Book of Common Prayer
Zabbuli ya Dawudi.
25 (A)Eri ggwe, Ayi Mukama,
gye ndeeta okusaba kwange.
2 (B)Neesiga ggwe, Ayi Mukama, tondeka kuswala mu maaso g’abalabe bange. Tobaganya kumpangula.
3 (C)Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga,
naye ab’enkwe baliswazibwa.
4 (D)Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama,
ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.
5 Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna;
kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange
era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
6 (E)Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi,
kubanga byava dda.
7 (F)Tojjukira bibi byange
n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange.
Onzijukire, Ayi Mukama,
ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.
8 (G)Mukama mulungi, era wa mazima,
noolwekyo ayigiriza aboonoonyi ekkubo lye.
9 (H)Abawombeefu abaluŋŋamya mu kkubo ettuufu
n’abayigiriza ekkubo lye.
10 (I)Amakubo ga Mukama gonna gajjudde okwagala n’amazima
eri abo abagondera endagaano ye n’ebiragiro bye.
11 (J)Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama,
onsonyiwe ebibi byange, kubanga bingi.
12 (K)Omuntu wa ngeri ki atya Katonda?
Oyo gw’anaayigirizanga okukwata ekkubo lye yamulondera.
13 (L)Obulamu bwe bunajjuzibwanga emikisa gya Katonda,
era bazzukulu be ensi eriba yaabwe.
14 (M)Mikwano gya Mukama be bo abamugondera;
anaababikkuliranga ekyama eky’endagaano ye.
15 (N)Ntunuulira Mukama buli kiseera,
kubanga yekka y’anzigya mu kabi.
16 (O)Nkyukira, Ayi Mukama, onkwatirwe ekisa,
kubanga nsigadde bw’omu, era ndi munafu.
17 (P)Obuyinike bweyongedde mu mutima gwange;
mponya okweraliikirira kwange.
18 (Q)Tunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange;
onzigyeko ebibi byange byonna.
19 (R)Laba abalabe bange nga bwe beeyongedde obungi
n’okunkyawa kwe bankyawamu!
20 (S)Labiriranga obulamu bwange, obamponye;
tondekanga mu buswavu,
kubanga ggwe kiddukiro kyange.
21 (T)Amazima n’obulongoofu bindabirirenga,
essubi lyange liri mu ggwe.
22 (U)Nunula Isirayiri, Ayi Katonda,
omuwonye emitawaana gye gyonna.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa okujjukira Okufa kw’Omwana. Zabbuli ya Dawudi.
9 (A)Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama n’omutima gwange gwonna;
nnaayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna.
2 (B)Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe.
Nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo.
3 Abalabe bange bazzeeyo emabega,
beesittadde ne bazikiririra mu maaso go.
4 (C)Kubanga owagidde ebiŋŋwanira, n’ensonga zange;
era otudde ku ntebe yo ey’obwakabaka n’osala omusango mu bwenkanya.
5 (D)Waboggolera amawanga, n’ozikiriza ababi;
erinnya lyabwe n’olisangulirawo ddala emirembe n’emirembe.
6 (E)Abalabe obamaliddewo ddala,
n’ebibuga byabwe obizikirizza,
era tewali aliddayo kubijjukira.
7 (F)Naye Mukama afuga emirembe gyonna;
era ataddewo entebe ye ey’okusalirako emisango.
8 (G)Aliramula ensi mu butuukirivu,
era alisalira abantu bonna emisango mu bwenkanya.
9 (H)Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa;
era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.
10 (I)Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga;
kubanga abakunoonya tobaleka bokka.
11 (J)Muyimbe okutendereza Mukama, atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu Sayuuni;
mutegeeze amawanga gonna by’akoze.
12 (K)Ajjukira n’awoolera eggwanga
era assaayo omwoyo eri abo abanyigirizibwa.
13 (L)Onsaasire, Ayi Mukama; otunuulire abalabe bange abangigganya,
onzigye ku miryango gy’okufa.
14 (M)Ndyoke nkutenderezenga mu lwatu
mu miryango[a] gy’omuwala wa Sayuuni:
era njagulizenga mu bulokozi bwo.
15 (N)Abantu mu mawanga bagudde mu binnya bye baasima;
era n’emitego gyabwe gimasuse ne gibakwasa.
16 Mukama yeeraze nga bw’asala emisango egy’ensonga.
Omubi akwatiddwa mu mutego gw’emikono gye.
17 (O)Ababi balisuulibwa emagombe;
ebyo bye bituuka ku mawanga gonna ageerabira Katonda.
18 (P)Kubanga abali mu kwetaaga tebalyerabirwa ennaku zonna,
era n’ababonyaabonyezebwa tebaliggwaamu ssuubi emirembe gyonna.
19 Ogolokoke, Ayi Mukama, tokkiriza muntu kuwangula;
leka amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.
20 (Q)Bakankanye n’okutya, Ayi Mukama;
amawanga gonna galyoke gategeere nti bantu buntu.
Zabbuli ya Dawudi.
15 (A)Ayi Mukama, ani anaabeeranga mu nnyumba yo?
Ani anaatuulanga ku lusozi lwo olutukuvu?
2 (B)Oyo ataliiko kya kunenyezebwa,
akola eby’obutuukirivu,
era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe.
3 (C)Olulimi lwe talwogeza bya bulimba,
era mikwano gye tagiyisa bubi,
so tasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be.
4 (D)Anyooma ababi,
naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa.
Atuukiriza ky’asuubiza
ne bwe kiba nga kimulumya.
5 (E)Bw’awola tasaba magoba;
so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna.
Oyo akola ebyo
aliba munywevu emirembe gyonna.
6 (A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama kabaka wa Isirayiri era Omununuzi we,
Mukama Katonda ow’Eggye:
Nze w’olubereberye era nze nkomererayo
era tewali Katonda mulala we ndi.
7 (B)Ani afaanana nga nze,
akirangirire,
eyali asobola okumanya n’alangirira ebigenda okubaawo
okuviira ddala ku ntandikwa?
Leka batubuulire ebigenda okubaawo.
8 (C)Temutya wadde okuggwaamu amaanyi.
Saakirangirira ne ntegeeza ebigenda okujja?
Mmwe bajulirwa bange.
Eriyo Katonda omulala okuggyako nze? Nedda.
Tewali Lwazi lulala,
sirina lwe mmanyi.”
Mukama, Omutonzi era Omulokozi
21 (A)“Jjukira ebintu bino, ggwe Yakobo;
oli muweereza wange ggwe Isirayiri.
Nze nakubumba, oli muweereza wange,
ggwe Isirayiri sirikwerabira.
22 (B)Ebyonoono byo mbyezeewo n’embisenda ng’ekire, n’ebibi byo ne mbyerawo ng’olufu olw’omu makya. Komawo gye ndi kubanga nakununula.”
23 (C)Yimba n’essanyu ggwe eggulu
kubanga ekyo Mukama yakikoze.
Muleekaane n’essanyu mmwe abali wansi ku nsi.
Muyimbe mmwe ensozi, mmwe ebibira na buli muti ogulimu.
Mukama anunudde Yakobo
era yeegulumiriza mu Isirayiri.
Okuba ab’omubiri ogumu
4 (A)Ng’omusibe wa Mukama waffe, mbakuutira mubeere n’empisa ezisaanira obulamu bwe mwayitirwa okutambuliramu. 2 Mubeerenga bakkakkamu, abawombeefu era abagumiikiriza, nga mugumiikirizagana mu kwagala. 3 (B)Munyiikirenga okukuuma obumu obw’Omwoyo mu kwegatta awamu okw’emirembe. 4 (C)Omubiri nga bwe guli ogumu, n’Omwoyo omu, n’essuubi liri limu ery’okuyitibwa kwammwe. 5 Mukama waffe ali omu, n’okukkiriza kumu n’okubatizibwa kumu. 6 Katonda ali omu, era ye Kitaawe wa bonna, afuga byonna, akolera mu byonna era abeera mu byonna.
7 (D)Buli omu ku ffe yaweebwa ekisa ng’okugera kwa Kristo bwe kuli. 8 (E)Ebyawandiikibwa kyebiva bigamba nti,
“Bwe yalinnya mu ggulu,
n’atwala omunyago,
n’awa abantu ebirabo.”
9 Okugamba nti “yalinnya,” kitegeeza ki? Kitegeeza nti yasooka kukka mu bitundu ebya wansi w’ensi. 10 Oyo Kristo eyakka, ye wuuyo ddala eyalinnya ewala ennyo, n’ayisa waggulu w’eggulu lyonna, alyoke ajjule obwengula bw’ensi yonna. 11 (F)Era y’omu oyo eyawa abamu okuba abatume, n’abalala okuba bannabbi, n’abalala okuba ababuulizi b’enjiri, n’abalala okuba abasumba, n’abalala okuba abayigiriza. 12 (G)Ekyo yakikola olw’okutendeka abantu ba Katonda olw’omulimu ogw’obuweereza, okuzimba omubiri gwa Kristo. 13 (H)Ekyo kijja kutwongera okugenda mu maaso, okutuusa ffenna lwe tulibeera n’okukkiriza kumu, n’okumanyira ddala Omwana wa Katonda nga tukulidde ddala mu mwoyo okutuuka ku kigera eky’okubeera nga Kristo bw’ali.
14 (I)Tuteekwa okulekeraawo okweyisa ng’abaana abato, nga tuyuuguumizibwa amayengo nga tutwalibwa buli muyaga ogw’okuyigiriza okw’abantu abakuusa, mu nkwe olw’okugoberera enteekateeka ey’obulimba. 15 (J)Tube ba mazima mu kwagala, tulyoke tukulire mu Kristo mu byonna, nga tweyongera okuba nga ye, Omutwe gw’Ekkanisa. 16 (K)Mu ye omubiri gwonna mwe gugattirwa obulungi awamu, ne guyungibwa mu buli nnyingo, nga gukola ng’ekigera kya buli kitundu bwe kuli, nga gukula era nga gwezimba mu kwagala.
Ebibiina Bigoberera Yesu
7 (A)Awo Yesu n’abayigirizwa be ne bagenda ku nnyanja. Ekibiina kinene ekyava mu Ggaliraaya ne mu Buyudaaya ne kimugoberera. 8 (B)N’abalala ne bava mu kibuga Yerusaalemi, n’abalala mu Idumaya, n’abalala ne bava emitala w’omugga Yoludaani n’okwetooloola Ttuulo ne Sidoni ne bamugoberera. Ekibiina ky’abantu bwe baawulira bye yali akola ne bajja gy’ali. 9 Yesu n’agamba abayigirizwa be eryato limubeere kumpi olw’ekibiina ekinene, ekibiina kireme kumunyigiriza. 10 (C)Kubanga yawonya bangi, bangi ne baagala okumugwira bamukwateko olw’endwadde zaabwe. 11 (D)Awo emyoyo emibi bwe gyamulaba ne gigwa mu maaso ge nga gireekaana nga gigamba nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.” 12 (E)Naye n’agikomako gireme okumwatuukiriza.
Yesu Alonda Abayigirizwa Ekkumi n’Ababiri
13 (F)Awo Yesu n’alinnya ku lusozi, n’ayita abo be yayagala, ne bajja gy’ali. 14 (G)N’alonda kkumi na babiri mu abo, be yafuula abatume babeerenga naye, era abatumenga okubuulira. 15 (H)N’abawa n’obuyinza okugobanga baddayimooni. Ekkumi n’ababiri be yalonda be bano:
16 (I)Awo n’alonda ekkumi na babiri era be bano:
Simooni, gwe yatuuma “Peetero” ne
17 Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo, Yesu be yatuuma “Bowanerege” amakulu nti, “Abaana b’Okubwatuka.”
18 Andereya,
ne Firipo,
ne Battolomaayo,
ne Matayo,
ne Tomasi,
ne Yakobo, omwana wa Alufaayo
ne Saddayo,
ne Simooni, Omukananaayo,
19 ne Yuda Isukalyoti eyamulyamu olukwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.