Book of Common Prayer
Ya mukulu wa Bayimbi. Ya ndere. Zabbuli ya Dawudi.
5 Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama;
olowooze ku kunyolwa kwange.
2 (A)Wuliriza eddoboozi ly’omulanga gwange,
Ayi Kabaka wange era Katonda wange:
kubanga ggwe gwe nsaba.
3 (B)Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange;
buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange,
ne nnindirira onziremu.
4 (C)Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi:
n’ebitasaana tobigumiikiriza.
5 (D)Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go:
kubanga okyawa abakola ebibi bonna.
6 (E)Abalimba bonna obazikiriza;
Mukama akyawa abatemu
era n’abalimba.
7 (F)Naye olw’ekisa kyo ekingi,
nze nnaayingiranga mu nnyumba yo:
ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu
n’okutya okungi.
8 (G)Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo,
olw’abalabe bange,
ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu.
9 (H)Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa;
emitima gyabwe gijjudde bussi bwereere.
Emimiro gyabwe ntaana eyasaamiridde:
akamwa kaabwe koogera bya bulimba.
10 (I)Basalire omusango gubasinge, Ayi Katonda;
baleke bagwe mu mitego gyabwe.
Bagobe
kubanga baakujeemera.
11 (J)Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga;
ennaku zonna bayimbenga n’essanyu,
obakuumenga,
abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.
12 (K)Kubanga, Ayi Mukama, omutuukirivu omuwa omukisa;
era omukuuma, n’omwetoolooza okwagala ng’engabo.
Eri Omukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.
6 (L)Ayi Mukama, tonnenya ng’ojjudde obusungu;
so tombonereza mu kiruyi kyo.
2 (M)Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi munafu.
Omponye, Ayi Mukama, kubanga amagumba gange gali mu bulumi.
3 (N)Emmeeme yange ejjudde ennaku.
Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe?
4 (O)Onkyukire, Ayi Mukama, olokole omwoyo gwange;
omponye okufa olw’okwagala kwo okungi.
5 (P)Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa.
Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe?
6 (Q)Mpweddemu amaanyi olw’okusinda.
Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gange
n’omutto ne gutoba.
7 (R)Amaaso gange ganafuye olw’okunyolwa,
tegakyalaba bulungi olw’abalabe bange.
10 (A)Lwaki otwekwese, Ayi Mukama?
Lwaki otwekwese mu biseera eby’emitawaana?
2 Omubi, mu malala ge, ayigganya abanafu;
muleke agwe mu nkwe ezo z’asaze.
3 (B)Kubanga omubi yeewaana ng’anyumya ku bibi ebiri mu mutima gwe,
agabula aboomululu n’avuma Mukama.
4 (C)Omubi mu malala ge
tanoonya Katonda.
5 Buli ky’akola kimugendera bulungi.
Amateeka go tagafaako,
era n’abalabe be abanyooma.
6 (D)Ayogera mu mutima gwe nti, “Sikangibwa,
nzija kusanyuka emirembe gyonna.”
7 (E)Mu kamwa ke mujjudde okukolima n’obulimba awamu n’okutiisatiisa;
ebigambo bye bya mutawaana era bibi.
8 (F)Yeekukuma mu byalo
okutemula abantu abataliiko musango.
Yeekweka ng’aliimisa b’anatta.
9 (G)Asooba mu kyama ng’empologoma,
ng’alindirira okuzinduukiriza abateesobola.
Abakwasa n’abatwalira mu kitimba kye.
10 B’abonyaabonya bagwa wansi
ne babetentebwa ng’amaanyi g’omubi gabasukkiridde.
11 (H)Ayogera mu mutima gwe nti, “Katonda yeerabidde, amaaso ge agakwese,
era takyaddayo kubiraba.”
12 (I)Golokoka, Ayi Mukama, ozikirize omubi, Ayi Katonda;
abanaku tobeerabiranga.
13 Omuntu omubi ayinza atya okukunyooma, Ayi Katonda,
n’agamba mu mutima gwe nti
“Sigenda kwennyonnyolako?”
14 (J)Naye ggwe, Ayi Katonda, ennaku zaabwe n’okubonaabona kwabwe obiraba
era ojja kubikolako.
Ateesobola yeewaayo mu mikono gyo,
kubanga gwe mubeezi w’abatalina bakitaabwe.
15 (K)Malawo amaanyi g’omwonoonyi,
muyite abyogere ebyo
ebibadde bitajja kuzuulwa.
16 (L)Mukama ye Kabaka emirembe n’emirembe.
Amawanga galizikirizibwa mu nsi ye.
17 (M)Mukama awulira okwetaaga kw’ababonyaabonyezebwa, ogumye emitima gyabwe;
otege okutu kwo obaanukule.
18 (N)Olwanirira abataliiko bakitaabwe n’abajoogebwa;
omuntu obuntu ow’oku nsi n’ataddayo kubatiisa.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
11 (O)Mu Mukama mwe neekweka;
ate muyinza mutya okuŋŋamba nti,
“Ddukira ku nsozi ng’ebinyonyi?
2 (P)Kubanga laba ababi baleega emitego gyabwe
egy’obusaale,
balase abalina omutima
omulongoofu.
3 (Q)Emisingi nga gizikirizibwa,
omutuukirivu ayinza kukola ki?”
4 (R)Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu;
Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu.
Amaaso ge gatunuulira
era geetegereza abaana b’abantu.
5 (S)Mukama akebera abatuukirivu
naye omutima gwe gukyawa ababi,
n’abakola eby’obukambwe.
6 (T)Ababi alibayiwako
amanda ag’omuliro;
n’empewo ezibambula gwe guliba omugabo gwabwe.
7 (U)Kubanga Mukama mutuukirivu
era ayagala eby’obutuukirivu;
abo abalongoofu be balimulaba.
19 (A)Oluvannyuma bombi ne batambula okutuuka e Besirekemu. Bwe batuuka e Besirekemu, ekibuga kyonna ne kisasamala ku lwabwe, era abakazi ne beebuuza nti, “Ddala ono ye Nawomi?”
20 (B)Bwe yawulira ekyo, n’abaddamu nti, “Temumpita Nawomi, naye mumpite Mala, kubanga Mukama Ayinzabyonna yalumya obulamu bwange n’okukaawa bunkayiridde. 21 (C)Nagenda nnina ebintu bingi, naye Mukama Katonda ankomezzaawo nga sirina kantu, kale lwaki mumpita Nawomi? Katonda Ayinzabyonna yandeetera okubonaabona.”
22 (D)Bw’atyo Nawomi n’akomawo e Besirekemu, okuva mu Mowaabu ne muka mwana we Luusi Omumowaabu, mu kiseera eky’okukungula sayiri[a] nga kyakatandika.
Luusi Asisinkana Bowaazi
2 (E)Nawomi yalina mulamu we, ng’ava mu kika kya bba, Erimereki, nga mugagga, erinnya lye nga ye Bowaazi. 2 (F)Awo Luusi Omumowaabu n’agamba Nawomi nti, “Ka ŋŋende mu nnimiro okulonda ebirimba bya sayiri, ngoberere oyo anankwatirwa ekisa[b].” Nawomi n’amuddamu nti, “Genda, muwala wange.” 3 Amangwago, n’agenda, n’atandika okulonda mu nnimiro abakunguzi we bayise. Awo ne yesanga ng’atuuse mu nnimiro ya Bowaazi, ow’omu kika kya Erimereki.
4 (G)Mu kiseera kye kimu Bowaazi n’atuuka okuva e Besirekemu, n’agamba abakunguzi be nti, “Mukama Katonda abeere nammwe.”
Nabo ne bamuddamu nti, “Naawe Mukama Katonda akuwe omukisa.”
5 Awo Bowaazi n’abuuza nampala wa bakunguzi be nti, “Omuwala ono w’ani?” 6 (H)N’amuddamu nti, “Ono ye muwala Omumowaabu eyajja ne Nawomi okuva e Mowaabu. 7 Atwegayiridde alondelonde abakunguzi we bayise mu binywa, era asiibye akola okuva obw’enkya okutuusa essaawa eno, okuggyako akabanga akatono ke yawumuddemu.”
8 Awo Bowaazi n’agamba Luusi nti, “Wuliriza, muwala ggwe. Togendanga n’olondanga mu nnimiro endala yonna, tovanga mu eno, naye obeeranga wamu nabaweereza bange abawala. 9 Gendereranga ennimiro basajja bange mwe bamaze okukungula, era ogobererenga abawala. Abasajja mbalagidde obutakutawanya. Era ennyonta bw’ekulumanga, onywenga ku mazzi abasajja ge basenye.”
10 (I)Awo Luusi bwe yawulira ebyo, n’avuunama ku ttaka, ng’agamba nti, “Ng’ondaze ekisa mu maaso go, n’onfaako nze, munnaggwanga.” 11 (J)Naye Bowaazi n’addamu nti, “By’okoledde nnyazaala wo kasookedde balo afa, ne bwe waleka kitaawo ne nnyoko era n’abantu bo n’ojja mu nsi ey’abantu botomanyi, babintegezezza byonna. 12 (K)Mukama Katonda wa Isirayiri gwe weeyuna wansi w’ebiwaawaatiro bye, akusasule olw’ebyo by’okoze, era akuwe empeera ennene ddala.”
13 Awo Luusi n’addamu nti, “Nneeyongere okulaba ekisa mu maaso go mukama wange, kubanga oyogedde ebigambo ebyekisa eri omuweereza wo era emmeeme yange ogizizza mu nteeko wadde nga sigwanira kuba omu ku baweereza bo.”
18 (A)Mwana wange Timoseewo, nkukubiriza ojjukire ebigambo bya bannabbi bye baakwogerako edda, olyoke olwane olutalo n’obuzira, 19 (B)ng’okukkiriza, n’omwoyo omulungi, bye byokulwanyisa byo. Kubanga abalala abagaana okuba n’omwoyo ogwo omulungi bafiirwa okukkiriza kwabwe. 20 (C)Mu abo mwe muli Kumenayo ne Alegezanda be n’awaayo eri Setaani bayige obutavumanga Katonda.
Okusaba
2 Okusookera ddala, mbasaba, musabenga, mwegayirirenga, era mwebazenga Katonda ku lw’abantu bonna. 2 (D)Era musabirenga bakabaka n’abafuzi abalala bonna, tulyoke tube bulungi nga tuli mirembe, nga tussaamu Katonda ekitiibwa, era nga twegendereza mu buli ngeri. 3 Ekyo kirungi era ekisiimibwa mu maaso ga Katonda Omulokozi waffe, 4 (E)ayagala abantu bonna balokolebwe, era bategeere amazima. 5 (F)Kubanga Katonda ali omu, era omutabaganya w’abantu ne Katonda ali omu, ye muntu Kristo Yesu, 6 (G)eyeewaayo abe omutango olwa bonna. Ekyo kyakakasibwa mu kiseera kyakyo ekituufu. 7 (H)Era nze kye nateekebwawo mbeere omutume era omuyigiriza w’Abamawanga, mbategeeze eby’okukkiriza n’eby’amazima; njogera bituufu sirimba.
8 (I)Noolwekyo njagala abantu buli wantu, basabenga Katonda nga bayimusa emikono gyabwe emirongoofu, nga tebalina busungu wadde empaka.
Yesu Awonya Omukazi Omulema ku Ssabbiiti
10 (A)Awo ku lunaku lwa Ssabbiiti Yesu yali ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro, 11 (B)ne wabaawo omukazi eyaliko omuzimu ogwamulwaza okumala emyaka kkumi na munaana, nga yeewese emirundi ebiri era nga tasobola kwegolola. 12 Yesu n’amulaba, n’amuyita n’amugamba nti, “Mukazi wattu, owonyezeddwa obulwadde bwo.” 13 (C)N’amukwatako. Amangwago omukazi ne yeegolola n’ayimirira bulungi, n’atendereza Katonda!
14 (D)Naye omukulembeze w’ekkuŋŋaaniro eryo n’anyiiga nnyo, kubanga Yesu yawonya ku lunaku lwa Ssabbiiti. N’agamba ekibiina nti, “Mu wiiki mulimu ennaku mukaaga, muyinza okujjanga mu nnaku ezo ne muwonyezebwa, naye so si ku Ssabbiiti!”
15 (E)Mukama waffe n’amuddamu nti, “Bannanfuusi mmwe! Buli omu ku mmwe tasumulula nte ye oba ndogoyi ye ku Ssabbiiti n’agitwala okunywa amazzi? 16 (F)Naye si kituufu omukazi ono, muwala wa Ibulayimu, okusumululwa ku Ssabbiiti mu busibe bwa Setaani bw’amazeemu emyaka ekkumi n’omunaana?”
17 (G)Bwe yayogera bw’atyo abaali bamuwakanya bonna ne baswala, naye ekibiina ky’abantu bonna ne bajjula essanyu olw’ebintu eby’ekitalo bye yakola.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.