Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 75-76

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Asafu. Oluyimba.

75 (A)Tukwebaza, Ayi Katonda.
    Tukwebaza, kubanga Erinnya lyo liri kumpi.
    Abantu boogera ku bikolwa byo eby’ekyewuunyo.

Mukama Katonda oyogera nti, “Neerondera ekiseera kye neetegekera
    era nsala omusango gwa bwenkanya.
(B)Kyokka newaakubadde ng’ensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira,
    naye nze nywezezza empagi zaayo.”
(C)Nalabula ab’amalala bagaleke,
    n’ababi bakomye okuyimusa ejjembe lyabwe ng’ery’embogo.
Mukomye okuyimusa ejjembe lyammwe eri eggulu
    n’okwogera nga muduula.

Kubanga okugulumizibwa tekuva mu ddungu
    era n’obuyinza tebuva buvanjuba wadde obugwanjuba bw’ensi,
(D)wabula biva eri Katonda;
    era ye y’agulumiza omu ate n’atoowaza omulala.
(E)Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe
    ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu;
akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi
    ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.

(F)Naye nze nnaatendanga obulungi bwa Mukama;
    nnaatenderezanga Katonda wa Yakobo ennaku zonna.
10 (G)Mukama ayogera nti, Ababi ndibamalamu amaanyi,
    naye abatuukirivu nnaabongeranga amaanyi.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Asafu.

76 Katonda amanyiddwa mu Yuda;
    erinnya lye kkulu mu Isirayiri.
(H)Eweema ye eri mu Yerusaalemi;
    era abeera mu Sayuuni.
(I)Eyo gy’asinziira n’amenyaamenya obusaale bw’omulabe obujja bwesooza;
    n’engabo n’ebitala n’ebyokulwanyisa byonna eby’olutalo.

Owa ekitangaala,
    oli wa kitiibwa okusinga ensozi ennene eziriko ensolo eziyiggibwa.
(J)Ab’amaanyi bagalamira nga banyaguluddwa,
    beebaka ne batasobola kugolokoka,
ne watabaawo n’omu asobola
    okuyimusa omukono gwe.
(K)Bw’obaboggolera, Ayi Katonda wa Yakobo,
    abeebagala embalaasi ezisika ebigaali bagwiira wamu n’ebigaali ne batagolokoka.

(L)Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga.
    Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’osunguwadde?
(M)Osalira abantu emisango ng’osinziira mu ggulu,
    ensi n’etya n’ekankana n’esirika olw’obusungu bwo,
(N)bw’ogolokoka okusala omusango,
    okuwonya ababonyaabonyezebwa mu nsi.
10 (O)Bw’osunguwalira omuntu kikuleetera okutenderezebwa,
    n’abo b’otasunguwalidde ne beegendereza.
11 (P)Mweyame obweyamo bwammwe eri Mukama Katonda wammwe, era mubutuukirizenga;
    bonna abamuli okumpi bamuleetere ebirabo,
    kubanga asaanidde okutiibwa.
12 Mukama akkakkanya abalangira,
    ne bakabaka b’ensi bamutya.

Zabbuli 23

Zabbuli ya Dawudi.

23 (A)Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.
    (B)Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto.
Antwala awali amazzi amateefu.
    (C)Akomyawo emmeeme yange.
Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivu
    olw’erinnya lye.
(D)Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;
    kubanga ggwe oli nange.
Oluga lwo n’omuggo gwo
    bye binsanyusa.

(E)Onsosootolera emmere
    abalabe bange nga balaba;
onsiize amafuta ku mutwe,[a]
    ekikompe kyange kiyiwa.
Ddala ddala obulungi n’okwagala okutaggwaawo binaagendanga nange
    ennaku zonna ez’obulamu bwange;
nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama,
    ennaku zonna.

Zabbuli 27

Zabbuli ya Dawudi.

27 (A)Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange;
    ani gwe nnaatyanga?
Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange;
    ani asobola okuntiisa?

(B)Abalabe bange n’abantu ababi bonna
    bwe banannumba nga baagala okunzita,
baneesittala
    ne bagwa.
(C)Newaakubadde ng’eggye linaasiisira okunneebungulula,
    omutima gwange teguutyenga;
olutalo ne bwe lunansitukirangako,
    nnaabanga mugumu.

(D)Ekintu kimu kye nsaba Mukama,
    era ekyo kye nnoonya:
okubeeranga mu nnyumba ya Mukama
    ennaku zonna ez’obulamu bwange,
ne ndabanga obulungi bwa Mukama,
    era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.
(E)Kubanga mu biseera eby’obuzibu
    anansuzanga mu nju ye;
anankwekanga mu weema ye,
    n’ankuumira ku lwazi olugulumivu.

(F)Olwo ononnyimusanga
    waggulu w’abalabe bange abanneetoolodde.
Nnaaweerangayo ssaddaaka mu weema ye nga bwe ntendereza n’eddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu;
    nnaayimbiranga Mukama ennyimba ez’okumutenderezanga.

(G)Wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, nga nkukoowoola;
    onkwatirwe ekisa onnyanukule!
Omutima gwange guwulidde eddoboozi lyo nga lyogera nti, “Munnoonye, munsinze.”
    Omutima gwange ne guddamu nti, “Nnaakunoonyanga, Ayi Mukama.”
(H)Tonneekweka,
    so tonyiigira muweereza wo,
    kubanga ggw’obadde omubeezi wange bulijjo.
Tonneggyaako, so tonsuula,
    Ayi Katonda, Omulokozi wange.
10 Kitange ne mmange bwe balindeka,
    Mukama anandabiriranga.
11 (I)Njigiriza, Ayi Mukama, by’oyagala nkole,
    era onkulembere mu kkubo lyo,
    kubanga abalabe bange banneetoolodde.
12 (J)Tompaayo mu balabe bange,
    kubanga abajulizi ab’obulimba bansitukiddeko n’enkwe zaabwe,
    okunkambuwalira.

13 (K)Nkyakakasiza ddala
    nga ndiraba obulungi bwa Mukama
    mu nsi ey’abalamu.
14 (L)Lindirira Mukama.
    Ddamu amaanyi, ogume omwoyo.
    Weewaawo, lindirira Mukama.

Ezera 9

Okusaba kwa Ezera ku Nsonga ey’Okufumbiriganwa mu mawanga

(A)Oluvannyuma lw’ebintu ebyo okukolebwa,[a] abakulembeze ne bajja gye ndi ne boogera nti, “Abantu ba Isirayiri, omwo nga mwe muli bakabona n’Abaleevi, tebeeyawudde ku mawanga agabaliraanye n’ebikolwa byabwe eby’emizizo. Tebeeyawudde ku Bakanani, ne ku Bakiiti ne ku Baperizi ne ku Bayebusi ne ku Bamoni ne ku Bamowaabu ne ku Bamisiri ne ku Bamoli. (B)Bawasizza abamu ku bawala baabwe, n’abawala ne bafumbirwa abamu ku batabani baabwe, bwe kityo eggwanga ettukuvu ne lyetabula n’amawanga agabeetoolodde. Ku nsonga eyo abakulembeze n’abakungu, be basinze okwonoona.”

Awo bwe nawulira ebigambo ebyo, ne njuza ekkanzu yange n’omunagiro gwange,[b] ne nkunyuula enviiri ku mutwe gwange ne mu kirevu kyange ne ntuula wansi nga nnakuwadde. (C)Bonna abatya ebigambo bya Katonda wa Isirayiri ne bakuŋŋaanira we ndi, olw’obutali bwesigwa obw’abaawaŋŋangusibwa. Ne ntuula wansi nga nnakuwadde okutuusa ekiseera eky’ekiweebwayo eky’akawungeezi bwe kyatuuka.

(D)Awo mu kiseera eky’ekiweebwayo eky’akawungeezi ne ngolokoka okuva we nnali ntudde, n’ekkanzu yange enjulifu n’omunagiro gwange omuyulifu, ne nfukamira ne ngolola emikono gyange eri Mukama Katonda wange, (E)ne nsaba nti:

“Ayi Katonda wange, nkwatiddwa ensonyi, era sisobola kuyimusa maaso gange eri gwe Katonda wange, kubanga obutali butuukirivu bwaffe busukiridde emitwe gyaffe, n’omusango gwaffe gutuuse mu ggulu. (F)Okuva mu biro bya bajjajjaffe n’okutuusa leero, omusango gugenze gweyongera; era olw’obutali butuukirivu bwaffe, bakabaka baffe, ne bakabona baffe baweereddwayo mu mukono gwa bakabaka ab’ensi, n’eri ekitala, n’eri obusibe, n’eri obunyazi, n’eri obuswavu obungi, nga bwe kiri mu nnaku zino.

(G)“Naye kaakano, akaseera katono, Mukama Katonda waffe atulaze ekisa n’atulekawo ffe abatono, n’atuwa ekifo ekisooka era ekinywevu mu watukuvu we, Katonda waffe n’amulisa amaaso gaffe, n’atuwa okuweeraweerako akatono mu busibe bwaffe. (H)Newaakubadde nga tuli baddu,[c] Katonda waffe tatulekulidde mu busibe bwaffe, naye atulaze okusaasirwa mu maaso ga bakabaka b’e Buperusi. Atuwadde obulamu obuggya okuzimba ennyumba ya Katonda waffe, n’okuddaabiriza ebyo ebyayonooneka, era atutaddeko Bbugwe okutwetooloola okutukuuma mu Yuda ne mu Yerusaalemi.

10 (I)“Kaakano Katonda waffe tunaayogera ki oluvannyuma lw’ebyo? Twaleka amateeka go 11 (J)ge watuwa ng’oyita mu baddu bo bannabbi, bwe wayogera nti, ‘Ensi gye mugenda okulya, nsi ejjudde obutali bulongoofu olw’abantu baamu, era bagijjuzizza ebikolwa eby’obugwagwa enjuuyi zonna. 12 (K)Noolwekyo temuwaayo bawala bammwe kufumbirwa batabani baabwe newaakubadde batabani bammwe okuwasa bawala baabwe. Temwongeranga ku bulungi bwabwe newaakubadde obugagga bwabwe, mulyoke mube n’amaanyi mulye ebirungi by’ensi, ate era mubirekere n’abaana bammwe okuba omugabo ogw’emirembe n’emirembe.’ 

13 (L)“Bino byonna bitutuuseeko olw’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu n’olw’omusango omunene gwe tulina, ate nga Katonda waffe totubonerezza ng’ebikolwa byaffe bwe biri, naye otuleseewo nga bwe tuli kaakano. 14 (M)Tunaayinza nate okumenya ebiragiro byo ne tuwasa mu mawanga ago agakola ebitasaana? Tolitunyiigira nnyo n’okusingawo n’otuzikiriza obutalekaawo muntu yenna? 15 (N)Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri oli mutuukirivu, era otuleseewo ffe ekitundu kino leero. Laba tuli mu maaso go nga tuzzizza omusango, newaakubadde nga tewali eyandisobodde okuyimirira mu maaso go.”

Okubikkulirwa 17:1-14

Omukazi eyali Yeebagadde Ekisolo

17 (A)Awo omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu n’ajja n’ayogera nange, n’aŋŋamba nti, “Jjangu nkulage ebigenda okutuuka ku mukazi malaaya omukulu atudde ku mazzi amangi. (B)Bakabaka ab’oku nsi bayenda naye n’abantu ab’oku nsi banywa omwenge ogw’obwenzi bwe ne batamiira.”

(C)Bw’atyo malayika n’antwala mu mwoyo, mu ddungu, ne ndaba omukazi ng’atudde ku kisolo ekimyufu ekyalina emitwe omusanvu n’amayembe ekkumi, okwali kuwandiikiddwa amannya agavvoola Katonda. (D)Omukazi yali ayambadde engoye bbiri olugoye olumyufu n’olwa kakobe era ng’alina n’ebintu ebirala eby’omuwendo, nga zaabu n’amayinja ag’omuwendo, era ng’akutte mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu nga kijjudde eby’omuzizo byonna eby’obwenzi bwe. (E)Ebiwandiiko eby’ekyama byali biwandiikiddwa ku kyenyi kye nga bigamba nti:

Babulooni Ekibuga Ekikulu

Nnyina wa Bamalaaya bonna,

era Nnyina w’Eby’emizizo mu nsi.

(F)Ne ndaba omukazi ng’atamidde omusaayi gw’abatukuvu, awamu n’ogw’abajulirwa abattibwa olwa Yesu.

Bwe namulaba ne neewuunya. (G)Malayika n’ambuuza nti, “Lwaki weewuunya? Nzija kukunnyonnyola ebyama eby’omukazi oyo era n’ekisolo kw’atudde ekirina emitwe omusanvu n’amayembe ekkumi. (H)Ekisolo kye walabye kyaliwo, naye kaakano tekikyaliwo era mu bbanga ttono kiriggyibwa mu bunnya obutakoma kiryoke kizikirizibwe. Abantu abali ku nsi amannya gaabwe nga tegawandiikiddwa mu kitabo eky’Obulamu okuva ensi lwe yatondebwa, balyewuunya okulaba ekisolo ekyaliwo, ne kitabeerawo, ate ne kiddamu okubeerawo.

(I)“Kale kyetaaga amagezi n’okutegeera. Emitwe omusanvu ze nsozi omusanvu omukazi kw’atudde, era be bakabaka omusanvu. 10 Abataano baagwa, omu y’aliwo kaakano, naye omulala tannajja wabula bw’anajja kimugwanira okubeerawo ekiseera kitono. 11 (J)Ekisolo ekyaliwo, kaakano nga tekikyaliwo, ky’eky’omunaana, kyokka kiri nga biri omusanvu; era nakyo kirizikirizibwa.

12 (K)“Amayembe ekkumi ge walaba be bakabaka ekkumi abatannaweebwa buyinza kufuga; balirondebwa okufugira wamu n’ekisolo okumala essaawa emu. 13 (L)Bonna bassa kimu era baliwa ekisolo ekikambwe, amaanyi n’obuyinza bwabwe. 14 (M)Bano balyegatta wamu okulwanyisa Omwana gw’Endiga, kyokka Omwana gw’Endiga alibawangula kubanga ye Mukama wa bakama era Kabaka wa bakabaka, abali awamu naye be yayita era abalonde be abeesigwa.”

Matayo 14:22-36

Yesu Atambulira ku Mazzi

22 Amangwago Yesu n’alagira abayigirizwa be basaabale eryato bagende emitala w’ennyanja, ye asigale ng’akyasiibula abantu. 23 (A)Bwe yamala okusiibula ekibiina n’ayambuka ku lusozi yekka okusaba. Obudde ne buziba ng’ali eyo yekka. 24 Eryato abayigirizwa mwe baali bwe lyatuuka ebuziba, omuyaga mungi ne gubafuluma mu maaso eryato ne lyesunda.

25 Awo ku ssaawa nga mwenda ez’ekiro, Yesu n’ajja gye bali ng’atambula ku nnyanja. 26 (B)Naye abayigirizwa bwe baamulaba ng’atambulira ku nnyanja ne batya, nga balowooza nti muzimu.

27 (C)Awo amangwago Yesu n’abagamba nti, “Mugume, Nze nzuuno temutya.”

28 Peetero n’amugamba nti, “Obanga ye ggwe ddala Mukama waffe, ndagira nange nzije gy’oli nga ntambulira ku mazzi.”

29 Yesu n’amuddamu nti, “Kale jjangu.” Peetero n’ava mu lyato n’atambulira ku mazzi okugenda eri Yesu.

30 Naye Peetero bwe yalaba omuyaga ogw’amaanyi, n’atya n’atandika okusaanawo, n’akoowoola Yesu nti, “Mukama wange, ndokola!”

31 (D)Amangwago Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwata, n’amugamba nti, “Ggwe alina okukkiriza okutono, lwaki obuusizzabuusizza?”

32 Bwe baalinnya mu lyato omuyaga gwonna ne guggwaawo. 33 (E)N’abo abaali mu lyato ne bamusinza nga bagamba nti, “Ddala ddala oli Mwana wa Katonda!”

34 Bwe baasomoka ne bagukkira ku lukalu e Genesaleeti. 35 Abantu b’omu kitundu ekyo bwe baamutegeera ne batumya abalwadde bonna ne babamuleetera. 36 (F)Ne bamwegayirira waakiri bakomeko bukomi ku lukugiro lw’ekyambalo kye, era buli eyakomako n’awonyezebwa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.