Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 56-58

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Abafirisuuti bwe baamukwatira mu Gaasi.

56 (A)Onsaasire, Ayi Katonda, kubanga abalabe bange banjigganya;
    buli lunaku bannumba n’amaanyi.
(B)Abalabe bange bannondoola,
    bangi bannwanyisa nga bajjudde amalala.

(C)Buli lwe ntya,
    neesiga ggwe.
(D)Nditendereza Katonda ne nyweerera mu kigambo kye,
    ye Katonda gwe neesiga; siityenga.
    Abantu obuntu bagenda kunkolako ki?

(E)Olunaku lwonna bye njogera babifuulafuula;
    ebbanga lyonna baba basala nkwe kunkola kabi.
(F)Beekobaana ne bateesa,
    banneekwekerera ne bawuliriza enswagiro zange;
    nga bannindirira banzite.
(G)Tobakkiriza kudduka ne bawona;
    mu busungu bwo, Ayi Katonda, osuule amawanga.

(H)Emirundi gye ntawaanyizibwa nga njaziirana ogimanyi;
    amaziga gange gateeke mu ccupa yo!
    Wagawandiika.
(I)Bwe nkukoowoola,
    abalabe bange nga badduka.
    Kino nkimanyi kubanga Katonda ali ku ludda lwange.

10 Katonda gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye;
    Mukama gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye;
11 Katonda oyo gwe neesiga, siityenga.
    Abantu bayinza kunkolako ki?

12 (J)Ndituukiriza obweyamo bwange gy’oli, Ayi Katonda;
    ndikuleetera ebirabo eby’okukwebaza.
13 (K)Kubanga emmeeme yange ogiwonyezza okufa.
    Ebigere byange tobiwonyezza okwesittala;
ne ndyoka ntambulira mu maaso ga Katonda
    mu musana nga ndi mulamu?

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka Sawulo, n’alaga mu mpuku.

57 (L)Onsaasire, Ayi Katonda, onsaasire,
    kubanga neesiga ggwe.
Nzija kwekweka mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo
    okutuusa okuzikirira bwe kulikoma.

(M)Nkoowoola Katonda Ali Waggulu Ennyo,
    Katonda atuukiriza bye yantegekera.
(N)Alisinzira mu ggulu n’andokola,
    n’amponya abo abampalana.
    Katonda anandaganga obwesigwa bwe n’okwagala kwe okutaggwaawo.

(O)Mbeera wakati mu mpologoma,
    nsula mu bisolo ebirya abaana b’abantu.
Amannyo g’abalabe bange gali ng’amafumu n’obusaale.
    Ennimi zaabwe ziri ng’ebitala ebyogi.

(P)Ayi Katonda, ogulumizibwenga okusinga eggulu;
    n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.

(Q)Baatega ekitimba mu kkubo lyange,
    ne ntya nnyo;
ne basimamu obunnya,
    ate bo bennyini ne babugwamu.

(R)Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda,
    omutima gwange munywevu.
    Nnaakutenderezanga n’ennyimba.
(S)Zuukuka, ggwe omwoyo gwange!
    Zuukuka ggwe ennanga ey’enkoba, naawe entongooli,
    ndyoke nnyimbe okukeesa obudde.

Ayi Mukama, ndikwebaza mu mawanga;
    ndiyimba nga nkutendereza mu bantu.
10 (T)Kubanga okwagala kwo kungi nnyo, kutuuka ne ku ggulu;
    n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.

11 (U)Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okusinga eggulu;
    n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi.

58 (V)Ddala mwogera eby’amazima oba musirika busirisi?
    Abaana b’abantu mubasalira emisango mu bwenkanya?
(W)Nedda, mutegeka ebitali bya bwenkanya mu mitima gyammwe;
    era bye mukola bireeta obwegugungo mu nsi.

Abakola ebibi bakyama nga baakazaalibwa,
    bava mu lubuto nga balina ekibi, era bakula boogera bya bulimba.
(X)Balina obusagwa ng’obw’omusota;
    bali ng’enswera etawulira ezibikira amatu gaayo;
n’etawulira na luyimba lwa mukugu
    agisendasenda okugikwata.

(Y)Ayi Katonda, menya amannyo gaabwe;
    owangulemu amannyo g’empologoma zino, Ayi Mukama.
(Z)Leka babule ng’amazzi agakulukuta ne gagenda.
    Bwe banaanuula omutego, leka obusaale bwabwe bwe balasa bufufuggale.
(AA)Babe ng’ekkovu erisaanuukira mu lugendo lwalyo.
    Babe ng’omwana azaaliddwa ng’afudde, ataliraba ku njuba!

(AB)Nga n’entamu tennabuguma,
    alibayerawo n’obusungu obungi nga kibuyaga ow’amaanyi ennyo.
10 (AC)Omutuukirivu alisanyuka ng’alabye bamuwalanidde eggwanga,
    olwo n’ebigere bye ne bisaabaana omusaayi ogw’abakola ebibi.
11 (AD)Awo abantu bonna balyogera nti,
    “Ddala, abatuukirivu balwanirirwa.
    Ddala waliwo Katonda alamula mu bwenkanya ku nsi.”

Zabbuli 64-65

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

64 (A)Ayi Katonda, owulire eddoboozi lyange, ery’okwemulugunya kwange;
    okuume obulamu bwange eri okutiisibwatiisibwa omulabe.

(B)Onkweke mpone enkwe z’abakola ebibi,
    onzigye mu kibinja ky’aboonoonyi, abaleekaana
(C)abawagala ennimi zaabwe ng’ebitala,
    ne balasa ebigambo byabwe ng’obusaale obutta.
(D)Beekweka ne bateega oyo atalina musango bamulase;
    amangwago ne bamulasa nga tebatya.

(E)Bawagiragana mu kigendererwa kyabwe ekibi
    ne bateesa okutega emitego mu kyama;
    ne boogera nti, “Ani asobola okutulaba?”
Beekobaana okukola ebitali bya bwenkanya, ne boogera nti,
    “Tukoze enteekateeka empitirivu.”
    Ddala ddala ebirowoozo by’omuntu n’omutima gwe byekusifu.

Naye Katonda alibalasa n’obusaale bwe;
    alibafumita, mangwago ne bagwa ku ttaka.
(F)Ebyo bye boogera biribaddira,
    ne bibazikiriza,
    ababalaba ne babanyeenyeza emitwe.
(G)Olwo abantu bonna ne batya,
    ne bategeeza abalala omulimu gwa Katonda,
    ne bafumiitiriza ku ebyo by’akoze.

10 (H)Omutuukirivu ajagulizenga mu Mukama,
    era yeekwekenga mu ye.
    Abo bonna abalina omutima omulongoofu bamutenderezenga!

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.

65 (I)Osaanira okutenderezebwanga, Ayi Katonda, ali mu Sayuuni;
    tunaatuukiririzanga obweyamo bwaffe gy’oli.
(J)Ayi ggwe awulira okusaba kw’abantu bo,
    abantu bonna banajjanga gy’oli olw’ebibi byabwe.
(K)Ebibi byaffe bwe byatusukkirira,
    n’otutangiririra.
(L)Alina omukisa oyo gw’olonda
    n’omusembeza okumpi naawe, abeerenga mu mpya zo.
Tunaamalibwanga ebirungi eby’omu nnyumba yo;
    eby’omu Yeekaalu yo entukuvu.

(M)Otwanukula n’ebikolwa byo eby’obutuukirivu eby’entiisa n’otulokola,
    Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
ggwe ssuubi ly’abo abali mu nsi yonna n’abo bonna
    abali ewala mu nnyanja zonna,
(N)ggwe, eyakola ensozi n’obuyinza bwo,
    n’ozinyweza n’amaanyi go,
(O)ggwe, asirisa okusiikuuka kw’ennyanja,
    n’okkakkanya okwetabula kw’amayengo gaayo,
    era ggw’okkakkanya okwegugunga kw’amawanga.
Abo bonna ababeera ewala balaba ne batya ebyewuunyo byo;
    ne bakuyimbira ennyimba ez’essanyu
    okuva ku makya okutuusa akawungeezi.

(P)Ensi ogirabirira n’ogifukirira
    n’egimuka nnyo.
Emigga gya Katonda gijjudde amazzi,
    okuwa abantu emmere ey’empeke,
    kubanga bw’otyo bwe wakiteekateeka.
10 Otonnyesa enkuba mu nnimiro,
    n’ojjuza ebitaba byamu;
n’ogonza ettaka,
    ebibala by’omu nsi n’obiwa omukisa.
11 Ofundikira omwaka n’amakungula amangi,
    ebigaali ne bigenda nga byetisse ebibala nga bikubyeko.
12 (Q)Ebifo awali omuddo mu ddungu bijjula amazzi,
    n’obusozi ne bulabika bulungi nga bweyagala.
13 (R)Amalundiro gajjula ebisibo,
    n’ebiwonvu ne bijjula emmere ey’empeke.
    Ensi yonna eyimba mu ddoboozi ery’omwanguka ng’ejjudde essanyu.

Omubuulizi 7:1-14

Okulondawo Ekisinga Obulungi

(A)Obwatiikirivu bw’erinnya eddungi businga eby’akawoowo ebirungi;
    n’olunaku olw’okufa lusinga olwo olw’okuzaalirwako.
(B)Kirungi okulaga mu nnyumba ey’abakungubaga
    okusinga okulaga mu nnyumba ey’ebyassava.
Kubanga buli omu wa kufa,
    ekyo kiteekwa okuba ku mutima gwa buli muntu.
(C)Okunakuwala kusinga okuseka,
    kubanga amaaso amanakuwavu gazzaamu omutima amaanyi.
(D)Omutima gw’omugezi guba wamu n’abo abali mu nnaku;
    naye ogw’omusirusiru guba mu kusanyuka.
(E)Kirungi okussaayo omwoyo ku kunenya kw’omuntu ow’amagezi
    okusinga okuwuliriza ennyimba z’abasirusiru.
(F)Okuseka kw’abasirusiru
    kuli ng’okutulikatulika kw’amaggwa agali mu muliro gw’entamu[a];
    na kino nakyo butaliimu.

(G)Kya mazima, okunyigirizibwa kufuula ow’amagezi okuba omusirusiru,
    n’enguzi efaafaaganya okutegeera.

(H)Enkomerero y’ekintu esinga entandikwa yaakyo,
    n’omugumiikiriza asinga ow’amalala.
(I)Tosunguwalanga mangu nga waliwo akusokaasoka,
    kubanga obusungu bubeera munda y’abasirusiru.

10 Teweebuuzanga nti, “Lwaki ennaku ziri ez’edda zisinga zino?”
    Kubanga si kya magezi okwebuuza ekibuuzo ng’ekyo.

11 (J)Amagezi kintu kirungi, okufaanana ng’eky’obugagga ky’obusika,
    era kigasa abo abakyalaba enjuba.
12 Amagezi kiwummulo,
    ng’ensimbi bwe ziri ekiwummulo,
naye enkizo y’okumanya y’eno:
    amagezi gakuuma obulamu bw’oyo agalina.

13 (K)Lowooza ku Katonda ky’akoze:

ani ayinza okugolola ekyo ekyakyama Katonda kye yakola?
14 Ebiseera bwe biba ebirungi, sanyuka;
    naye bwe biba ebibi, kirowoozeeko;
Katonda eyakola ekimu
    era ye yakola ne kinnaakyo.
Noolwekyo omuntu tayinza kuzuula kirimubaako
    mu nnaku ze ez’omu maaso.

Abaggalatiya 4:12-20

12 Abooluganda, mbeegayirira mubeere nga nze, kubanga nange ndi nga mmwe. Temulina kabi ke mwankola; 13 (A)era mumanyi nga mu bunafu obw’omubiri, mmwe be nasooka okubuulira Enjiri. 14 Naye newaakubadde nga mwandinnyomye olw’obulwadde bwange, temwangobaganya, wabula mwansembeza nga malayika wa Katonda, nga Yesu Kristo. 15 Kale essanyu lyammwe lyadda wa? Kubanga ndi mujulirwa wammwe nti, mwali musobola okuggyamu amaaso gammwe ne mugampa okunnyamba singa kyali kyetaagisa. 16 (B)Kale kaakano nfuuse omulabe wammwe olw’okubategeeza amazima?

17 Abo abalabika ng’abaabassaako ennyo omwoyo tebabaagaliza birungi, okuggyako okwagala okubaggalira ebweru, mulyoke mudde ku luuyi lwabwe. 18 (C)Naye kirungi okunyiikiranga okukola ebirungi bulijjo, naye si lwe mbeera nammwe lwokka. 19 (D)Baana bange be nnumirwa nate ng’alumwa okuzaala, okutuusa Kristo lw’alibumbibwa mu mmwe, 20 nandyagadde okubeera nammwe kaakano, n’okukyusa eddoboozi lyange kubanga ndi mweraliikirivu ku lwammwe.

Matayo 15:21-28

Okukkiriza kw’Omukanani

21 (A)Yesu n’ava mu kifo ekyo, n’agenda mu kitundu omuli ebibuga Ttuulo ne Sidoni. 22 (B)Awo omukazi Omukanani eyali abeera mu bitundu ebyo, n’ajja eri Yesu n’amwegayirira nti, “Onsaasire Mukama wange, Omwana wa Dawudi! Muwala wange aliko dayimooni amubonyaabonya nnyo.”

23 Naye Yesu n’asirika n’atamuddamu kigambo na kimu. Abayigirizwa be ne bajja ne bamugamba nti, “Bw’omugoba n’agenda. Ng’ayitirizza okutukaabirira.”

24 (C)Naye Yesu n’addamu omukazi nti, “Nze saatumibwa walala wonna, wabula eri endiga za Isirayiri ezaabula.”

25 (D)Naye omukazi n’asembera awali Yesu n’amusinza, n’amwegayirira ng’agamba nti, “Mukama wange, nnyamba.”

26 Yesu n’amuddamu nti, “Si kituufu okuddira emmere y’omwana okugisuulira embwa.”

27 Omukazi n’addamu nti, “Weewaawo, Mukama wange, naye n’embwa nazo zirya ku bukunkumuka obugwa wansi okuva ku mmeeza ya mukama waazo.”

28 (E)Awo Yesu n’amugamba nti, “Mukazi watu, ng’okukkiriza kwo kunene! Kale kikukolerwe nga bw’oyagala.” Amangwago muwala we n’awonera mu kiseera ekyo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.