Okubikkulirwa 13:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Buli ow’okutwalibwa mu busibe
wa kusiba.
Era buli ow’okuttibwa n’ekitala,
wa kuttibwa na kitala.
Kubanga awo okugumiikiriza n’okukkiriza kw’abatukuvu we kutegeererwa.
Read full chapter
Okubikkulirwa 3:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Olwokubanga wakwata ekigambo kyange eky’okugumiikiriza, nange ndikuwonya ekiseera eky’okugezesebwa ekinaatera okujja.
Read full chapter
Okubikkulirwa 13:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Era abantu bonna abaaliwo okuva ku kutondebwa kw’ensi, abatawandiikiddwa mu kitabo eky’Obulamu eky’Omwana gw’Endiga eyattibwa balisinza ekisolo ekyo.
Read full chapter
Okubikkulirwa 13:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Awo ogumu ku mitwe gyagwo gwali gufumitiddwa nga gufunye ekiwundu ekyali kigenda okugutta, naye ekiwundu ekyali kigenda okugutta ne kiwona. Ensi yonna ne yeewuunya era abantu ne bagoberera ekisolo ekyo.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.