Book of Common Prayer
EKITABO II
Zabbuli 42–72
Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.
42 (A)Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi,
n’emmeeme yange bw’etyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda.
2 (B)Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu.
Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda?
3 (C)Nkaabirira Mukama
emisana n’ekiro.
Amaziga gange gabadde emmere yange emisana n’ekiro,
abantu ne baŋŋamba nti, “Katonda wo ali ludda wa?”
4 (D)Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange
nga bwe nagendanga n’ekibiina ekinene,
ne nkulembera ennyiriri z’abantu empanvu,
nga tugenda mu nnyumba ya Katonda,
nga tuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka
n’okwebaza mu kibiina ekijaguza.
5 (E)Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange?
Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Essuubi lyo liteeke mu Katonda,
kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange;
ye mubeezi wange.
6 Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise,
yeeraliikiridde;
naye nkujjukira olw’ebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaani
ne ku nsozi engulumivu eza Kalumooni[a] ne ku Lusozi Mizali.
7 (F)Obuziba bukoowoola obuziba,
olw’okuwuluguma kw’ebiyiriro
amayengo n’amasingisira go
bimpiseeko.
8 (G)Mukama alaga okwagala kwe emisana n’ekiro
ne muyimbira oluyimba lwe;
y’essaala eri Katonda w’obulamu bwange.
9 (H)Ŋŋamba Katonda, olwazi lwange nti,
“Lwaki onneerabidde?
Lwaki ŋŋenda nkungubaga
olw’okujoogebwa abalabe bange?”
10 Mbonyaabonyezebwa ng’abalabe bange
bancocca,
nga bwe bagamba buli kiseera nti,
“Katonda wo ali ludda wa?”
11 (I)Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange?
Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Weesigenga Katonda,
kubanga nnaamutenderezanga,
Omulokozi wange era ye Katonda wange.
43 (J)Ayi Katonda, onnejjeereze
omponye eggwanga eritatya Katonda
ondokole mu mikono gy’abantu abalimba, abakola ebibi.
2 (K)Ddala ddala ggwe Katonda, ekigo kyange eky’amaanyi.
Lwaki ondese?
Lwaki ŋŋenda nkaaba
nga nnyigirizibwa omulabe?
3 (L)Kale tuma omusana gwo n’amazima
binnuŋŋamye;
bindeete ku lusozi lwo olutukuvu,
mu kifo mw’obeera.
4 (M)Ne ndyoka ndaga ku kyoto kya Katonda,
eri Katonda wange era essanyu lyange eritasingika.
Weewaawo nnaakutenderezanga n’ennanga,
Ayi Katonda, Katonda wange.
5 (N)Lwaki wennyise ggwe emmeeme yange?
Lwaki otabusetabuse munda yange?
Weesige Katonda; kubanga nnaamutenderezanga,
Omulokozi wange era Katonda wange.
Okusaba kwa Kaana
2 (A)Awo Kaana n’asaba mu bigambo bino nti,
“Omutima gwange gusanyukira Mukama;
amaanyi gange geenyumiririza mu Mukama Katonda.
Akamwa kange kasekerera abalabe bange,
kubanga essanyu lyange liri mu bulokozi bwo.”
2 (B)Tewali mutukuvu nga Mukama Katonda
tewali mulala wabula ggwe;
tewali Lwazi oluli nga Katonda waffe.
3 (C)Toyogera nate nga weewaanawaana
wadde okuleka akamwa ko okwogera eby’amalala,
kubanga Mukama Katonda y’amanyi byonna,
era y’apima ebikolwa.
4 (D)Emitego egy’ab’amaanyi gimenyebbwa
naye abanafu baweereddwa amaanyi.
5 (E)Abo abakkutanga, be bapakasa okufuna emmere
naye abo abeetaaga, tebakyalumwa njala.
Eyali omugumba azadde abaana musanvu,
n’oyo alina abaana abangi, asobeddwa.
6 (F)Mukama Katonda y’aleeta okufa, era y’awa obulamu;
atwala emagombe ate n’azuukiza.
7 (G)Mukama Katonda y’ayavuwaza era y’agaggawaza;
atoowaza ate n’agulumiza.
8 (H)Ayimusa abaavu okuva mu nfuufu;
asitula abali mu bwetaavu okuva mu ntuumu y’evvu;
n’abatuuza n’abalangira, era ne basikira entebe ey’ekitiibwa.
Kubanga emisingi gy’ensi gya Mukama Katonda, era okwo kw’atuuzizza ensi.
9 (I)Anaakuumanga ebigere by’abatukuvu be,
naye ababi balisirisibwa mu kizikiza;
kubanga omuntu tawangula lw’amaanyi.
10 (J)Abalabe ba Mukama Katonda balisaasaanyizibwa;
alibabwatukira ng’asinziira mu ggulu.
Mukama alisalira ensonda ez’ensi omusango;
aliwa kabaka we amaanyi,
era n’agulumiza amaanyi g’oyo gwe yafukako amafuta.
Abaana ba Ibulayimu
31 (A)Awo Yesu n’agamba Abayudaaya abaamukkiriza nti, “Bwe munywerera ku kigambo kyange muba bayigirizwa bange ddala. 32 (B)Era mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe.” 33 (C)Ne bamuddamu nti, “Ffe tuli bazzukulu ba Ibulayimu, tetubangako baddu ba muntu n’omu. Oyinza otya okugamba nti, ‘Mulifuuka ba ddembe?’ ”
34 (D)Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti buli akola ekibi aba muddu wa kibi. 35 (E)Omuddu taba wa lubeerera mu maka, naye omwana ye, aba waamu ennaku zonna. 36 Kale, Omwana bw’alibafuula ab’eddembe, mulibeerera ddala ba ddembe.
Oluyimba. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
48 (A)Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo
mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.
2 (B)Sayuuni lwe lusozi lwe olulungi olugulumivu,
olusanyusa ensi yonna.
Ku ntikko Zafoni kwe kuli
ekibuga kya Kabaka Omukulu;
3 (C)Katonda mw’abeera;
yeeraze okuba ekigo kye.
4 (D)Kale laba, bakabaka b’ensi baakuŋŋaana
ne bakyolekera bakirumbe;
5 (E)bwe baakituukako ne bakyewuunya,
ne batya nnyo ne badduka;
6 nga bakankana,
ne bajjula obulumi ng’omukazi alumwa okuzaala.
7 (F)Wabazikiriza ng’omuyaga ogw’ebuvanjuba
bwe guzikiriza ebyombo by’e Talusiisi.
8 (G)Ebyo bye twawuliranga obuwulizi,
kaakano tubirabye
mu kibuga kya Mukama ow’Eggye,
mu kibuga kya Katonda waffe,
kyalinywereza ddala emirembe gyonna.
9 (H)Ayi Katonda, tufumiitiriza ku kwagala kwo okutaggwaawo
nga tuli mu Yeekaalu yo.
10 (I)Erinnya lyo nga bwe liri ekkulu, Ayi Katonda,
bw’otyo bw’otenderezebwa mu nsi yonna.
Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obuwanguzi.
11 (J)Sanyuka gwe Sayuuni,
musanyuke mmwe ebibuga bya Yuda;
kubanga Katonda alamula bya nsonga.
12 Mutambule mu Sayuuni, mukibune;
mubale n’ebigo byakyo.
13 (K)Mwekalirize nnyo munda wa bbugwe waakyo
n’olusiisira lw’amaggye lwamu lwonna;
mulyoke mutegeeze ab’emirembe egiriddawo.
14 (L)Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna;
y’anaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.
Zabbuli ya Batabani ba Koola. Oluyimba.
87 Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu.
2 (A)Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni
okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.
3 (B)Ebintu eby’ekitiibwa bikwogerwako,
ggwe ekibuga kya Katonda.
4 (C)“Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu,
ne Babulooni;
era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo
ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’ ”
5 Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti,
“Ono n’oli baazaalirwa omwo,”
n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza.
6 (D)Mukama aliwandiika mu kitabo bw’ati,
omuli amannya g’abantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.”
7 (E)Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti,
“Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”
Abaana ba Katonda
3 (A)Mulabe okwagala Katonda kw’atwagala bwe kuli okunene ennyo, n’atuyita abaana be, era ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva eremwa okututegeera, kubanga naye yennyini teyamutegeera. 2 (B)Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, naye tetumanyi bwe tuliba. Kyokka tumanyi nti bw’alirabika tulifaanana nga ye, kubanga tulimulabira ddala nga bw’ali. 3 (C)Buli muntu alina essuubi eryo yeetukuza nga Katonda bw’ali omutukuvu.
4 (D)Buli muntu akola ebibi aba mujeemu, era ekibi bwe bujeemu. 5 (E)Naye mmwe mumanyi nti ye, yalabisibwa alyoke aggyewo ebibi. Era mu ye, temuliimu kibi. 6 (F)Era tewali n’omu abeera mu ye ate ne yeeyongera okukola ekibi. Wabula oyo eyeeyongera okukola ekibi tamutegeeranga, era tamumanyi n’akatono.
7 (G)Abaana abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga muntu n’omu; Buli akola eby’obutuukirivu aba mutuukirivu, nga Katonda bw’ali omutuukirivu, 8 (H)naye buli akola ekibi wa Setaani, kubanga okuva olubereberye Setaani akola bibi. Omwana wa Katonda kyeyava ajja mu nsi azikirize ebikolwa bya Setaani.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.