Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 119:1-24

א Alefu

119 (A)Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu;
    abatambulira mu mateeka ga Mukama.
(B)Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye,
    era abanoonya Mukama n’omutima gwabwe gwonna.
(C)Abo abatasobya, era abatambulira mu makubo ge.
Ggwe wateekawo ebiragiro byo;
    n’olagira bigonderwenga n’obwegendereza bungi.
Ayi Mukama, nsaba mbeerenga munywevu bulijjo;
    nga nkuuma bye walagira.
Bwe ntyo siriswazibwa, amaaso gange nga
    ngasimbye ku ebyo bye walagira byonna.
Nga njiga ebiragiro byo ebitukuvu,
    nnaakutenderezanga n’omutima omulungi.
Nnaakwatanga amateeka go;
    Ayi Mukama, tonsuulira ddala.

ב Bessi

(D)Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu?
    Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.
10 (E)Nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
    tonzikiriza kuva ku mateeka go.
11 (F)Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange;
    ndyoke nneme okwonoona.
12 (G)Ogulumizibwe, Ayi Mukama;
    onjigirize amateeka go.
13 (H)Njatula n’akamwa kange
    amateeka go gonna ge walagira.
14 Nsanyukira okugondera ebiragiro byo,
    ng’asanyukira eby’obugagga.
15 (I)Nnaafumiitirizanga ku biragiro byo,
    ne nzisaayo omwoyo ku makubo go.
16 (J)Nnaasanyukiranga amateeka go,
    era siigeerabirenga.

ג Gimero

17 (K)Omuddu wo omukolere ebirungi, mbe omulamu,
    ngobererenga ekigambo kyo.
18 Ozibule amaaso gange, nsobole okulaba
    eby’ekitalo ebiri mu mateeka go.
19 (L)Nze ndi muyise ku nsi;
    tonkisa bye walagira.
20 (M)Bulijjo emmeeme yange
    eyaayaanira amateeka go.
21 (N)Onenya ab’amalala, abaakolimirwa,
    abaleka amateeka go.
22 (O)Mponya okuduula kwabwe n’okunyooma kwabwe;
    kubanga bye walagira mbigondera.
23 Newaakubadde ng’abalangira bansalira enkwe;
    naye nze, omuweereza wo, nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
24 Amateeka go lye ssanyu lyange,
    era ge gannuŋŋamya.

Zabbuli 12-14

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

12 (A)Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda;
    abantu abeesigwa bonna baweddewo.
(B)Buli muntu alimba munne;
    akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.

(C)Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana,
    na buli lulimi olwenyumiriza;
nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe,
    kubanga ani alitukuba ku mukono.”

(D)Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu,
    n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu,
nnaasituka kaakano
    ne nnwanirira abo abalumbibwa.”
(E)Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima.
    Bigeraageranyizibwa n’effeeza
    erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.

(F)Ayi Mukama, tukwesiga ng’onootukuumanga,
    n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna.
(G)Ababi beeyisaayisa
    nga bagulumiza ebitaliimu nsa.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

13 (H)Olinneerabira kutuusa ddi, Ayi Mukama? Okutuusa emirembe gyonna?
    Olikomya ddi okunkweka amaaso go?
(I)Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi,
    n’okunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi?
    Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza?

(J)Onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange;
    onzizeemu amaanyi nneme okufa.
(K)Si kulwa ng’omulabe wange yeewaana nti, “Mmuwangudde;”
    abalabe bange ne bajaguza nga ngudde.

(L)Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka;
    era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo.
(M)Nnaayimbiranga Mukama,
    kubanga ankoledde ebirungi.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

14 (N)Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,
    “Tewali Katonda.”
Aboogera bwe batyo boonoonefu,
    bakola ebitasaana tekuli n’omu ku bo akola kirungi.

(O)Mukama atunuulira abantu bonna mu nsi
    ng’asinziira mu ggulu,
okulaba obanga mulimu mu bo ategeera,
    era abanoonya Katonda.
(P)Naye bonna bakyamye
    boonoonese;
teri akola kirungi,
    era teri n’omu.

(Q)Abo bonna abakola ebibi tebaliyiga?
    Kubanga basaanyaawo abantu bange ng’abalya emmere;
    so tebakoowoola Mukama.
Balitya nnyo!
    Kubanga Katonda abeera wamu n’abatuukirivu.
(R)Mulemesa entegeka z’omwavu,
    songa Mukama kye kiddukiro kye.

(S)Singa obulokozi bwa Isirayiri butuuse mu kiseera kino nga buva mu Sayuuni!
    Mukama bw’alirokola abantu be,
    Yakobo alijaguza ne Isirayiri alisanyuka.

Luusi 2:14-23

14 (A)Ekiseera ekyokulya bwe kyatuuka, Bowaazi n’agamba Luusi nti, “Jjangu okoze omugaati gwo mu wayini akatuuse[a].”

Awo Luusi bwe yatuula wansi, Bowaazi n’amuwa sayiri ensiike, n’alya, n’akkuta, n’emulemera nawo. 15 Oluvannyuma ng’okulya kuwedde, n’agolokoka agende alonde, era Bowaazi n’alagira abaddu be nti, “Ne bw’anaalonda mu binywa temumugaana. 16 Wakiri, mumuleke yerondere mu miganda so temumuwuuna.”

17 Awo Luusi n’alonda mu nnimiro okutuuka akawungeezi, oluvannyuma n’awuula ne sayiri gye yali akuŋŋaanyizza, n’aweza nga kilo kkumi na ssatu. 18 (B)Yonna n’agyetikka, n’agitwala mu kibuga, ne nnyazaala we n’agiraba. Era yamuleetera ne ku mmere gye yali afissizzaawo.

19 (C)Nnyazaala we yasanyuka nnyo, era n’amubuuza nti, “Wakoze mu nnimiro y’ani leero? Aweebwe omukisa oyo akukwatiddwa ekisa!” Awo Luusi n’abuulira nnyazaala we nannyini nnimiro mwe yakoze, n’erinnya ly’omwami nga ye Bowaazi.

20 (D)Nawomi namugamba nti, “Mukama Katonda atalekanga kulaga kisa eri abalamu n’abafu, amuwe omukisa. Anti omusajja oyo muganda waffe ddala, era y’omu ku banunuzi[b] baffe ddala.”

21 Luusi Omumowaabu n’ayongerako nti, “N’okuŋŋamba yaŋŋambye nti nkolere wamu n’abakozi be okutuusa lwe balimala eby’okukungula bye.”

22 Awo Nawomi n’agamba Luusi muka mwana we nti, “Kijja kuba kirungi nnyo muwala wange, okubeeranga kumpi nabaweereza be abakazi, kubanga singa onoogenda mu nnimiro y’omulala akabi kayinza okukutuukako.”

23 (E)Awo Luusi n’abeeranga kumpi n’abaweereza ba Bowaazi ng’alonda okutuusa amakungula ga sayiri n’eŋŋaano bwe gaggwa, n’abeeranga wamu ne nnyazaala we.

1 Timoseewo 3

Abalabirizi b’Ekkanisa

(A)Ekigambo kyesigwa. Omuntu yenna bw’ayagalanga okuba Omulabirizi aba yeegombye omulimu omulungi. (B)Noolwekyo Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja wa mukazi omu, nga muntu eyeefuga, nga mwegendereza, nga mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, era ng’amanyi okuyigiriza. (C)Tateekwa kuba mutamiivu, era nga si mukambwe, wabula omuwombeefu, nga si muyombi era nga talulunkanira nsimbi. (D)Ateekwa kuba ng’afuga bulungi amaka ge, abaana be nga bamuwulira, era nga bamussaamu ekitiibwa. (E)Kubanga omuntu atasobola kufuga maka ge, alisobola atya okulabirira ekkanisa ya Katonda? (F)Omulabirizi tateekwa kuba muntu eyaakakkiriza Kristo, si kulwa nga yeekuluntaza, n’asalirwa omusango nga Setaani bwe yagusalirwa. (G)Asaanira okuba ng’assibwamu ekitiibwa abo abatali ba Kkanisa, si kulwa nga yeereetako ekivume.

Abadiikoni

(H)Abadiikoni nabo kibagwanira okuba abantu abassibwamu ekitiibwa abatataaganaaga mu bigambo byabwe, abatatamiira, era abatalulunkanira bintu, (I)nga bakuuma ekyama ky’okukkiriza n’omutima omulongoofu. 10 Basookanga kugezesebwa balyoke baweereze mu budiikooni nga tebaliiko kya kunenyezebwa. 11 (J)N’abakazi Abadiikoni bwe batyo nabo kibagwanidde okubeeranga abassibwamu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, era abeesigwa mu buli kintu. 12 (K)Omudiikoni ateekwa okuba n’omukazi omu yekka, era ng’asobola okufuga obulungi abaana be, n’amaka ge. 13 Kubanga abaweereza obulungi bafuna ekifo ekya waggulu era baba n’obuvumu bungi mu kukkiriza okuli mu Kristo.

Ekyama Ekikulu

14 Nkuwandiikidde ebintu ebyo nga nsuubira okujja gy’oli mangu; 15 (L)kyokka bwe ndirwa omanye by’osaana okukola mu nnyumba ya Katonda, ye Ekkanisa ya Katonda omulamu, empagi n’omusingi eby’amazima. 16 (M)Tewali kubuusabuusa ekyama ky’okutya Katonda kikulu ddala, era kigamba nti:

“Yalabisibwa mu mubiri,
    n’akakasibwa Omwoyo nga bw’atuukiridde,
n’alabibwa bamalayika,
    n’alangibwa mu mawanga,
n’akkirizibwa mu nsi,
    era n’atwalibwa n’ekitiibwa mu ggulu.”

Lukka 13:18-30

Olugero lw’Akaweke ka Kaladaali

18 (A)Awo Yesu kyeyava abayigiriza ng’agamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda bufaanana na ki? Mbugeraageranye na ki? 19 (B)Bufaanana na kaweke ka kaladaali omusajja ke yasiga mu nnimiro ye. Kaamera ne kavaamu omuti, n’ennyonyi ez’omu bbanga ne zituula ku matabi gaagwo.”

20 Ate era n’agamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda mbugeraageranye na ki? 21 (C)Buliŋŋanga ekizimbulukusa omukazi kye yatabulira mu bipimo by’obuwunga bisatu okutuusa obuwunga bwonna lwe bwazimbulukuka.”

Omulyango Omufunda

22 (D)Awo Yesu n’ayita mu bibuga ne mu bubuga; yagendanga ayigiriza ng’ali ku lugendo lwe ng’agenda e Yerusaalemi. 23 Ne wabaawo eyeewuunya nti, “Mukama waffe, abantu abalirokolebwa nga baliba batono?”

Yesu n’addamu nti, 24 (E)“Mufube okuyingira mu mulyango omufunda kubanga mbagamba nti, bangi balyagala okuyingira naye tebalisobola. 25 (F)Nannyinimu bw’alisituka n’aggalawo oluggi, mugenda kubeera bweru nga mukonkona nga bwe mwegayirira nti, ‘Mukama waffe, tuggulirewo.’ Agenda kubaanukula nti, ‘Sibamanyi, ne gye muva simanyiiyo.’ 26 Nammwe muliddamu nti, ‘Twalyanga naawe era twanywanga ffenna, era wayigirizanga mu nguudo z’ewaffe.’ 27 (G)Naye alibaddamu nti, ‘Sibamanyi, ne gye muva simanyiiyo. Munviire mwenna abakozi b’ebitali bya bituukirivu.’ 28 (H)Era waliba okukuba ebiwoobe n’okuluma obujiji bwe muliraba Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo ne bannabbi bonna nga bali mu bwakabaka bwa Katonda, naye nga mmwe musuulibbwa ebweru. 29 (I)Kubanga abantu baliva ebuvanjuba n’ebugwanjuba, ne bava ne mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo, ne batuula ku mmeeza mu bwakabaka bwa Katonda. 30 (J)Era laba, abooluvannyuma baliba aboolubereberye, n’aboolubereberye baliba abooluvannyuma.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.