Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba “olw’Amalanga.” Zabbuli ya Batabani ba Koola.
45 Omutima gwange gujjudde ebigambo ebirungi
nga nnyimba oluyimba lwa Kabaka.
Olulimi lwange kkalaamu y’omuwandiisi omukugu.
2 (A)Ggw’osinga abaana b’abantu obulungi;
n’akamwa ko nga kafukiddwako amafuta ag’ekisa.
Kubanga Katonda akuwadde omukisa emirembe gyonna.
3 (B)Weesibe ekitala kyo, Ayi ggwe ow’amaanyi,
yambala ekitiibwa kyo n’obukulu bwo!
4 (C)Weebagale embalaasi yo mu kitiibwa kyo eky’obuwanguzi,
ng’olwanirira amazima, obuwombeefu, n’obutuukirivu.
Omukono gwo ogwa ddyo gukole ebyewuunyisa.
5 Obusaale bwo obwogi bufumite emitima gy’abalabe ba kabaka;
afuge amawanga.
6 (D)Entebe yo ey’obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera;
n’omuggo ogw’obwenkanya gwe guliba ogw’obwakabaka bwo.
7 (E)Oyagala obutuukirivu n’okyawa okukola ebibi;
noolwekyo Katonda, Katonda wo, kyavudde akugulumiza
n’akufukako amafuta ag’essanyu okusinga bakabaka banno bonna.
8 (F)Ebyambalo byo birina akawoowo ka mmooli ne alowe, ne kasiya.
Ebivuga eby’enkoba bikusanyusiza
mu mbiri zo ez’amasanga.
9 (G)Mu bakyala bo mulimu abambejja;
namasole ali ku mukono gwo ogwa ddyo ng’ayambadde ebya zaabu ya Ofiri.
10 (H)Muwala, wuliriza bye nkugamba:
“Weerabire ab’ewammwe n’ab’omu nnyumba ya kitaawo.
11 (I)Kabaka akulowoozaako nnyo, kubanga walungiwa n’oyitirira;
nga bw’ali mukama wo, muwenga ekitiibwa.”
12 (J)Muwala w’e Ttuulo[a] alijja n’ekirabo,
abasajja abagagga balikwegayirira obalage ekisa kyo.
13 (K)Omuwala wa kabaka ajjudde ekitiibwa mu kisenge kye,
ng’ayambadde ekyambalo ekyalukibwa ne zaabu.
14 (L)Aleetebwa mu maaso ga kabaka ng’ayambadde ebyambalo eby’emidalizo emingi.
Emperekeze ze zimuwerekerako;
bonna ne bajja gy’oli.
15 Baleetebwa nga bajjudde essanyu n’okweyagala,
ne bayingira mu lubiri lwa kabaka.
16 Batabani bo baliweebwa ebifo bya bajjajjaabwe,
olibafuula ng’abalangira mu nsi omwo.
17 (M)Erinnya lyo linajjukirwanga emirembe gyonna.
Amawanga kyeganaavanga gakutendereza emirembe n’emirembe.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
47 (A)Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna;
muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ez’essanyu;
2 (B)Mukama Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa.
Ye Kabaka afuga ensi yonna.
3 (C)Yatujeemululira abantu,
n’atujeemululira amawanga ne tugafuga.
4 (D)Yatulondera omugabo gwaffe,
Yakobo gw’ayagala mwe yeenyumiririza.
5 (E)Katonda alinnye waggulu ng’atenderezebwa mu maloboozi ag’essanyu eringi.
Mukama alinnye nga n’amakondeere gamuvugira.
6 (F)Mutendereze Katonda, mumutendereze.
Mumutendereze Kabaka waffe, mumutendereze.[a]
7 (G)Kubanga Katonda ye Kabaka w’ensi yonna,
mumutendereze ne Zabbuli ey’ettendo.
8 (H)Katonda afuga amawanga gonna;
afuga amawanga ng’atudde ku ntebe ye entukuvu.
9 (I)Abakungu bannaggwanga bakuŋŋanye
ng’abantu ba Katonda wa Ibulayimu;
kubanga Katonda y’afuga abakulembeze b’ensi.
Katonda agulumizibwenga nnyo.
Oluyimba. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
48 (J)Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo
mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.
2 (K)Sayuuni lwe lusozi lwe olulungi olugulumivu,
olusanyusa ensi yonna.
Ku ntikko Zafoni kwe kuli
ekibuga kya Kabaka Omukulu;
3 (L)Katonda mw’abeera;
yeeraze okuba ekigo kye.
4 (M)Kale laba, bakabaka b’ensi baakuŋŋaana
ne bakyolekera bakirumbe;
5 (N)bwe baakituukako ne bakyewuunya,
ne batya nnyo ne badduka;
6 nga bakankana,
ne bajjula obulumi ng’omukazi alumwa okuzaala.
7 (O)Wabazikiriza ng’omuyaga ogw’ebuvanjuba
bwe guzikiriza ebyombo by’e Talusiisi.
8 (P)Ebyo bye twawuliranga obuwulizi,
kaakano tubirabye
mu kibuga kya Mukama ow’Eggye,
mu kibuga kya Katonda waffe,
kyalinywereza ddala emirembe gyonna.
9 (Q)Ayi Katonda, tufumiitiriza ku kwagala kwo okutaggwaawo
nga tuli mu Yeekaalu yo.
10 (R)Erinnya lyo nga bwe liri ekkulu, Ayi Katonda,
bw’otyo bw’otenderezebwa mu nsi yonna.
Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obuwanguzi.
11 (S)Sanyuka gwe Sayuuni,
musanyuke mmwe ebibuga bya Yuda;
kubanga Katonda alamula bya nsonga.
12 Mutambule mu Sayuuni, mukibune;
mubale n’ebigo byakyo.
13 (T)Mwekalirize nnyo munda wa bbugwe waakyo
n’olusiisira lw’amaggye lwamu lwonna;
mulyoke mutegeeze ab’emirembe egiriddawo.
14 (U)Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna;
y’anaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.
Isirayiri Enunulibwa
12 (A)“Mpuliriza ggwe Yakobo.
Isirayiri gwe nalonda.
Nze Nzuuyo.
Nze ow’olubereberye era nze ow’enkomerero.
13 (B)Omukono gwange gwe gwateekawo omusingi gw’ensi,
era omukono gwange ogwa ddyo ne gwanjuluza eggulu.
Bwe mbiyita
byombi bijja.
14 (C)“Mwekuŋŋaanye mwenna
mujje muwulire!
Ani ku bo eyali alangiridde ebintu bino?
Mukama amwagala; ajja kutuukiriza ekigendererwa kye e Babulooni,
era omukono gwe gwolekere Abakaludaaya.[a]
15 (D)Nze; Nze nzennyini nze njogedde.
Nze namuyita.
Ndimuleeta
era alituukiriza omulimu gwe.
16 (E)“Munsemberere muwulirize bino.
“Okuva ku lubereberye saayogera mu kyama.
Nze mbaddewo okuviira ddala ku ntandikwa.”
Era kaakano Mukama Ayinzabyonna
n’Omwoyo we antumye.
17 (F)Bw’atyo bw’ayogera Mukama, Omununuzi wammwe,
Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Nze Mukama Katonda wo
akuyigiriza okukulaakulana,
akukulembera mu kkubo ly’oteekwa okutambuliramu.
18 (G)Singa kale wali owulirizza ebiragiro byange!
Wandibadde n’emirembe egikulukuta ng’omugga!
Era n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja,
19 (H)ezzadde lyo lyandibadde ng’omusenyu
abaana bo ng’obuweke bwagwo.
Erinnya lyabwe teryandivuddewo
wadde okuzikirira nga wendi.”
20 (I)Muve mu Babulooni,
mudduke Abakaludaaya.
Mugende nga mutegeeza amawulire gano n’essanyu.
Mugalangirire wonna wonna
n’okutuusa ku nkomerero y’ensi.
Mugambe nti, “Mukama anunudde omuddu we Yakobo!”
21 (J)So tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu.
Yabakulukusiza amazzi mu lwazi:
yayasa olwazi
amazzi ne gavaamu.
18 (A)Awo bwe waayitawo emyaka esatu ne ŋŋenda e Yerusaalemi okulaba Keefa ne mmala naye ennaku kkumi na ttaano. 19 (B)Naye ssaalaba mutume mulala wabula Yakobo muganda wa Mukama waffe. 20 (C)Noolwekyo bye mbawandiikira, si bya bulimba mu maaso ga Katonda.
21 Bwe navaayo ne ndaga mu bitundu eby’e Siriya n’eby’e Kirukiya. 22 Era ekkanisa za Kristo mu Buyudaaya zaali tezinnategeera bwe nfaanana. 23 (D)Naye nga bamanyi nti, “Eyatuyigganyanga, kaakano abuulira okukkiriza kwe yagezaako okuzikiriza.” 24 (E)Era ne bagulumiza Katonda ku lwange.
Pawulo Ayanirizibwa Abatume
2 (F)Bwe waayitawo emyaka kkumi n’ena ne nzirayo ne Balunabba ne Tito e Yerusaalemi. 2 (G)Nagendayo olw’okubikulirwa kwe nafuna, ne mbanjulira Enjiri gye mbuulira Abaamawanga. Nayogera n’abakulembeze b’Ekkanisa mu kyama balyoke bategeere bye njigiriza, si kulwa nga nteganira bwereere, ne bakkiriza nti bituufu. 3 (H)Tito gwe nnali naye ne batamuwaliriza kukomolebwa, newaakubadde nga yali munnaggwanga. 4 (I)Naye olw’abooluganda ab’obulimba abaayingizibwa mu kyama okuketta eddembe lye tulina mu Kristo Yesu, balyoke batufuule abaddu, 5 (J)abo tetwabawuliriza essaawa n’emu, amazima g’enjiri galyoke geeyongerenga mu mmwe.
6 (K)Naye abo abaabalibwa ng’okuba ekintu eky’omuwendo, abataaliko bwe baali gye ndi kubanga Katonda tasosola mu bantu, nze gye ndi tebalina kye bannyongerako, 7 (L)naye mu ngeri endala bwe baalaba nga nateresebwa Enjiri ey’abatali bakomole, nga Peetero bwe yateresebwa ey’abakomole, 8 (M)oyo eyakolera mu Peetero olw’obutume bw’abakomole, ye yakolera ne mu nze ku lw’Abaamawanga. 9 (N)Yakobo ne Keefa[a] ne Yokaana abaalabikanga ng’empagi bwe baalaba ekisa ekya mpeebwa, ne batukwata mu ngalo eza ddyo nze ne Balunabba nga bassa kimu naffe nti ffe tubeere mu Bamawanga, naye bo babeere mu b’abakomole. 10 (O)Kye baatusaba kyokka tujjukirenga abaavu, ate ng’ekyo kye nnali nesunga okukola.
Nnabbi Tabulwa Kitiibwa Okuggyako Ewaabwe
6 (A)Yesu n’ava mu kitundu ekyo n’abayigirizwa be n’addayo mu kibuga ky’ewaabwe.[a] 2 (B)Olunaku lwa Ssabbiiti bwe lwatuuka n’agenda mu kkuŋŋaaniro okuyigiriza, abantu bangi abaaliwo ne beewuunya nnyo bwe baawulira bw’ayigiriza, ne bawuniikirira ne beebuuza nti, “Bino byonna yabiyigira wa era magezi ga ngeri ki ono ge yaweebwa n’eby’amagero ebyenkanidde wano by’akola?” 3 (C)Ne beebuuza nti, “Ono si ye mwana w’omubazzi? Maliyamu si ye nnyina, ne baganda be si be ba Yakobo, ne Yose, ne Yuda ne Simooni? Ne bannyina tetubeera nabo kuno?” Ekyo ne kibatawanya mu mutima.
4 (D)Yesu n’abagamba nti, “Nnabbi aweebwa ekitiibwa buli wantu okuggyako mu nsi y’ewaabwe ne mu bantu be ne mu maka ge waabwe.” 5 (E)Naye teyakolerayo byamagero bingi okuggyako abalwadde abatonotono be yakwatako n’abawonya. 6 (F)N’awuniikirira nnyo okulaba nga tebamukkirizza. Awo n’agenda ng’ayigiriza mu byalo ebiriraanyeewo.
Yesu Atuma Ekkumi n’Ababiri
7 (G)Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’abatuma babiri babiri era n’abawa obuyinza okugoba emyoyo emibi ku bantu.
8 N’abakuutira obutatwala kantu konna okuggyako omuggo ogw’okutambuza gwokka nti, “Temutwala mmere wadde akagugu newaakubadde ensimbi mu lukoba. 9 Mwambale engatto naye temutwala kkanzu yakubiri.” 10 N’abagamba nti, “Era buli nnyumba gye munaayingirangamu musulanga omwo okutuusa lwe muliva mu kibuga ekyo. 11 (H)Era bwe mutuukanga mu kifo ne batabaaniriza yadde okubawuliriza, bwe mubanga muvaayo mukunkumuliranga mu kifo omwo enfuufu ey’omu bigere byammwe, okuba akabonero gye bali.”
12 (I)Awo abayigirizwa ne bagenda nga babuulira buli muntu nti, “Mwenenye.” 13 (J)Ne bagoba baddayimooni bangi ku bantu, ne basiiga abalwadde amafuta ne babawonya.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.