Book of Common Prayer
Oluyimba nga balinnya amadaala.
120 (A)Nkoowoola Mukama nga ndi mu nnaku,
era n’annyanukula.
2 (B)Omponye, Ayi Mukama,
emimwa egy’obulimba,
n’olulimi olw’obukuusa.
3 Onooweebwa ki,
era onookolebwa otya, ggwe olulimi olukuusa?
4 (C)Onoofumitibwa n’obusaale obwogi obw’omulwanyi omuzira,
n’oyokerwa ku manda ag’omuti entaseesa.
5 (D)Ndabye ennaku, kubanga mbeera mu Meseki;
nsula mu weema za Kedali!
6 Ndudde nnyo
mu bantu abakyawa eddembe.
7 Nze njagala mirembe,
naye bwe njogera bo baagala ntalo.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
121 Nnyimusa amaaso gange eri ensozi,
okubeerwa kwange kuva wa?
2 (E)Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,
eyakola eggulu n’ensi.
3 Taliganya kigere kyo kusagaasagana;
oyo akukuuma taabongootenga.
4 Laba, oyo akuuma Isirayiri
taabongootenga so teyeebakenga.
5 (F)Mukama ye mukuumi wo;
Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo;
6 (G)emisana enjuba teekwokyenga,
wadde omwezi ekiro.
7 (H)Mukama anaakukuumanga mu buli kabi;
anaalabiriranga obulamu bwo.
8 (I)Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda,
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
122 Nasanyuka bwe baŋŋamba nti,
“Tugende mu nnyumba ya Mukama!”
2 Ebigere byaffe biyimiridde
mu miryango gyo, Ayi Yerusaalemi.
3 Yerusaalemi yazimbibwa okuba
ekibuga ekinywevu ekiyimiridde awamu.
4 Eyo ebika byonna gye biraga,
ebika bya Mukama,
okutendereza erinnya lya Mukama
ng’ebiragiro ebyaweebwa Isirayiri bwe biri.
5 Eyo entebe ez’okusalirako emisango gye zaateekebwa;
z’entebe ez’obwakabaka ez’ennyumba ya Dawudi.
6 (J)Musabirenga Yerusaalemi emirembe:
“Abo abakwagala bafune ebirungi.
7 Emirembe gibeerenga munda w’ebisenge byo;
n’amayumba go amanene gabeerenga n’omukisa era nga manywevu.”
8 Olwa baganda bange ne mikwano gyange
nnaayogeranga nti, “Emirembe gibeerenga mu ggwe.”
9 (K)Olw’obulungi bw’ennyumba ya Mukama Katonda waffe, nnaanoonyanga okukulaakulana kwa Yerusaalemi.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
123 (L)Nnyimusa amaaso gange gy’oli,
Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.
2 (M)Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe;
n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we[a],
n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe,
okutuusa lw’alitusaasira.
3 Tusaasire, Ayi Mukama, tusaasire,
kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.
4 Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala,
n’okunyoomebwa ab’amalala.
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
124 (N)Isirayiri agamba nti,
singa Katonda teyali ku ludda lwaffe,
2 singa Katonda teyali ku ludda lwaffe
abalabe baffe bwe baatulumba,
3 banditusaanyizzaawo mu kaseera buseera,
obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukirako.
4 Amataba g’obusungu bwabwe ganditusaanyizzaawo,
ne mukoka n’atukulukutirako;
5 amazzi ag’obusungu bwabwe agayira
ganditukuluggusizza.
6 Mukama atenderezebwe
atatugabuddeeyo ne tutaagulwataagulwa amannyo gaabwe.
7 (O)Tuwonye ng’ekinyonyi bwe kiva
ku mutego gw’abatezi;
omutego gukutuse,
naffe tuwonye!
8 (P)Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama,
eyakola eggulu n’ensi.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
125 (Q)Abeesiga Mukama bali ng’olusozi Sayuuni
olutayinza kusiguukululwa, naye olubeerawo emirembe gyonna.
2 (R)Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi,
ne Mukama bw’atyo bwe yeetooloola abantu be,
okuva kaakano n’okutuusa emirembe gyonna.
3 (S)Kubanga abafuzi abakola ebibi tebalifugira
mu nsi y’abatuukirivu,
baleme okuwaliriza abatuukirivu
okukola ebibi.
4 (T)Ayi Mukama, abalungi n’abo abalina omutima omulongoofu
bakolere ebirungi.
5 (U)Naye abo abalaga mu makubo gaabwe amakyamu,
Mukama alibawaŋŋangusa wamu n’abakola ebitali bya butuukirivu.
Emirembe gibe ku Isirayiri.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
126 (V)Mukama bwe yakomyawo abawaŋŋanguse ba Sayuuni,
twafaanana ng’abaloota.
2 (W)Olwo akamwa kaffe ne kajjula enseko,
ne nnimi zaffe ne ziyimba ennyimba ez’essanyu.
Amawanga ne gagamba nti,
“Mukama abakoledde ebikulu.”
3 (X)Mukama atukoledde ebikulu,
kyetuvudde tusanyuka.
4 (Y)Otuzze obuggya, Ayi Mukama,
tufaanane ng’emigga egikulukutira mu lusenyi.
5 (Z)Abo abasiga nga bakaaba amaziga,
baliyimba ennyimba ez’essanyu nga bakungula.
6 Oyo agenda ng’akaaba
ng’atwala ensigo okusiga;
alikomawo ng’ayimba ennyimba ez’essanyu
ng’aleeta ebinywa bye.
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Sulemaani.
127 (AA)Mukama bw’atazimba nnyumba,
abo abagizimba bazimbira bwereere.
Mukama bw’atakuuma kibuga,
abakuumi bateganira bwereere.
2 (AB)Oteganira bwereere bw’okeera mu makya n’okola,
ate n’olwawo n’okwebaka
ng’okolerera ekyokulya;
kubanga Mukama abaagalwa be abawa otulo.
3 (AC)Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;
era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.
4 Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi,
n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo.
5 (AD)Alina omukisa omuntu oyo
ajjuzza ensawo ye n’obusaale,
kubanga tebaliswazibwa;
balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.
15 (A)Awo Nawomi bwe yalaba ekyo, namugamba nti, “Laba, munno azzeeyo eri abantu be ne balubaale be, naawe kwata ekkubo omugoberere.” 16 (B)Naye Luusi n’amwegayirira ng’agamba nti, “Tompaliriza kukuvaako, wadde obutakugoberera, kubanga gy’onoogendanga, nange gye nnaagendanga, gy’onooberanga, nange gye nnaaberanga, era abantu bo be banaabanga abantu bange, era ne Katonda wo y’anaaberanga Katonda wange. 17 (C)Gy’olifiira nange gye ndifiira era eyo gye balinziika. Mukama Katonda ankangavvule nnyo bwe ndyawukana naawe wabula mpozi okufa.” 18 (D)Awo Nawomi bwe yalaba nga Luusi amaliridde okugenda naye, n’atayongerako kigambo kirala.
19 (E)Oluvannyuma bombi ne batambula okutuuka e Besirekemu. Bwe batuuka e Besirekemu, ekibuga kyonna ne kisasamala ku lwabwe, era abakazi ne beebuuza nti, “Ddala ono ye Nawomi?”
20 (F)Bwe yawulira ekyo, n’abaddamu nti, “Temumpita Nawomi, naye mumpite Mala, kubanga Mukama Ayinzabyonna yalumya obulamu bwange n’okukaawa bunkayiridde. 21 (G)Nagenda nnina ebintu bingi, naye Mukama Katonda ankomezzaawo nga sirina kantu, kale lwaki mumpita Nawomi? Katonda Ayinzabyonna yandeetera okubonaabona.”
22 (H)Bw’atyo Nawomi n’akomawo e Besirekemu, okuva mu Mowaabu ne muka mwana we Luusi Omumowaabu, mu kiseera eky’okukungula sayiri[a] nga kyakatandika.
Pawulo akyusa mu ntegeka ze
12 (A)Tulina okwenyumiriza ng’omwoyo gwaffe gutujulira kubanga twatambulira mu buwombeefu ne mu mazima ga Katonda, so si mu magezi ag’omubiri, naye mu kisa kya Katonda nga tuli mu nsi n’okusingira ddala gye muli. 13 Kubanga tetubawandiikira lwa bintu birala wabula ku ebyo bye musomako era ku ebyo bye mumanyiiko; era nsuubira nga mulibimanyira ddala okutuusa ku nkomerero, 14 (B)era nga bwe mwamanyako ekitundu nti muli kya kwenyumiriza gye tuli nga naffe bwe tuli eky’okwenyumiriza gye muli ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu. 15 (C)Olw’okwekakasa mu ekyo, nateekateeka okujja gye muli edda, mulyoke musanyuke omulundi ogwokubiri, 16 (D)nga mpita gye muli okugenda e Makedoniya, ate n’amadda nga nkomawo, mulyoke munsibirire okulaga e Buyudaaya. 17 (E)Mulowooza nga nateekateeka bwe ntyo olwokubanga nnekyusiza? Oba nti ntekateeka ebintu nga ngoberera omubiri, nga ŋŋamba nti weewaawo ye weewaawo, ate nti si weewaawo, si weewaawo?
18 (F)Naye nga Katonda bw’ali omwesigwa ekigambo kyaffe gye muli tekiri weewaawo ate nti si weewaawo. 19 (G)Omwana wa Katonda Yesu Kristo gwe twababuulira, nze ne Sirwano[a] ne Timoseewo teyali nti weewaawo ne si weewaawo, wabula mu ye mwe muli weewaawo bulijjo. 20 (H)Kubanga nga bwe biri ebisuubizo ebingi ebya Katonda, era mu ye kyetuva tugamba Amiina nga tuyita mu ye, Katonda atenderezebwe mu ffe. 21 (I)Naye atunyweza ffe awamu nammwe mu Kristo, era eyatufukako amafuta, ye Katonda, 22 (J)era ye oyo eyatussaako akabonero, n’atuwa amazima g’omwoyo mu mitima gyaffe.
Omunnyo n’Omusana
13 (A)“Mmwe muli munnyo gwa nsi. Naye kale bwe guggwaamu obuka, guliba munnyo nate? Olwo gukasukibwa ebweru ne gulinnyirirwa n’ebigere, nga tegukyalina mugaso gwonna.
14 (B)“Mmwe muli musana gwa nsi. Ekibuga tekikwekebwa ku lusozi. 15 (C)Era omuntu takoleeza ttabaaza ate n’agisaanikirako ekibbo, wabula agiteeka ku kikondo n’emulisiza bonna abali mu nju. 16 (D)Kale nammwe ebikolwa byammwe ebirungi byakirenga abantu bonna, babirabenga, bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.
Okutuukiriza Amateeka
17 (E)“Temulowooza nti Najja okuggyawo amateeka ga Musa oba ebya bannabbi. Sajja okubiggyawo wabula okubituukiriza. 18 (F)Ddala ddala mbagamba nti Eggulu n’ensi biyinza okuggwaawo, naye ennukuta emu wadde akatonnyeze akamu mu mateeka tebirivaawo okutuusa byonna lwe birituukirira. 19 (G)Noolwekyo oyo amenya etteeka erisembayo obutono, n’ayigiriza n’abalala okukola bwe batyo, y’alisembayo mu bwakabaka obw’omu ggulu. 20 Naye mbalabula nti Okuggyako ng’obutuukirivu bwammwe businga obw’Abafalisaayo n’obw’abawandiisi, temuliyingira mu bwakabaka bwa mu ggulu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.