Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 63

Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda.

63 (A)Ayi Katonda, oli Katonda wange,
    nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
emmeeme yange ekwetaaga,
    omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira,
nga nnina ennyonta ng’ali
    mu nsi enkalu omutali mazzi.

(B)Nkulabye ng’oli mu kifo kyo ekitukuvu,
    ne ndaba amaanyi go n’ekitiibwa kyo.
(C)Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu;
    akamwa kange kanaakutenderezanga.
(D)Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna;
    nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
(E)Emmeeme yange enekkutanga ebyassava n’obugagga;
    nnaayimbanga nga nkutendereza n’emimwa egy’essanyu.

(F)Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange,
    era nkufumiitirizaako mu ssaawa ez’ekiro.
(G)Olw’okuba ng’oli mubeezi wange,
    nnyimba nga ndi mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
(H)Emmeeme yange yeekwata ku ggwe;
    omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.

(I)Naye abo abannoonya okunzita balizikirizibwa,
    baliserengeta emagombe.
10 Balisaanawo n’ekitala;
    ne bafuuka emmere y’ebibe.

11 (J)Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda;
    bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda,
    naye akamwa k’abalimba kalisirisibwa.

Zabbuli 98

Zabbuli.

98 (A)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
    kubanga akoze eby’ekitalo.
Omukono gwe ogwa ddyo,
    era omukono omutukuvu, gumuwadde obuwanguzi.
(B)Mukama ayolesezza obulokozi bwe,
    era abikkulidde amawanga obutuukirivu bwe.
(C)Ajjukidde okwagala kwe okutakoma
    n’obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isirayiri.
Enkomerero z’ensi yonna zirabye
    obulokozi bwa Katonda waffe.

(D)Muyimbire Mukama n’essanyu lingi mwe ensi yonna;
    muyimbe ennyimba mu maloboozi ag’essanyu.
(E)Mutendereze Mukama n’ennanga ez’enkoba;
    n’ennanga ez’enkoba n’amaloboozi ag’okuyimba,
(F)n’amakondeere n’eddoboozi ly’eŋŋombe.
    Muyimbe n’essanyu mu maaso ga Mukama era Kabaka.

(G)Ennyanja eyire ne byonna ebigirimu,
    n’ensi ne byonna ebigirimu bijaguze.
(H)Emigga gikube mu ngalo
    n’ensozi zonna ziyimbire wamu olw’essanyu;
(I)byonna biyimbe mu maaso ga Mukama,
    kubanga ajja okulamula ensi.
Aliramula ensi mu butuukirivu;
    aliramula amawanga mu bwenkanya.

Zabbuli 103

Zabbuli Ya Dawudi.

103 (A)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange;
    ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu.
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange,
    era teweerabiranga birungi bye byonna.
(B)Asonyiwa ebibi byo byonna,
    n’awonya n’endwadde zo zonna.
Anunula obulamu bwo emagombe, n’akusaasira
    era n’akwagala n’okwagala okutaggwaawo.
(C)Awa emmeeme yo ebintu ebirungi byeyagala;
    obuvubuka bwo ne budda buggya ng’empungu.[a]

Mukama asala mu butuukirivu ne mu bwenkanya,
    ensonga z’abo bonna abajoogebwa.

(D)Yamanyisa Musa ebyo by’ayagala,
    n’alaga abaana ba Isirayiri ebikolwa bye.
(E)Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira,
    tasunguwala mangu, era alina okwagala okutaggwaawo.
(F)Taasibenga busungu ku mwoyo,
    era tasunguwala kumala bbanga lyonna.
10 (G)Tatukola ng’okwonoona kwaffe bwe kuli,
    wadde okutusasula ng’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri.
11 (H)Ng’eggulu bwe litumbidde ennyo waggulu w’ensi,
    n’okwagala kwe bwe kuli okunene bwe kutyo eri abo abamutya.
12 (I)Ebibi byaffe abituggyako
    n’abitwala wala ng’ebuvanjuba bw’eri ewala okuva ebugwanjuba.

13 (J)Kitaawe w’abaana nga bw’asaasira abaana be,
    ne Mukama bw’atyo bw’asaasira abo abamutya.
14 (K)Kubanga amanyi nga bwe twakolebwa
    era ng’ajjukira nti tuli nfuufu.
15 (L)Wabula omuntu, ennaku z’obulamu bwe ziri ng’omuddo;
    akula n’agimuka ng’ekimuli eky’omu nnimiro;
16 (M)empewo ekifuuwa, ne kifa;
    nga ne we kyali tewakyajjukirwa.
17 Naye okwagala kwa Katonda eri abo abamutya tekuggwaawo
    emirembe gyonna,
    n’obulokozi bwe eri abaana b’abaana baabwe.
18 (N)Be bo abakuuma endagaano ye
    ne bajjukira okugondera amateeka ge.

19 (O)Mukama anywezezza entebe ye ey’obwakabaka mu ggulu,
    n’obwakabaka bwe bufuga ensi yonna.

20 (P)Mwebaze Mukama mmwe bamalayika be,
    mmwe ab’amaanyi abakola ky’agamba,
    era abagondera ekigambo kye.
21 (Q)Mwebaze Mukama mmwe amaggye ge ag’omu ggulu,
    mmwe abaweereza be abakola by’ayagala.
22 (R)Mwebaze Mukama, mmwe ebitonde bye byonna
    ebiri mu matwale ge gonna.

Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.

Isaaya 47

Babulooni Esalirwa Omusango

47 (A)“Omuwala wa Babulooni embeerera,
    kakkana wansi otuule mu nfuufu,
tuula wansi awatali ntebe ya bwakabaka,
    ggwe omuwala w’Abakaludaaya.
Ekibuga ekitawangulwangako.
    Toliddayo nate kuyitibwa kyatika oba nnalulungi.
(B)Ddira olubengo ose obutta.
    Ggyako akatimba ku maaso,
situla ku ngoye z’oku magulu
    oyite mu mazzi.
(C)Obwereere bwo bulibikkulwa;
    obusungu bwo bulyeraga.
Nzija kuwoolera eggwanga;
    tewali muntu yenna gwe ndirekawo.”

(D)Omununuzi waffe Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye,
    ye Mutukuvu wa Isirayiri.

(E)“Tuula mu kasirise
    yingira mu kizikiza ggwe omuwala w’Abakaludaaya,
tebakyakuyita kabaka omukazi
    afuga obwakabaka obungi.
(F)Nnali nsunguwalidde abantu bange,
    ne nyonoonesa omugabo gwange.
Nabawaayo mu mikono gyo,
    n’otobasaasira n’akatono.
N’abakadde wabateekako ekikoligo ekinene ennyo.
(G)Wayogera nti,
    ‘Nzija kubeera kabaka omukazi emirembe gyonna,’
naye n’otolowooza ku bintu bino
    wadde okulowooza ku kyali kigenda okubaawo.

(H)“Kale nno kaakano wuliriza kino,
    ggwe awoomerwa amasanyu
ggwe ateredde mu mirembe gyo,
    ng’oyogera mu mutima gwo nti,
‘Nze ndiwo era tewali mulala wabula nze.
    Siribeera nnamwandu
    wadde okufiirwa abaana.’
(I)Ebintu bino byombi birikutuukako mangu nnyo mu lunaku lumu,
    eky’okufiirwa abaana
    n’okufuuka nnamwandu.
Birikutuukako mu kigera kyabyo ekituufu,
    newaakubadde obulogo bwo nga bungi okuyitirira,
    n’eby’obufumu byo nga bigenze wala.
10 (J)Weesiga obutali butuukirivu bwo,
    n’olowooza nti, ‘Siriiko annondoola.’
Amagezi go era n’okumanya kwo byakuwabya,
    bwe wayogera nti, ‘Nze ndiwo, era teri mulala wabula nze.’
11 (K)Kyokka ensasagge erikujjira
    era tolimanya ngeri yakugyeggyako;
n’okuzikirira kw’otoliyinza kweggyako na muwendo gwa nsimbi;
    akabi k’otolirabirawo kalikutuukako amangu ddala.

12 (L)“Weeyongere nno n’obulogo bwo
    n’obufumu bwo obwayinga obungi,
    bwe wanyiikiriramu okuva mu buto bwo.
Oboolyawo olibaako kyoggyamu,
    oboolyawo olikolawo ekyobulabe.
13 (M)Amagezi ago g’ofuna gakukooya bukooya.
    Abalagulira ku munyeenye basembera,
n’abo abakebera emmunyeenye,
    era aboogera ebiribaawo buli mwezi, babadduukirire mu bigenda okubatuukako.
14 (N)Laba, bali ng’ebisusunku
    era omuliro gulibookya!
Tebalyewonya
    maanyi ga muliro.
Tewaliiwo manda ga kukubugumya
    wadde omuliro ogw’okwota!
15 (O)Ekyo kye bayinza okukukolera kyokka;
    b’obonyeebonye nabo
    b’oteganidde okuva mu buto bwo.
Buli muntu alikwata ekkubo lye nga yeeyongera okukola ebibi bye
    era tewali n’omu ayinza okukulokola.”

Abaebbulaniya 10:19-31

Obugumiikiriza

19 (A)Kale abooluganda nga bwe tulina obuvumu okuyingira mu Watukuvu w’Awatukuvu olw’omusaayi gwa Yesu, 20 (B)eyatuggulirawo ekkubo eriggya era eddamu eriyita mu lutimbe, gwe mubiri gwe, 21 (C)kale nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu nga y’afuga ennyumba ya Katonda, 22 (D)tusembere awali Katonda n’omwoyo ogw’amazima ogujjudde okukkiriza nga tulina emitima egitukuzibbwa okuva mu ndowooza embi, era nga n’emibiri gyaffe ginaazibbwa n’amazzi amatukuvu. 23 (E)Kale tunyweze essuubi lye twatula nga tetusagaasagana, kubanga eyasuubiza mwesigwa, 24 era tussengayo omwoyo buli muntu eri munne, nga twekubiriza mu kwagala ne mu kukola ebikolwa ebirungi. 25 (F)Tuleme kulekayo kukuŋŋaana, ng’abamu bwe bakola, naye buli muntu agumye munne, na ddala nga bwe mulaba nti, Olunaku lw’okudda kwa Mukama waffe lusembedde.

26 (G)Singa tukola ebibi mu bugenderevu, nga tumaze okumanya amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka eweebwayo olw’ekibi. 27 (H)Wabula ekiba kisigadde kwe kulindirira okusalirwa omusango ogw’ekibonerezo eky’omuliro ogw’amaanyi ogugenda okumalawo abalabe ba Katonda. 28 (I)Omuntu yenna eyajeemeranga amateeka ga Musa yattibwanga awatali kusaasirwa, bwe waabangawo abajulirwa babiri oba basatu abamulumiriza. 29 (J)Noolwekyo omuntu alinnyirira Omwana wa Katonda, era n’omusaayi gw’endagaano ogunaazaako ebibi n’aguyisa ng’ogwa bulijjo, era n’anyoomoola Omwoyo ow’ekisa, talibonerezebwa n’obukambwe obusingawo? 30 (K)Kubanga tumumanyi oyo eyagamba nti, “Okuwoolera eggwanga kwange. Nze ndisasula.” Era nti, “Mukama y’aliramula abantu be.” 31 (L)Kintu kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu!

Yokaana 5:2-18

(A)Munda mu Yerusaalemi, okumpi n’Omulyango gw’Endiga waliwo ekidiba ekiyitibwa Besusayida, mu Lwebbulaniya, ekyazimbibwako ebigango bitaano okukyetooloola. Mu bigango ebyo mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo: abalema, abazibe b’amaaso, n’abakoozimbye. Kubanga bwe waayitangawo ekiseera malayika wa Mukama n’ajja n’atabula amazzi ago, era omuntu eyasookanga okukka mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa, ng’awonyezebwa. Waaliwo omusajja eyali yaakalwalira emyaka amakumi asatu mu munaana. Yesu bwe yamulaba n’amanya nga bw’amaze ebbanga eddene nga mulwadde, n’amubuuza nti, “Oyagala okuwonyezebwa?”

Omusajja omulwadde n’amuddamu nti, “Ssebo sirina muntu ayinza kunnyamba okunsuula mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa. Buli lwe ngezaako okukkamu we ntukirayo ng’omulala yansoose dda.”

(B)Yesu n’amugamba nti, “Situka ozingeko omukeeka gwo otambule.” (C)Amangwago omusajja n’awonyezebwa. N’azingako omukeeka gwe ne yeetambulira.

Olunaku olwo lwali lwa Ssabbiiti. 10 (D)Abayudaaya kyebaava bagamba omusajja awonyezebbwa nti, “Toteekwa kwetikka mukeeka gwo ku Ssabbiiti, oba omenye etteeka lya Ssabbiiti.”

11 Ye n’addamu nti, “Omuntu amponyezza y’aŋŋambye nti, ‘Situlawo omukeeka gwo otambule.’ ”

12 Ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo ye ani eyakugambye okusitula omukeeka gwo otambule?”

13 Kyokka omusajja eyawonyezebwa yali tamumanyi, kubanga Yesu yali abulidde mu bantu abangi abaali mu kifo ekyo.

14 (E)Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’amulaba mu Yeekaalu, n’amugamba nti, “Kaakano oli mulamu, naye toddangamu okwonoona, akabi akasingawo kaleme okukutuukako.” 15 (F)Omuntu oyo n’agenda n’ategeeza Abayudaaya nti Yesu ye yamuwonya.

16 Okuva olwo Abayudaaya ne batandika okuyigganya Yesu, kubanga yakolanga ebintu ebifaanana ng’ekyo ku Ssabbiiti. 17 (G)Yesu n’abaddamu nti, “Kitange bulijjo akola, nange nteekwa okukola.” 18 (H)Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta, kubanga teyakoma ku kya kumenya mateeka ga Ssabbiiti kyokka, naye yeeyita Omwana wa Katonda, ne yeefuula eyenkanaankana ne Katonda.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.