Book of Common Prayer
Zabbuli ya Dawudi.
24 (A)Ensi ya Mukama n’ebigirimu byonna,
n’ensi zonna n’abo abazibeeramu.
2 Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja,
n’agizimba ku mazzi amangi.
3 (B)Alyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya?
Era wa ngeri ki aliyingira n’ayimirira mu nnyumba ye entukuvu?
4 (C)Oyo alina omutima omulongoofu, nga n’emikono gye mirongoofu;
atasinza bakatonda abalala,
era atalayirira bwereere.
5 Oyo Mukama anaamuwanga omukisa,
n’obutuukirivu okuva eri Katonda ow’obulokozi bwe.
6 (D)Ogwo gwe mulembe gw’abo abakunoonya,
Ayi Katonda wa Yakobo.
7 (E)Mweggulewo, mmwe bawankaaki!
Muggulwewo, mmwe enzigi ez’edda,
Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
8 (F)Kabaka ow’ekitiibwa ye ani?
Ye Mukama ow’amaanyi era ow’obuyinza,
omuwanguzi mu ntalo.
9 Mweggulewo, mmwe bawankaaki,
muggulwewo mmwe enzigi ez’edda!
Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
10 Kabaka ow’ekitiibwa oyo ye ani?
Mukama Ayinzabyonna;
oyo ye Kabaka ow’ekitiibwa.
Zabbuli ya Dawudi.
29 (A)Mutendereze Mukama, mmwe abaana b’ab’amaanyi.
Mutendereze Mukama n’ekitiibwa n’amaanyi.
2 (B)Mutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye;
musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.
3 (C)Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi;
Katonda ow’ekitiibwa abwatuka,
n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.
4 (D)Eddoboozi lya Mukama ly’amaanyi;
eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
5 (E)Eddoboozi lya Mukama limenya emivule;
Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
6 (F)Aleetera Lebanooni okubuukabuuka ng’akayana,
ne Siriyooni[a] ng’ennyana y’embogo.
7 Eddoboozi lya Mukama
libwatukira mu kumyansa.
8 (G)Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu;
Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
9 (H)Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule,
n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola.
Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
8 (A)Ayi Mukama, Mukama waffe,
erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!
Ekitiibwa kyo kitenderezebwa
okutuuka waggulu mu ggulu.
2 (B)Abaana abato n’abawere
wabawa amaanyi okukutendereza;
ne basirisa omulabe wo
n’oyo ayagala okwesasuza.
3 (C)Bwe ntunuulira eggulu lyo,
omulimu gw’engalo zo,
omwezi n’emmunyeenye
bye watonda;
4 (D)omuntu kye ki ggwe okumujjukira,
omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo?
5 (E)Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda;
n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa.
6 (F)Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo:
byonna wabissa wansi w’ebigere bye,
7 ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko,
8 n’ennyonyi ez’omu bbanga,
n’ebyennyanja eby’omu nnyanja;
era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.
9 (G)Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi
era kkulu nnyo mu nsi yonna!
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
84 (A)Eweema zo nga nnungi,
Ayi Mukama ow’Eggye!
2 (B)Omwoyo gwange guyaayaana,
gwagala na kuzirika,
olw’empya za Mukama,
omutima gwange n’omubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu.
3 (C)Weewaawo,
ne nkazaluggya yeekoledde ekisu,
n’akataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo
awo okumpi n’Ebyoto byo,
Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange.
4 Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo,
banaakutenderezanga.
5 (D)Alina omukisa omuntu eyeesiga amaanyi go,
era assaayo omwoyo okutambulira mu makubo go.
6 (E)Bayita mu kiwonvu Baka,
ne bakifuula ekifo ky’ensulo;
n’enkuba ya ddumbi n’ejjuza ebidiba byakyo.
7 (F)Bagenda beeyongera amaanyi,
okutuusa lwe batuuka mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.
8 Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye;
mpuliriza, Ayi Katonda wa Yakobo.
9 (G)Ayi Katonda, Engabo yaffe,
tunuulira kabaka wo n’okusaasira oyo gwe wafukako amafuta.
10 (H)Okumala olunaku olumu mu mpya zo,
kisinga okubeera emyaka olukumi mu bifo ebirala.
Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange,
okusinga okubeeranga mu weema z’abakola ebibi.
11 (I)Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe;
atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa;
tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa
abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.
12 (J)Ayi Mukama ow’Eggye
alina omukisa omuntu akwesiga.
Obutaliimu bw’Obugagga n’Ettiibwatiibwa
6 Waliwo ekibi ekirala kye ndabye wansi w’enjuba era kibuutikidde abantu. 2 (A)Katonda awa omuntu obugagga, n’amuwa ebintu ebingi awamu n’ekitiibwa, na buli mutima gwe kye gwetaaga n’akifuna; naye Katonda n’amumma okubisanyukiramu, kyokka omugwira n’ajja n’abisanyukiramu. Kino butaliimu era kya bubalagaze!
3 (B)Omuntu ayinza okuba n’abaana kikumi, n’awangaala; bw’atasanyukira mu bugagga bwe, era n’ataziikwa mu kitiibwa, ne bw’aba ng’awangadde nnyo, omwana afiira mu lubuto ng’agenda okuzaalibwa amusingira wala. 4 Omwana oyo ajja nga taliiko ky’amanyi n’agendera mu butamanya era n’erinnya lye ne libulira mu butamanya. 5 Newaakubadde talabye njuba, wadde okubaako ky’amanya, kyokka awummula bulungi okusinga omusajja oyo: 6 omusajja oyo ne bw’awangaala emyaka enkumi bbiri, naye n’atasanyukira mu bya bugagga bwe. Bombi tebalaga mu kifo kye kimu?
7 (C)Buli muntu ateganira mumwa gwe,
naye tasobola kukkuta by’alina.
8 (D)Kale omuntu omugezi asinga oyo omusirusiru?
Omwavu bw’amanya okwefuga mu maaso g’abalala,
agasibwa ki?
9 (E)Amaaso kye galaba
kisinga olufulube lw’ebirowoozo.
Era na kino nakyo butaliimu,
na kugoberera mpewo.
10 Buli ekibaawo ky’ateekebwateekebwa dda,
n’omuntu kyali kyamanyibwa,
tewali muntu ayinza kulwana n’oyo amusinza amaanyi,
n’amusobola.
11 Ebigambo gye bikoma obungi,
gye bikoma n’obutabaamu makulu;
kale ekyo kigasa kitya omuntu?
12 (F)Kale ani amanyi ekirungi eri omuntu, mu nnaku ezo entono z’amala mu bulamu bwe obutaliimu, obuli ng’ekisiikirize? Ani wansi w’enjuba ayinza okutegeeza ekirimubaako ng’avudde mu bulamu buno?
Peetero Alabikirwa
9 (A)Ku lunaku olwaddirira bwe baali basemberera ekibuga, essaawa zaali ziwera nga mukaaga ez’omu ttuntu, Peetero n’alinnya waggulu ku kasolya k’ennyumba akaali akatereevu, okusaba. 10 (B)Yali ali eyo enjala n’emuluma, naye bwe baali bamuteekerateekera ekyokulya embeera ye n’ewaanyisibwa n’ayolesebwa. 11 N’alaba eggulu nga libikkuse, ekintu ekifaanana ng’essuuka ennene ennyo, nga kinywezebbwa ku nsonda zaakyo ennya, nga kikka wansi ku ttaka. 12 Kyalimu ebisolo ebirina amagulu ana byonna, n’ebyewalula byonna eby’oku nsi n’ennyonyi zonna ez’omu bbanga. 13 Awo n’awulira eddoboozi nga ligamba nti, “Peetero, situka osale, olye!”
14 (C)Peetero n’addamu nti, “Nedda, Mukama wange, kubanga siryanga ku kintu kya muzizo oba ekitali kirongoofu.”
15 (D)Eddoboozi ne liddamu okwogera naye omulundi ogwokubiri nti, “Ekyo Katonda ky’amaze okulongoosa tokiyitanga ekitali kirongoofu.”
16 Ne kiba bwe kityo emirundi esatu, amangwago ekintu ekyo ekiri ng’essuuka ne kizzibwayo mu ggulu.
17 (E)Peetero n’abeera awo ng’asamaaliridde. Ne yeebuuza amakulu g’okwolesebwa okwo, ne yeebuuza ne ky’asaana okukola, byonna nga bimusobedde. Mu kiseera ekyo ababaka abaatumibwa Koluneeriyo, ennyumba baali baakagizuula era nga bayimiridde wabweru ku luggi 18 nga babuuza obanga awo Simooni ayitibwa Peetero we yabeeranga.
19 (F)Awo Peetero bwe yali ng’akyebuuza eby’okwolesebwa okwo, Mwoyo Mutukuvu n’amugamba nti, “Laba, abasajja basatu bakunoonya. 20 (G)Situka okke wansi ogende nabo awatali kulwa kubanga nze mbatumye.”
21 Bw’atyo Peetero n’akka wansi, n’agamba abasajja abaatumibwa nti, “Ye nze gwe munoonya. Kiki ekibaleese?”
22 (H)Ne bamuddamu nti, “Koluneeriyo omukulu w’ekitongole y’atutumye. Musajja mwegendereza, atya Katonda era Abayudaaya bonna bamussaamu ekitiibwa. Yalabikirwa malayika wa Katonda n’amugamba akuyite ojje mu nnyumba ye omutegeeze Katonda by’ayagala akole.” 23 (I)Awo Peetero n’abayingiza mu nnyumba ne basulawo ekiro ekyo. Enkeera n’agenda n’abo ng’awerekerwako abooluganda abamu ab’omu Yopa.
32 (A)“Temutya, mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe asiimye okubawa obwakabaka. 33 (B)Mutunde ebintu byammwe, ensimbi ze muggyamu muzigabire abo abeetaaga, mwetungire ensawo ezitakaddiwa era mweterekere mu ggulu mu tterekero eritaggwaamu bintu, omubbi gy’atasembera wadde ennyenje gye zitayonoonera. 34 (C)Kubanga obugagga bwo gye buli, n’omutima gwo gye gunaabeeranga.
35 “Mube beetegefu olw’obuweereza, era mukuume ettabaaza zammwe nga zaaka. 36 Mube ng’abasajja abalindirira mukama waabwe; bw’akomawo okuva mu mbaga y’obugole, n’akonkona banguwa okumuggulirawo oluggi. 37 (D)Balina omukisa abaddu abo, mukama waabwe baalisanga nga batunula. Ddala ddala mbagamba nti, agenda kwambala atuuze abaddu abo ku mmeeza abagabule. 38 Balina omukisa abo, bw’alijja mu kisisimuka ekyokusatu, baalisanga nga batunula.
39 (E)“Naye mutegeere kino: singa ssemaka amanya essaawa omubbi w’anaayingirira okumenya ennyumba ye, teyandiganyizza mubbi kumuyingirira. 40 (F)Noolwekyo mubeere beetegefu. Kubanga Omwana w’Omuntu, ajjira mu kiseera kye mutamulowoolezaamu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.