenda okufuna, kubanga Mwoyo oyo yali tannagabibwa, kubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa.
40 (D)Abantu abamu mu kibiina bwe baawulira ng’ayogera bw’atyo, ne bagamba nti, “Ddala omuntu ono ye Nnabbi.” 41 (E)Abalala ne bagamba nti, “Omuntu ono ye Kristo.” Naye abalala ne bagamba nti, “Nedda, Kristo tayinza kuba ng’ava mu Ggaliraaya.” 42 (F)Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba nti: Kristo wa kuva mu zzadde lya Dawudi, era nga wa kuzaalibwa mu Besirekemu, ekibuga kya Dawudi mwe yali. 43 (G)Awo ekibiina ne kyesalamu olwa Yesu. 44 (H)Abamu ne baagala okumukwata, kyokka ne wabulawo amukwatako.
Obutakkiriza bw’Abakulembeze b’Abayudaaya
45 Awo abaweereza b’abakabona abakulu n’Abafalisaayo ne baddayo eri bakabona abakulu n’Abafalisaayo. Abakulembeze Ne bababuuza nti, “Lwaki temumuleese?” 46 (I)Abaweereza ne baddamu nti, “Ebigambo by’ayogera bya kitalo, tetubiwulirangako.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.