Book of Common Prayer
Zabbuli Ya Dawudi.
103 (A)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange;
ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu.
2 Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange,
era teweerabiranga birungi bye byonna.
3 (B)Asonyiwa ebibi byo byonna,
n’awonya n’endwadde zo zonna.
4 Anunula obulamu bwo emagombe, n’akusaasira
era n’akwagala n’okwagala okutaggwaawo.
5 (C)Awa emmeeme yo ebintu ebirungi byeyagala;
obuvubuka bwo ne budda buggya ng’empungu.[a]
6 Mukama asala mu butuukirivu ne mu bwenkanya,
ensonga z’abo bonna abajoogebwa.
7 (D)Yamanyisa Musa ebyo by’ayagala,
n’alaga abaana ba Isirayiri ebikolwa bye.
8 (E)Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira,
tasunguwala mangu, era alina okwagala okutaggwaawo.
9 (F)Taasibenga busungu ku mwoyo,
era tasunguwala kumala bbanga lyonna.
10 (G)Tatukola ng’okwonoona kwaffe bwe kuli,
wadde okutusasula ng’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri.
11 (H)Ng’eggulu bwe litumbidde ennyo waggulu w’ensi,
n’okwagala kwe bwe kuli okunene bwe kutyo eri abo abamutya.
12 (I)Ebibi byaffe abituggyako
n’abitwala wala ng’ebuvanjuba bw’eri ewala okuva ebugwanjuba.
13 (J)Kitaawe w’abaana nga bw’asaasira abaana be,
ne Mukama bw’atyo bw’asaasira abo abamutya.
14 (K)Kubanga amanyi nga bwe twakolebwa
era ng’ajjukira nti tuli nfuufu.
15 (L)Wabula omuntu, ennaku z’obulamu bwe ziri ng’omuddo;
akula n’agimuka ng’ekimuli eky’omu nnimiro;
16 (M)empewo ekifuuwa, ne kifa;
nga ne we kyali tewakyajjukirwa.
17 Naye okwagala kwa Katonda eri abo abamutya tekuggwaawo
emirembe gyonna,
n’obulokozi bwe eri abaana b’abaana baabwe.
18 (N)Be bo abakuuma endagaano ye
ne bajjukira okugondera amateeka ge.
19 (O)Mukama anywezezza entebe ye ey’obwakabaka mu ggulu,
n’obwakabaka bwe bufuga ensi yonna.
20 (P)Mwebaze Mukama mmwe bamalayika be,
mmwe ab’amaanyi abakola ky’agamba,
era abagondera ekigambo kye.
21 (Q)Mwebaze Mukama mmwe amaggye ge ag’omu ggulu,
mmwe abaweereza be abakola by’ayagala.
22 (R)Mwebaze Mukama, mmwe ebitonde bye byonna
ebiri mu matwale ge gonna.
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.
114 (A)Isirayiri bwe yava mu Misiri,
abaana ba Yakobo abo, ne bava mu bantu abaayogeranga olulimi olutali lwabwe;
2 Yuda n’afuuka omutukuvu wa Katonda,
Isirayiri n’afuuka amatwale ge.
3 (B)Ennyanja bwe yabalaba n’edduka;
Omugga Yoludaani ne gudda emabega.
4 Ensozi ne zibuukabuuka ng’endiga zisseddume,
n’obusozi obutono ng’obuliga obuto.
5 Ggwe ennyanja, lwaki wadduka?
Ggwe Yoludaani, lwaki wadda emabega?
6 Mmwe ensozi, lwaki mwabuukabuuka ng’endiga zisseddume,
nammwe obusozi obutono ng’obuliga obuto?
7 (C)Kankana, ggwe ensi, mu maaso ga Mukama,
mu maaso ga Katonda wa Yakobo,
8 (D)eyafuula olwazi ekidiba eky’amazzi,
n’olwazi olugumu n’aluggyamu ensulo ez’amazzi.
115 (E)Si ffe, Ayi Mukama, si ffe.
Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwanga ekitiibwa,
olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo.
2 (F)Lwaki amawanga gabuuza nti,
“Katonda waabwe ali ludda wa?”
3 (G)Katonda waffe ali mu ggulu;
akola buli ky’ayagala.
4 (H)Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu,
ebikolebwa n’emikono gy’abantu.
5 (I)Birina emimwa, naye tebyogera;
birina amaaso, naye tebiraba.
6 Birina amatu, naye tebiwulira;
birina ennyindo, naye tebiwunyiriza.
7 Birina engalo, naye tebikwata;
birina ebigere, naye tebitambula;
ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu,
8 abakozi ababikola,
n’abo bonna ababyesiga balibifaanana.
9 Mmwe ennyumba ya Isirayiri mwesigenga Mukama,
ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
10 (J)Mmwe ennyumba ya Alooni mwesigenga Mukama,
ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
11 Mmwe abamutya, mwesigenga Mukama,
ye mubeezi wammwe, era ye ngabo yammwe.
12 Mukama anaatujjukiranga, era anaatuwanga omukisa.
Ab’ennyumba ya Isirayiri anaabawanga omukisa;
ab’omu nnyumba ya Alooni anaabawanga omukisa;
13 (K)n’abo abamutya, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa,
Mukama anaabawanga omukisa.
14 (L)Mukama abaaze mweyongere nnyo obungi,
mmwe n’abaana bammwe.
15 (M)Mukama, eyakola eggulu n’ensi,
abawe omukisa.
16 (N)Eggulu ery’oku ntikko lya Mukama,
naye ensi yagiwa abantu bonna.
17 (O)Abafu tebatendereza Mukama,
wadde abo abaserengeta emagombe.
18 (P)Naye ffe tunaatenderezanga Mukama,
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
Mutendereze Mukama!
3 (A)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Mwatundibwa bwereere
era mujja kununulibwa awatali kusasula nsimbi.”
4 (B)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna nti,
“Omulundi ogwasooka abantu bange baagenda e Misiri okusengayo,
oluvannyuma, Omwasuli n’abajooga.
5 (C)“Kaakano kiki ate kye ndaba wano?
“Kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere
era abo ababafuga babasekerera,”
bw’ayogera Mukama.
“Erinnya lyange
livvoolebwa olunaku lwonna.
6 (D)Mu biseera ebijja abantu bange balimmanya.
Olunaku lujja lwe balitegeera nga nze nakyogera.
Weewaawo, Nze.”
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Efeso
2 (A)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Efeso wandiika nti:
Bw’ati bw’ayogera oyo akwata emmunyeenye omusanvu mu ngalo ze mu mukono gwe ogwa ddyo, oyo atambulira wakati w’ebikondo by’ettaala omusanvu ebya zaabu.
2 (B)Nti mmanyi ebikolwa byo n’okugumiikiriza kwo, era nga tosobola kugumiikiriza bakozi ba bibi era ng’ogezesezza abo abeeyita abatume n’obavumbula nga balimba. 3 (C)Era ogumiikirizza okubonaabona n’oguma olw’erinnya lyange, n’otokoowa.
4 (D)Naye nnina ensonga gye nkuvunaana: tokyanjagala nga bwe wanjagalanga edda. 5 (E)Noolwekyo jjukira we waseeseetuka. Weenenye, onjagale nga bwe wanjagalanga edda. Naye bw’otookole bw’otyo ndijja gy’oli ne nzigyawo ekikondo ky’ettaala yo mu kifo kyakyo, okuggyako nga weenenya. 6 (F)Wabula ekirungi ekikuliko kye kino: okyawa ebikolwa by’Abanikolayiti[a] nga nange bwe mbikyawa.
7 (G)Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa okulya ku muti ogw’obulamu oguli mu nnimiro ya Katonda.
2 (A)Awo bwe waayitawo ennaku bbiri ne wabaawo embaga ey’obugole mu Kaana eky’e Ggaliraaya ne nnyina Yesu yaliyo. 2 Yesu awamu n’abayigirizwa be nabo baayitibwa. 3 Wayini bwe yaggwaawo, nnyina Yesu n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Tebakyalina wayini.”
4 (B)Yesu n’amuddamu nti, “Maama ndeka, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.”
5 (C)Nnyina Yesu n’agamba abaweereza nti, “Kyonna ky’abagamba kye muba mukola.”
6 (D)Waaliwo amasuwa amanene mukaaga agaategekebwa olw’omukolo gw’Abayudaaya ogw’okwetukuza, buli limu nga lirimu lita kikumi oba kikumi mu ataano.
7 Yesu n’agamba abaweereza nti, “Amasuwa mugajjuze amazzi.” Ne bagajjuza okutuuka ku migo. 8 Awo n’abagamba nti, “Kale musene mutwalire omukulu w’abagabuzi.”
Ne basena ne bamutwalira. 9 (E)Omukulu w’abagabuzi bwe yalega ku mazzi agafuuse wayini, nga tamanyi gy’avudde, so nga bo abaweereza baali bamanyi, n’ayita omugole omusajja 10 n’amugamba nti, “Bulijjo omuntu asooka kugabula wayini omuka, n’oluvannyuma ng’abagenyi be banywedde nnyo, tebakyafaayo olwo n’alyoka agabula ogutali muka nnyo. Naye ggwe wayini omuka gw’osembezzaayo!”
11 (F)Ekyamagero kino, Yesu kye yasookerako okukola mu lwatu mu Kaana eky’e Ggaliraaya, ng’alaga ekitiibwa kye. Abayigirizwa be bwe baakiraba ne bamukkiriza.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.