Book of Common Prayer
Ya mukulu wa bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.
66 (A)Yimbira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, ggwe ensi yonna.
2 (B)Muyimbe ekitiibwa ky’erinnya lye.
Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta.
3 (C)Gamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa!
Olw’amaanyi go amangi
abalabe bo bakujeemulukukira.
4 (D)Ab’omu nsi yonna bakuvuunamira,
bakutendereza,
bayimba nga bagulumiza erinnya lyo.”
5 (E)Mujje mulabe Katonda ky’akoze;
mulabe eby’entiisa by’akoledde abaana b’abantu!
6 (F)Ennyanja yagifuula olukalu.
Abantu baasomoka omugga n’ebigere nga temuli mazzi,
kyetuva tujaguza.
7 (G)Afuga n’amaanyi ge emirembe gyonna;
amaaso ge agasimba ku mawanga,
ab’omutima omujeemu baleme okumujeemera.
8 (H)Mutendereze Katonda waffe, mmwe amawanga;
eddoboozi ery’okumutendereza liwulirwe wonna.
9 (I)Oyo y’atukuumye ne tuba balamu,
n’ataganya bigere byaffe kuseerera.
10 (J)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, otugezesezza,
n’otulongoosa nga bwe bakola ffeeza mu muliro.
11 (K)Watuteeka mu kkomera,
n’otutikka emigugu.
12 (L)Waleka abantu ne batulinnyirira;
ne tuyita mu muliro ne mu mazzi,
n’otutuusa mu kifo eky’okwesiima.
13 (M)Nnaayambukanga mu yeekaalu yo n’ebiweebwayo ebyokebwa,
ntuukirize obweyamo bwange gy’oli,
14 nga ndeeta ekyo emimwa gyange kye gyasuubiza;
akamwa kange kye kaayogera bwe nnali mu kabi.
15 (N)Nnaawaayo gy’oli ssaddaaka ez’ensolo ensava,
mpeeyo ne ssaddaaka ey’endiga ennume;
mpeeyo ente ennume n’embuzi.
16 (O)Mujje muwulire, mmwe mwenna abatya Katonda,
mbategeeze ebyo by’ankoledde.
17 Namukaabirira n’akamwa kange,
ne mutendereza n’olulimi lwange.
18 (P)Singa nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange,
Mukama teyandimpulirizza;
19 (Q)ddala ddala Katonda yampuliriza era n’awulira eddoboozi lyange nga nsaba.
20 (R)Katonda atenderezebwenga,
atagobye kusaba kwange,
wadde okunziggyako okwagala kwe okutaggwaawo!
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli. Oluyimba.
67 (S)Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa,
era otwakize amaaso go.
2 (T)Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi,
n’obulokozi bwo mu mawanga gonna.
3 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
abantu bonna bakutenderezenga.
4 (U)Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu.
Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya,
n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.
5 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
abantu bonna bakutenderezenga.
Oluyimba lwa Dawudi olw’okutendereza.
145 (A)Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange;
era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe n’emirembe.
2 (B)Nnaakutenderezanga buli lunaku;
era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.
3 (C)Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo,
n’obukulu bwe tebwogerekeka.
4 (D)Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo,
era gunaatendanga emirimu gyo egy’amaanyi.
5 (E)Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo,
era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
6 (F)Abantu banaatendanga amaanyi g’ebikolwa byo eby’ekitalo,
nange nnaatendanga obukulu bwo obw’ekitiibwa.
7 (G)Banaayogeranga ku bulungi bwo obw’ekitalo nga bajaguza;
era banaayimbanga olw’obutuukirivu bwo.
8 (H)Mukama wa kisa, ajudde okusaasira,
alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.
9 (I)Mukama mulungi eri buli muntu,
era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.
10 (J)Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama;
n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
11 Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,
era banaatendanga amaanyi go.
12 (K)Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,
n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
13 (L)Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.
Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,
n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
14 (M)Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
era ayimusa bonna abagwa.
15 (N)Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama,
era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.
16 (O)Oyanjuluza engalo zo,
ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.
17 Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna
era ayagala byonna bye yatonda.
18 (P)Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;
abo bonna abamukoowoola mu mazima.
19 (Q)Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,
era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.
20 (R)Mukama akuuma bonna abamwagala,
naye abakola ebibi alibazikiriza.
21 (S)Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama,
era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu
emirembe n’emirembe.
12 Baana bange abaagalwa,
mbawandiikidde kubanga musonyiyiddwa ebibi byammwe olw’erinnya lye.
13 (A)Era nammwe abakulu, mbawandiikidde
kubanga mwamutegeera okuva ku lubereberye.
Nammwe abavubuka, mbawandiikidde
kubanga muwangudde omubi.
Mmwe abaana abaagalwa bawandiikidde,
kubanga mutegedde Kitaffe.
14 (B)Mbawandiikidde mmwe abakulu
kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye.
Mbawandiikidde mmwe abavubuka
kubanga muli ba maanyi
era n’ekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe,
era muwangudde omubi.
Temwagalanga Nsi
15 (C)Temwagalanga nsi, wadde eby’ensi. Kubanga omuntu yenna ayagala ensi taliimu kwagala kwa Kitaffe. 16 (D)Kubanga buli eky’ensi: okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwekuluntaza okw’obulamu, si bya Kitaffe, naye bya nsi. 17 (E)Ensi n’okwegomba kwayo byonna biggwaawo, naye buli akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe gyonna.
Yesu y’Emmere ey’Obulamu
41 Awo Abayudaaya ne batandika okwemulugunyiza Yesu, kubanga yabagamba nti, “Nze mmere eyava mu ggulu.” 42 (A)Ne bagamba nti, “Ono si ye Yesu omwana wa Yusufu? Kitaawe ne nnyina tubamanyi. Kale ayinza atya okugamba nti, ‘Nava mu ggulu?’ ”
43 Yesu n’abagamba nti, “Temwemulugunya. 44 (B)Tewali ayinza kujja gye ndi wabula nga Kitange eyantuma amuyise, era Nze ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero. 45 (C)Kubanga kyawandiikibwa mu bannabbi nti, ‘Bonna baliyigirizibwa Katonda.’ Era buli gw’ayigiriza n’ategeera amazima ajja gye ndi. 46 (D)Si kuba nti waliwo eyali alabye ku Kitange, wabula oyo eyava eri Katonda, ye yalaba Kitaawe. 47 Ddala ddala mbagamba nti, Akkiriza aba n’obulamu obutaggwaawo!
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.