Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 24

Zabbuli ya Dawudi.

24 (A)Ensi ya Mukama n’ebigirimu byonna,
    n’ensi zonna n’abo abazibeeramu.
Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja,
    n’agizimba ku mazzi amangi.

(B)Alyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya?
    Era wa ngeri ki aliyingira n’ayimirira mu nnyumba ye entukuvu?
(C)Oyo alina omutima omulongoofu, nga n’emikono gye mirongoofu;
    atasinza bakatonda abalala,
    era atalayirira bwereere.

Oyo Mukama anaamuwanga omukisa,
    n’obutuukirivu okuva eri Katonda ow’obulokozi bwe.
(D)Ogwo gwe mulembe gw’abo abakunoonya,
    Ayi Katonda wa Yakobo.

(E)Mweggulewo, mmwe bawankaaki!
    Muggulwewo, mmwe enzigi ez’edda,
    Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
(F)Kabaka ow’ekitiibwa ye ani?
    Ye Mukama ow’amaanyi era ow’obuyinza,
    omuwanguzi mu ntalo.
Mweggulewo, mmwe bawankaaki,
    muggulwewo mmwe enzigi ez’edda!
    Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
10 Kabaka ow’ekitiibwa oyo ye ani?
    Mukama Ayinzabyonna;
    oyo ye Kabaka ow’ekitiibwa.

Zabbuli 29

Zabbuli ya Dawudi.

29 (A)Mutendereze Mukama, mmwe abaana b’ab’amaanyi.
    Mutendereze Mukama n’ekitiibwa n’amaanyi.
(B)Mutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye;
    musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.

(C)Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi;
    Katonda ow’ekitiibwa abwatuka,
    n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.
(D)Eddoboozi lya Mukama ly’amaanyi;
    eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
(E)Eddoboozi lya Mukama limenya emivule;
    Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
(F)Aleetera Lebanooni okubuukabuuka ng’akayana,
    ne Siriyooni[a] ng’ennyana y’embogo.
Eddoboozi lya Mukama
    libwatukira mu kumyansa.
(G)Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu;
    Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
(H)Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule,
    n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola.
Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”

10 (I)Mukama atuula waggulu w’amataba ku ntebe ye ey’obwakabaka.
    Mukama ye Kabaka afuga emirembe gyonna.
11 (J)Mukama awa abantu be amaanyi;
    Mukama awa abantu be emirembe.

Zabbuli 8

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

(A)Ayi Mukama, Mukama waffe,
    erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!

Ekitiibwa kyo kitenderezebwa
    okutuuka waggulu mu ggulu.
(B)Abaana abato n’abawere
    wabawa amaanyi okukutendereza;
ne basirisa omulabe wo
    n’oyo ayagala okwesasuza.
(C)Bwe ntunuulira eggulu lyo,
    omulimu gw’engalo zo,
omwezi n’emmunyeenye
    bye watonda;
(D)omuntu kye ki ggwe okumujjukira,
    omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo?

(E)Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda;
    n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa.
(F)Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo:
    byonna wabissa wansi w’ebigere bye,
ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko,
n’ennyonyi ez’omu bbanga,
    n’ebyennyanja eby’omu nnyanja;
    era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.

(G)Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi
    era kkulu nnyo mu nsi yonna!

Zabbuli 84

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

84 (A)Eweema zo nga nnungi,
    Ayi Mukama ow’Eggye!
(B)Omwoyo gwange guyaayaana,
    gwagala na kuzirika,
olw’empya za Mukama,
    omutima gwange n’omubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu.
(C)Weewaawo,
    ne nkazaluggya yeekoledde ekisu,
    n’akataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo
awo okumpi n’Ebyoto byo,
    Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange.
Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo,
    banaakutenderezanga.

(D)Alina omukisa omuntu eyeesiga amaanyi go,
    era assaayo omwoyo okutambulira mu makubo go.
(E)Bayita mu kiwonvu Baka,
    ne bakifuula ekifo ky’ensulo;
    n’enkuba ya ddumbi n’ejjuza ebidiba byakyo.
(F)Bagenda beeyongera amaanyi,
    okutuusa lwe batuuka mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.

Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye;
    mpuliriza, Ayi Katonda wa Yakobo.
(G)Ayi Katonda, Engabo yaffe,
    tunuulira kabaka wo n’okusaasira oyo gwe wafukako amafuta.

10 (H)Okumala olunaku olumu mu mpya zo,
    kisinga okubeera emyaka olukumi mu bifo ebirala.
Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange,
    okusinga okubeeranga mu weema z’abakola ebibi.
11 (I)Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe;
    atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa;
tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa
    abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.

12 (J)Ayi Mukama ow’Eggye
    alina omukisa omuntu akwesiga.

Isaaya 51:9-16

(A)Zuukuka,
    zuukuka oyimuke otuyambe Ayi Mukama Katonda.
Kozesa amaanyi go otuyambe.
    Gakozese nga edda.
Si ggwe wuuyo eyatemaatemamu Lakabu obufiififi?
    Si ye ggwe eyafumita ogusota?
10 (B)Si ggwe wuuyo eyakaliza ennyanja,
    amazzi ag’obuziba obuwanvu ennyo
ne gafuuka ekkubo
    abantu be wanunula bayitewo?
11 (C)N’abo Mukama be wawonya
    balikomawo
    ne bajja mu Sayuuni nga bayimba.
Essanyu ery’emirembe n’emirembe liriba nga ngule ku mitwe gyabwe.
    Balisanyuka ne bajaguza; ennaku n’okusinda bibadduke.

Mukama Alinunula Abantu be

12 (D)“Nze, nze mwene, nze nzuuno abawa amaanyi.
    Mmwe baani abatya omuntu alifa,
    n’omwana w’omuntu ali ng’omuddo,
13 (E)ne weerabira Mukama Omutonzi wo
    eyabamba eggulu,
    n’ateekawo n’emisingi gy’ensi,
ebbanga lyonna ne mubeera mu kutya
    obusungu bw’abo abakunyigiriza,
    oyo eyemalidde mu kuzikiriza?
Kubanga kale buliruddawa obulabe bw’oyo abanyigiriza?
14     (F)Abo be bawamba ne basibibwa banaatera okuteebwa,
tebalifiira mu bunnya,
    era tebalibulwa mmere gye balya.
15 (G)Kubanga nze Mukama Katonda wo,
    asiikuula amayengo g’ennyanja ne gawuluguma:
    Mukama ow’Eggye lye linnya lye.
16 (H)Ntadde ebigambo byange mu kamwa ko,
    era nkubisse mu kisiikirize ky’omukono gwange.
Nze nakola eggulu ne nteekawo emisingi gy’ensi;
    era nze wuuyo agamba Sayuuni nti,
    ‘Muli bantu bange!’ ”

Abaebbulaniya 11:8-16

(A)Olw’okukkiriza Ibulayimu bwe yayitibwa, n’agonda, n’alaga mu kifo kye yali agenda okuweebwa ng’omugabo, bw’atyo n’agenda nga ne gy’alaga tamanyiiyo. (B)Era ne bwe yatuuka mu nsi Katonda gye yamusuubiza, mu nsi gye yali tamanyangako, olw’okukkiriza yasulanga mu weema era lsaaka ne Yakobo nabo bwe baakola, Katonda ng’abasuubizza nga bwe yasuubiza Ibulayimu. 10 (C)Ibulayimu yali alindirira ekibuga kiri ekirina omusingi, Katonda kye yategeka era n’azimba.

11 (D)Olw’okukkiriza ne Saala yennyini, omukazi omugumba yaweebwa amaanyi okuba olubuto newaakubadde nga yali ayise ku myaka egy’okuzaalirako; yakkiriza nti oyo amusuubizza mwesigwa. 12 (E)Bwe kityo bangi ne bava mu muntu omu eyali omukadde ennyo ne baba bangi nnyo ng’emmunyeenye ez’oku ggulu, era ng’omusenyu oguli ku nnyanja ogutabalika.

13 (F)Abo bonna baafiira mu kukkiriza. Baafa nga Katonda bye yabasuubiza tebannabifuna, naye nga basanyufu nga bamanyi nti bibalindiridde, kubanga baategeera nti ku nsi kuno baali bagenyi bugenyi abatambuze. 14 Aboogera bwe batyo balaga nti bayolekedde obutaka bwabwe obw’omu nsi endala. 15 (G)Abantu abo singa baalowooza ku birungi eby’ensi eno bandisobodde okudda emabega. 16 (H)Naye kaakano beegomba ensi esingako, ye y’omu ggulu. Katonda kyava aba Katonda waabwe, nga tekimuswaza kuyitibwa bw’atyo, kubanga abateekeddeteekedde ekibuga.

Yokaana 7:14-31

Yesu Ayigiriza ku Mbaga

14 (A)Awo mu makkati g’embaga Yesu n’ayambuka mu Yeekaalu n’ayigiriza. 15 (B)Abakulembeze b’Abayudaaya ne beewuunya nga bagamba nti, “Omuntu ono ayinza atya okumanya okusoma so nga tasomangako?”

16 (C)Awo Yesu kwe kubaddamu nti, “Nze sibayigiriza byange ku bwange, wabula eby’oyo eyantuma. 17 (D)Buli ayagala okukola Katonda by’ayagala, ategeera obanga bye njigiriza byange ku bwange oba bya Katonda. 18 (E)Ayogera ku bubwe anoonya kitiibwa kye, naye oyo anoonya ekitiibwa ky’oyo eyantuma wa mazima so n’obutali butuukirivu tebuba mu ye. Musa teyabawa amateeka? 19 (F)Ku mmwe tekuliiko n’omu akwata mateeka. Kale lwaki musala amagezi okunzita?”

20 (G)Ekibiina ky’abantu ne baddamu nti, “Oliko dayimooni! Ani asala amagezi okukutta?” 21 Yesu n’addamu nti, “Nakola ekikolwa kimu ku Ssabbiiti buli muntu ne yeewuunya. 22 (H)Musa kyeyava abalagira okukomolebwa, okukomolebwa tekwatandikira ku Musa wabula kwatandikira ku bajjajjammwe; ne ku Ssabbiiti mukomola omuntu. 23 Obanga mukomola ku Ssabbiiti etteeka lya Musa lireme okumenyebwa, kale lwaki Nze munsunguwalira olw’okuwonya omuntu ku Ssabbiiti, n’aba mulamu ddala? 24 (I)Temusalanga musango okusinziira ku ndabika, naye musalenga omusango ogw’ensonga.”

Yesu ye Kristo

25 Awo abantu abamu ab’omu Yerusaalemi ne beebuuzaganya nga bagamba nti, “Ono si ye muntu gwe banoonya okutta? 26 (J)Kale wuuno ayigiriza lwatu, ate tebaliiko kye bamugambako. Osanga abakulembeze bategedde nti omuntu ono ye Kristo! 27 (K)Naye tumanyi omuntu ono gy’ava; so nga Kristo bw’alijja tewaliba n’omu amanya gy’ava.”

28 (L)Awo Yesu bwe yali ng’akyayigiriza mu Yeekaalu n’akangula ku ddoboozi n’agamba nti, “Ddala mummanyi ne gye nva mumanyiiyo. Sajja ku bwange wabula ekituufu nti oyo eyantuma gwe mutamanyi. 29 (M)Nze mmumanyi, kubanga nava gy’ali, era ye yantuma.”

30 (N)Awo ne basala amagezi okumukwata, kyokka tewaali amukwatako, kubanga ekiseera kye kyali tekinnaba kutuuka. 31 (O)Naye bangi mu bibiina by’abantu ne bamukkiriza, ne bagamba nti, “Kale Kristo bw’alijja, alikola eby’amagero ebisinga eby’ono byakoze?”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.