Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.
55 (A)Owulirize okusaba kwange, Ayi Katonda,
togaya kwegayirira kwange.
2 (B)Ompulire era onziremu,
kubanga ndi mu buzibu, nga nsinda olw’okweraliikirira okunene.
3 (C)Mpulira amaloboozi g’abalabe bange;
ababi bankanulidde amaaso
ne banvuma nga bajjudde obusungu.
4 (D)Omutima gwange gulumwa nnyo munda yange;
entiisa y’okufa entuukiridde.
5 (E)Okutya n’okukankana binnumbye;
entiisa empitiridde.
6 Ne njogera nti, Singa nnina ebiwaawaatiro ng’ejjiba,
nandibuuse ne ŋŋenda mpummulako.
7 “Nandiraze wala nnyo,
ne mbeera eyo mu ddungu;
8 (F)nandiyanguye ne ntuuka mu kifo kyange eky’okuwummuliramu,
eteri kibuyaga na mpewo ekunta n’amaanyi.”
9 (G)Mukama tabulatabula ennimi z’ababi, ozikirize enkwe zaabwe;
kubanga ndaba obukambwe n’okulwanagana mu kibuga.
10 Beetooloola bbugwe waakyo emisana n’ekiro,
ne munda mu kyo mujjudde ettima n’ebikolwa ebibi.
11 (H)Obutemu n’obussi obwa buli ngeri biri mu kibuga omwo.
Buli lw’oyita mu nguudo zaakyo osanga bulimba bwereere na kutiisibwatiisibwa.
12 Singa omulabe wange y’abadde anvuma,
nandikigumiikirizza;
singa oyo atakkiriziganya nange y’annumbaganye n’anduulira,
nandimwekwese.
13 (I)Naye ggwe munnange,
bwe tuyita, era mukwano gwange ddala!
14 (J)Gwe twabanga naye mu ssanyu ng’abooluganda,
nga tutambulira mu kibiina ekinene mu nnyumba ya Katonda.
15 (K)Okufa kubatuukirire,
bakke emagombe nga bakyali balamu;
kubanga bajjudde okukola ebibi.
16 Naye nze nkoowoola Mukama Katonda,
n’andokola.
17 (L)Ekiro, ne mu makya ne mu ttuntu,
ndaajana nga bwe nsinda;
n’awulira eddoboozi lyange.
18 Amponyezza mu lutalo
nga siriiko kintuseeko
newaakubadde ng’abannwanyisizza babadde bangi.
19 (M)Katonda oyo atudde ku ntebe ye ebbanga lyonna,
aliwulira n’ababonereza
abo abatakyusa makubo gaabwe
era abatatya Katonda.
20 (N)Agololera emikono gye ku mikwano gye;
n’amenya endagaano ye.
21 (O)By’ayogera bigonvu okusinga omuzigo,
so nga mu mutima gwe alowooza lutalo;
ebigambo bye biweweera okusinga amafuta,
so nga munda mu mutima gwe asowodde bitala byennyini.
22 (P)Ebizibu byo byonna bireete eri Mukama,
ajja kukuwanirira;
kubanga talireka mutuukirivu kugwa.
23 (Q)Naye ggwe, Ayi Katonda,
olisuula abakola ebibi mu kinnya eky’okuzikirira;
era abatemu n’abalimba bonna
tebagenda kuwangaala kimu kyakubiri eky’obulamu bwabwe.
Naye nze, neesiga ggwe.
Zabbuli Ya Dawudi.
138 (A)Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna;
ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.
2 (B)Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,
ne ntendereza erinnya lyo
olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;
kubanga wagulumiza ekigambo kyo
n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.
3 Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula;
n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.
4 (C)Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama,
nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.
5 Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama;
kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.
6 (D)Newaakubadde nga Mukama asukkulumye,
naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.
7 (E)Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu,
naye ggwe okuuma obulamu bwange;
ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe,
era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.
8 (F)Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;
kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna.
Tolekulira ebyo bye watonda.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
139 (G)Ayi Mukama, okebedde omutima gwange,
n’otegeera byonna ebiri munda yange.
2 (H)Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya;
era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.
3 (I)Otegeera okutambula kwange kwonna n’okuwummula kwange.
Omanyi amakubo gange gonna.
4 (J)Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama,
okimanya nga sinnaba na kukyogera.
5 (K)Ondi mu maaso n’emabega,
era ontaddeko omukono gwo.
6 (L)Okumanya okw’engeri eyo kunsukkiridde,
era nkwewuunya nnyo, kunnema okutegeera.
7 (M)Nnaagenda wa Omwoyo wo gy’atali?
Oba nnaagenda wa ggwe gy’otoli?
8 (N)Bwe nnaalinya mu ggulu, nga gy’oli;
bwe nnakka emagombe, nayo nga gy’oli.
9 Bwe nneebagala empewo ez’oku makya ne zintwala
ne mbeera mu bitundu by’ennyanja ebisinga okuba ewala;
10 (O)era n’eyo omukono gwo gunannuŋŋamya,
omukono gwo ogwa ddyo gunannywezanga.
11 Bwe nnaagamba nti, “Ekizikiza kimbuutikire,
n’obudde obw’emisana bwe ndimu bufuuke ekiro.”
12 (P)Naye era ekizikiza gy’oli tekiba kizikiza,
ekiro kyakaayakana ng’emisana;
kubanga gy’oli ekizikiza n’omusana bifaanana.
13 (Q)Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;
ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.
14 (R)Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;
emirimu gyo gya kyewuunyo;
era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
15 (S)Wammanya nga ntondebwa,
bwe nakolerwa mu kyama;
bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.
16 Wandaba nga si natondebwa.
Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera
zawandiikibwa mu kitabo kyo.
17 (T)By’ondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda!
Omuwendo gwabyo munene!
18 Singa ngezaako okubibala
bisinga omusenyu obungi.
Ne bwe ngolokoka mu makya
oba okyandowoozaako.
19 (U)Abakola ebibi batte, Ayi Katonda;
abasajja abassi b’abantu banveeko.
20 (V)Abantu abo bakwogerako bibi;
bakwegulumiririzaako mu butategeera bwabwe.
21 (W)Abakukyawa, Ayi Mukama, nange mbakyawa;
abo abakwegulumiririzaako bansunguwaza.
22 Mbakyayira ddala nnyo,
era mbayita balabe bange.
23 (X)Nkebera, Ayi Katonda, otegeere omutima gwange.
Ngezesa omanye ebirowoozo byange.
Obugagga ku Bwabwo Bwokka Butaliimu Bwereere
8 (A)Bw’olabanga ng’omwavu anyigirizibwa mu ssaza, amazima n’obwenkanya nga tewali, teweewuunyanga! Kubanga omukungu waalyo alinako amusinga, ate nga bombi balina ababatwala. 9 Bonna balya ku bibala bya nsi eyo; kabaka yennyini mu nnimiro zaayo mw’afuna.
10 Oyo alulunkanira ensimbi, tasobola kuba na nsimbi zimumala;
wadde oyo alulunkanira obugagga n’amagoba:
na kino nakyo butaliimu.
11 Ebintu nga bwe byeyongera obungi,
n’ababirya gye bakoma okweyongera.
Kale nnyini byo agasibwa ki,
okuggyako okusanyusa amaaso ge?
12 (B)Otulo tuwoomera omupakasi
ne bw’aba agabana bitono oba bingi.
Naye obugagga bw’omugagga obuyitiridde,
tebumuganya kwebaka.
Okukola n’Essanyu
13 (C)Waliwo ekibi ekinene kye nalaba wansi w’enjuba:
nannyini bugagga abuterekera mu kwerumya,
14 ebyembi bw’ebigwawo eby’obugagga ebyo bibula,
kale bw’aba ne mutabani
tewabaawo mutabani we ky’asigaza.
15 (D)Omuntu nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina n’ajja mu nsi nga talina kintu,
bw’atyo bw’aliddayo nga mwereere ng’ava mu nsi.
Tewali ky’aggya mu mirimu gye,
wadde kyayinza okugenda nakyo mu mukono gwe.
16 (E)Na kino kya bulumi bwereere:
nga bwe yajja era bw’atyo bw’aligenda;
mugaso ki gwe yafuna mu kugoberera empewo?
17 Era yamala obulamu bwe bwonna mu kizikiza ne mu buyinike,
ne mu kweraliikirira, ne mu bulumi ne mu kunyiiga.
18 (F)Ne ndyoka ntegeera nti kituufu omuntu okulya n’okunywa n’okulaba nga yeyagalira mu kutakabana ne mu kukola kwe wansi w’enjuba, mu nnaku ze entono Katonda z’amuwadde, kubanga ekyo gwe mugabo gwe. 19 (G)Ate Katonda bw’awa omuntu obugagga, n’ebintu n’amusobozesa okubyeyagaliramu, n’okutegeera omugabo gwe n’okusanyukira by’akoze, ekyo kiba kirabo ekivudde ewa Katonda. 20 (H)Emirundi giba mitono gy’alowoolezaamu ekiseera ky’obulamu ky’amaze, kubanga Katonda ajjuza omutima gw’omuntu oyo essanyu.
23 (A)Naye okukkiriza nga tekunnajja, twafugibwanga mateeka, nga tusibibwa olw’okukkiriza okugenda okubikkulwa; 24 (B)ge gaali gatukuuma, amateeka galyoke gatutuuse eri Kristo, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw’okumukkiriza. 25 Naye okukkiriza bwe kwajja, ng’olwo tetukyetaaga mateeka kutukuuma.
Baana ba Katonda
26 (C)Kubanga kaakano mwenna muli baana ba Katonda olw’okukkiriza Yesu Kristo, 27 (D)kubanga abaabatizibwa bonna mu Kristo, baayambala Kristo. 28 (E)Tewakyali kusosola wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, wakati wa muddu na wa ddembe, wakati wa musajja na mukazi, kubanga mwenna muli omu mu Kristo Yesu. 29 Kale kaakano nga bwe muli aba Kristo, muli zadde lya Ibulayimu, ng’ekisuubizo ky’abasika bwe kiri.
4 Naye ŋŋamba nti omusika bw’aba ng’akyali mwana muto, tayawulwa na muddu, newaakubadde nga ye mukama wa byonna. 2 Afugibwa abasigire n’abawanika okutuusa lw’akula n’atuuka ku kigero kitaawe, kye yategeka. 3 (F)Era naffe bwe tutyo bwe twali tukyali bato, twafugibwanga obulombolombo obw’ensi. 4 (G)Naye ekiseera bwe kyatuuka, Katonda n’atuma Omwana we 5 (H)eyazaalibwa omukazi ng’afugibwa amateeka, tulyoke tufuuke abaana. 6 (I)Era kubanga tuli baana, Katonda yatuma Omwoyo w’Omwana we okubeera mu mitima gyaffe, era kaakano tuyinza okwogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Aba, Kitaffe.” 7 (J)Kale kaakano tokyali muddu, wabula oli mwana; era nga bw’oli omwana oli musika ku bwa Katonda.
Pawulo Alowooza ku Baggalatiya
8 (K)Mmwe bwe mwali temunnamanya Katonda mwabanga baddu ba bitali Katonda. 9 (L)Naye kaakano mutegedde Katonda era naye abategedde, kale muyinza mutya okukyuka, ne mugoberera obulombolombo obunafu obutalina maanyi ne mwagala okufuuka abaddu baabwo? 10 (M)Mukwata ennaku, n’emyezi, n’ebiro, n’emyaka; 11 (N)neeraliikirira si kulwa ng’omulimu omunene gwe nakola mu mmwe gwali gwa bwereere.
Obulongoofu n’Obutali Bulongoofu
15 Awo Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne bava e Yerusaalemi ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti: 2 (A)“Abayigirizwa bo lwaki banyoomoola obulombolombo bw’Abakadde? Kubanga tebanaaba mu ngalo nga bagenda okulya emmere.”
3 Naye Yesu naye n’ababuuza nti, “Lwaki mumenya amateeka ga Katonda, nga mwerimbika mu bulombolombo bwammwe? 4 (B)Katonda yagamba nti, ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa. Oyo anaavumanga kitaawe ne nnyina battanga mutte,’ 5 Naye mmwe mugamba nti, Buli agamba kitaawe oba nnyina nti, ‘Ekirabo kye nandikuwadde nkiwaddeyo eri Katonda,’ omuntu oyo teyeetaaga kussaamu kitaawe kitiibwa. 6 Noolwekyo tassaamu kitaawe oba nnyina kitiibwa. Bwe mutyo ne mudibya etteeka lya Katonda olw’obulombolombo bwammwe. 7 Mmwe bannanfuusi! Nnabbi Isaaya yayogera bulungi ebyobunnabbi ebibakwatako bwe yagamba nti,
8 “ ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa.’
Naye emitima gyabwe gindi wala.
9 (C)‘Okusinza kwabwe kwa bwereere.
Kubanga bayigiriza amateeka abantu ge beekoledde.’ ”
10 Yesu n’ayita ekibiina n’abagamba nti, “Mumpulirize era mutegeere. 11 (D)Omuntu ky’alya si kye kimwonoonyesa, wabula ekyo ekiva mu kamwa ke, kye kimwonoonyesa.”
12 Abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Omanyi ebigambo byo nga bwe binyiizizza Abafalisaayo?”
13 (E)Naye Yesu n’addamu nti, “Buli kisimbe Kitange ali mu ggulu ky’ataasimba kigenda kusimbulwa. 14 (F)Noolwekyo mubaleke. Bakulembeze abazibe b’amaaso. Bafaanana omuzibe w’amaaso akulembera muzibe munne, kubanga bombi bagenda kugwa mu kinnya.”
15 (G)Peetero n’amugamba nti, “Tunnyonnyole olugero olwo.”
16 (H)Yesu n’abagamba nti, “Nammwe era temunnategeera? 17 Temumanyi nti buli muntu ky’alya kigenda mu lubuto mwe kiva n’akifulumiza mu kiyigo? 18 (I)Naye ebintu ebiva mu kamwa, biva mu mutima ne byonoona omuntu. 19 (J)Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, n’obwenzi, eby’obukaba, n’obubbi, n’okuwaayiriza, n’okuvvoola. 20 (K)Ebyo bye byonoona omuntu, naye okulya nga tonaabye mu ngalo, tekwonoona muntu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.