Book of Common Prayer
Ya Dawudi.
16 (A)Onkuume, Ayi Katonda,
kubanga ggwe buddukiro bwange.
2 (B)Nagamba Mukama nti, “Ggwe Mukama wange,
ebirungi byonna bye nnina biva gy’oli.”
3 (C)Abatukuvu abali mu nsi be njagala
era mu bo mwe nsanyukira.
4 (D)Ennaku y’abo abagoberera bakatonda abalala
yeeyongera.
Siriwaayo ssaddaaka zaabwe ez’omusaayi,[a]
wadde okusinza bakatonda baabwe.
5 (E)Mukama, ggwe mugabo gwange,
era ggw’oliisa obulamu bwange; era ggw’olabirira ebyange.
6 (F)Ensalo zange ziri mu bifo ebisanyusa,
ddala ddala omugabo omulungi.
7 (G)Nnaatenderezanga Mukama kubanga annuŋŋamya
ne mu kiro ayigiriza omutima gwange.
8 (H)Nkulembeza Mukama buli kiseera,
era ali ku mukono gwange ogwa ddyo,
siinyeenyezebwenga.
9 (I)Noolwekyo omutima gwange gusanyuka, n’akamwa kange ne kajaguza;
era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu mirembe.
10 (J)Kubanga omwoyo gwange toliguleka magombe,
wadde okukkiriza Omutukuvu wo okuvunda.
11 (K)Olindaga ekkubo ery’obulamu;
w’oli we wanaabanga essanyu erijjuvu,
era mu mukono gwo ogwa ddyo nga mwe muli ebisanyusa emirembe gyonna.
Okusaba kwa Dawudi.
17 (L)Wulira, Ayi Mukama, okukoowoola kwange nga nneegayirira,
wuliriza okukaaba kwange.
Tega okutu owulirize okukoowoola kwange,
kubanga tekuva ku mimwa gya bulimba.
2 Nzigyako omusango;
kubanga olaba ekituufu.
3 (M)Weekenneenyezza omutima gwange era n’onkebera n’ekiro.
Ne bw’onongezesa toobeeko kibi ky’onsangamu;
kubanga mmaliridde obutayogeranga bya bulimba.
4 Ggwe, gwe nkoowoola,
ngoberedde ebigambo by’akamwa ko,
ne neewala
ebikolwa by’abantu abakambwe.
5 (N)Nnyweredde mu makubo go,
era ebigere byange tebiigalekenga.
6 (O)Nkukoowoola, Ayi Katonda, kubanga mmanyi ng’onnyanukula;
ontegere okutu kwo owulire okusaba kwange.
7 (P)Ndaga okwagala kwo okutaggwaawo, okwewuunyisa,
ggwe alokola n’omukono gwo ogwa ddyo
abo bonna abakweyuna nga badduka abalabe baabwe.
8 (Q)Onkuume ng’emmunye ey’eriiso lyo; onkweke mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
9 (R)Omponye ababi abannumba,
n’abalabe bange abanneetoolodde.
10 (S)Omutima gwabwe mukakanyavu,
n’akamwa kaabwe koogera by’amalala.
11 (T)Banzingizza era banneetoolodde;
bansimbye amaaso nga beeteeseteese okunsuula wansi.
12 (U)Bali ng’empologoma enjala gy’eruma eyeeteeseteese okutaagula omuyiggo gwayo
era ng’empologoma enkulu eteeze.
13 (V)Golokoka n’ekitala kyo, Ayi Mukama,
oyolekere abalabe bange obawangule, omponye ababi abo.
14 (W)Ayi Mukama, mponya abantu,
abantu ab’ensi n’omukono gwo, kubanga balowooleza mu bya bulamu buno byokka, n’emigabo gyabwe giri mu nsi.
Embuto zaabwe zigezze,
obagaggawazizza ne baterekera n’abaana baabwe
ne bazzukulu baabwe.
15 (X)Nze ndikulaba n’amaaso mu butuukirivu
era ndimatira, bwe ndiraba obwenyi bwo nga nzuukuse.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
22 (A)Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?
Lwaki ogaana okunnyamba
wadde okuwuliriza okwaziirana kwange?
2 (B)Ayi Katonda wange, emisana nkukoowoola, naye tonnyanukula;
n’ekiro bwe ntyo, naye siweerako.
3 (C)Songa ggwe Mutukuvu atudde ku Ntebe,
era ettendo lya Isirayiri yonna.
4 Bajjajjaffe baakwesiganga;
baakwesiga naawe n’obawonya.
5 (D)Baakukoowoolanga n’obalokola;
era baakwesiganga ne batajulirira.
6 (E)Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, siri muntu;
abantu bampisaamu amaaso, n’abalala bannyooma.
7 (F)Bonna abandaba banduulira,
era banvuma nga bwe banyeenyeza omutwe nga bagamba nti,
8 (G)“Yeesiga Mukama;
kale amuwonye.
Obanga Mukama amwagala,
kale nno amulokole!”
9 (H)Naye ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange,
era wampa okukwesiga
ne mu buto bwange bwonna nga nkyayonka.
10 (I)Olwazaalibwa ne nteekebwa mu mikono gyo;
olwava mu lubuto lwa mmange n’obeera Katonda wange.
11 (J)Tobeera wala nange,
kubanga emitawaana ginsemberedde,
ate nga tewali mulala n’omu asobola kunnyamba.
12 (K)Zisseddume nnyingi zinneetoolodde,
zisseddume enkambwe ez’e Basani[a] zinzingizizza.
13 (L)Banjasamiza akamwa kaabwe
ng’empologoma bw’ewuluguma ng’etaagulataagula omuyiggo gwayo.
14 (M)Ngiyiddwa ng’amazzi,
n’amagumba gange gasowose mu nnyingo zaago.
Omutima gwange guli ng’obubaane,
era gusaanuukidde mu mubiri gwange.
15 (N)Amaanyi gampweddemu, gakaze ng’oluggyo;
n’olulimi lwange lukutte waggulu mu kibuno kyange.
Ondese awo mu nfuufu ng’omufu.
16 (O)Abantu ababi banneetoolodde;
banneebunguludde ng’embwa ennyingi;
banfumise ne bawummula ebibatu byange n’ebigere byange.
17 (P)Amagumba gansowose nnyinza n’okugabala.
Abalabe bange bantunuulira nga bannyoomoola.
18 (Q)Bagabana engoye zange;
era ekyambalo kyange bakikubira akalulu.
19 (R)Naye ggwe, Ayi Mukama, tobeera wala nange.
Ggwe, Amaanyi gange, yanguwa okunnyamba!
20 (S)Omponye okuttibwa n’ekitala;
obulamu bwange obw’omuwendo butaase mu maanyi g’embwa!
21 Nzigya mu kamwa k’empologoma,
omponye amayembe g’embogo enkambwe.
22 (T)Nnaategezanga ku linnya lyo mu booluganda;
nnaakutenderezanga mu kibiina ky’abantu.
23 (U)Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga.
Abaana ba Yakobo mwenna mumugulumizenga;
era mumussengamu ekitiibwa nga mumutya, mmwe abaana ba Isirayiri mwenna.
24 (V)Kubanga tanyooma kwaziirana
kw’abo abali mu nnaku,
era tabeekweka,
wabula abaanukula bwe bamukoowoola.
25 (W)Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene, ne nkutendereza olw’ebyo by’onkoledde.
Obweyamo bwange nnaabutuukirizanga mu maaso gaabo abakutya.
26 (X)Abaavu banaalyanga ne bakkuta,
abo abanoonya Mukama banaamutenderezanga.
Emitima gyabwe ginaajaguzanga emirembe gyonna.
Bowaazi ne Luusi Bafumbiriganwa
4 (A)Awo Bowaazi n’ayambuka ku wankaaki w’ekibuga n’atuula awo. Mu kiseera kye kimu, muganda we oli gwe yayogerako ngali ne Luusi, yali ayitawo. Bowaazi n’amuyita namugamba nti, “Jjangu otuuleko wano munnange.” Naye n’akkiriza, n’agenda n’atuula we yali. 2 (B)Bowaazi n’ayita n’abasajja kkumi ku bakadde b’ekibuga ne bajja ne batuula awo. 3 N’alyoka agamba muganda we nti, “Nawomi, eyakomyewo okuva mu Mowaabu, atunda ekibanja ekyali ekya muganda waffe omugenzi Erimereki. 4 (C)Ndowoozezza nti nkutegeeze ku nsonga eyo, ekibanja ekyo okigulire mu maaso g’abakadde baffe. Bw’oba ng’oyagala okukinunula kinunule. Naye bw’oba nga toyagala, ntegeeza nkimanye. Tewali mulala alina buyinza kukinunula wabula ggwe, ate nga nze nkuddirira mu lunyiriri lwaffe.”
Omusajja n’addamu nti, “Nzija kukinunula.”
5 (D)Awo Bowaazi n’amugamba nti, “Olunaku lw’oligula ekibanja ekyo ku Nawomi, ne Luusi Omumowaabu, nnamwandu naye olimutwala, erinnya lye yafa n’olikuuma n’ebintu bye n’obirabirira.”
6 (E)Amangwago, omusajja n’addamu nti, “Nze sisobola kukinunula kubanga nnyinza okwonoona obusika bwange. Noolwekyo gwe kinunule.”
7 (F)(Edda mu Isirayiri, empisa ey’okununula n’okuwaanyisa, yali nga bw’eti: omuntu omu yaggyangamu engatto[a] ye, n’agiwa munne. Eno ye yali ng’enkola entuufu mu Isirayiri).
8 Awo omusajja n’agamba nti, “Kyegulire.” Amangwago Bowaazi n’aggyamu engatto ye. 9 Bowaazi n’alangirira eri abakadde n’abantu bonna nti, “Olwa leero, nguze ku Nawomi ebintu byonna ebya Erimereki, n’ebya Kiriyoni n’ebya Maloni, era mmwe muli bajulirwa. 10 (G)Era ne Luusi Omumowaabu, nnamwandu wa Maloni, naye mututte okuba mukazi wange, okusobola okukuuma erinnya ly’omugenzi Erimereki n’ebintu bye, erinnya lye lireme okufiira awo ate n’okugibwa ne ligibwa mu bitabo bye byafaayo eby’ekibuga. Mmwe bajulirwa!”
11 (H)Awo abakadde n’abantu bonna abaali ku wankaaki ne boogera nti, “Tuli bajulirwa. Mukama Katonda amufaananye nga Laakeeri ne Leeya[b], abaazimbira awamu ennyumba ya Isirayiri. Naawe Bowaazi oyale mu Efulasi, era oyatiikirire mu Besirekemu, 12 (I)era n’ezzadde Mukama Katonda ly’anaakuwa mu mukazi oyo, libeere ng’ennyumba ya Pereezi[c], Tamali gwe yazaalira Yuda.”
13 (J)Awo Bowaazi n’awasa Luusi okuba mukazi we, n’ayingira gy’ali, n’aba olubuto, Mukama Katonda n’amusobozesa okuzaala omwana owoobulenzi. 14 (K)Abakyala ne bagamba Nawomi nti, “Mukama Katonda yeebazibwe, oyo atakulese nga tolina mununuzi olunaku lwa leero. Era erinnya ly’omwana lyatiikirire mu Isirayiri yonna! 15 (L)Kubanga muka mwana wo akwagala, alizza obuggya obulamu bwo n’akuwanirira mu bukadde bwo; era akusingira abaana omusanvu, be yandizadde.”
16 Awo Nawomi n’atwala omwana, n’amuwambaatira mu kifuba kye, n’amulabirira. 17 (M)Abakyala ab’oku muliraano ne bagamba nti, “Ewa Nawomi ezaaliddwayo omwana.” Ne bamutuuma erinnya Obedi, oyo ye kitaawe wa Yese, era jjajja wa Dawudi.
17 (A)Abakulembeze abafuga basaanidde okuweebwanga ekitiibwa kingi, na ddala abo abanyiikira ennyo mu kubuulira n’okuyigiriza ekigambo kya Katonda. 18 (B)Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba nti, “Ente ng’ewuula eŋŋaano, togisibanga mumwa.” Era nti, “Omukozi asaanira okusasulwa empeera ye.” 19 (C)Tokkirizanga ebyo bye bavunaana omukulembeze okuggyako nga biriko abajulirwa babiri oba basatu. 20 (D)Kyokka abo aboonoona banenyezenga mu lwatu, abalala balyoke batye. 21 (E)Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, ne bamalayika abalonde okugobereranga ebyo, nga teweekubira wadde okusaliriza.
22 (F)Toyanguyirizanga kussaako mikono ku muntu yenna, so tossanga kimu na bibi by’abalala; weekuumenga ng’oli mulongoofu.
23 (G)Lekeraawo okunywanga amazzi gokka, naye nywanga ne ku wayini mutono olw’olubuto lwo, n’olw’okulwalalwala kwo.
24 Ebibi by’abantu abamu birabika lwatu nga tebannasalirwa musango kubasinga, naye eby’abalala birabika luvannyuma. 25 N’ebikolwa ebirungi nabyo bwe bityo birabika lwatu; ne bwe biba tebirabise lwatu, tebiyinza kukwekebwa bbanga lyonna.
Yesu Awonya Omulwadde w’Entumbi ku Ssabbiiti
14 (A)Awo olwatuuka ku lunaku lwa Ssabbiiti, Yesu bwe yali ng’agenze okulya mu nnyumba ey’omu ku bakulembeze b’Abafalisaayo, abantu bonna abaaliwo ne bamwekaliriza amaaso. 2 Waaliwo omusajja omulwadde w’entumbi ng’atudde okwolekera Yesu we yali. 3 (B)Awo Yesu n’abuuza Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka nti, “Kikkirizibwa okuwonya ku lunaku lwa Ssabbiiti, oba nedda?” 4 Yesu yalaba tebazzeemu, kwe kukwata omusajja omulwadde ku mukono, n’amuwonya, n’amugamba yeetambulire.
5 (C)N’alyoka abakyukira n’ababuuza nti, “Ani ku mmwe singa omwana we agwa mu kinnya oba ente ye n’egwa mu kinnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, atamuggyayo oba atagiggyaayo mangwago?” 6 Era ne batamuddamu.
Okwetoowaza ku Bugenyi
7 (D)Awo Yesu bwe yalaba abagenyi abaayitibwa n’abagerera olugero ng’agamba nti, 8 “Bwe bakuyitanga ku mbaga ey’obugole, teweetuuzanga mu kifo ekisinga okuba eky’ekitiibwa kubanga singa ejjayo omugenyi akusinga ekitiibwa, 9 eyakuyise ku mbaga ajja kumuleeta awo w’otudde akugambe nti, ‘Viira ono atuule awo w’otudde.’ Noolyoka ositukawo ng’oswadde ogende onoonye ekifo ekirala emabega. 10 Naye bwe bakuyitanga, otuulanga mu kifo eky’emabega, kale nno eyakuyise bw’ajja alyoke akugambe nti, ‘Mukwano gwange, jjangu nkutwale mu kifo eky’omu maaso.’ Noolyoka osituka nga ne bagenyi banno bakuwa ekitiibwa. 11 (E)Kubanga buli muntu eyeegulumiza alitoowazibwa; n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.