Book of Common Prayer
Oluyimba nga balinnya amadaala.
120 (A)Nkoowoola Mukama nga ndi mu nnaku,
era n’annyanukula.
2 (B)Omponye, Ayi Mukama,
emimwa egy’obulimba,
n’olulimi olw’obukuusa.
3 Onooweebwa ki,
era onookolebwa otya, ggwe olulimi olukuusa?
4 (C)Onoofumitibwa n’obusaale obwogi obw’omulwanyi omuzira,
n’oyokerwa ku manda ag’omuti entaseesa.
5 (D)Ndabye ennaku, kubanga mbeera mu Meseki;
nsula mu weema za Kedali!
6 Ndudde nnyo
mu bantu abakyawa eddembe.
7 Nze njagala mirembe,
naye bwe njogera bo baagala ntalo.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
121 Nnyimusa amaaso gange eri ensozi,
okubeerwa kwange kuva wa?
2 (E)Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,
eyakola eggulu n’ensi.
3 Taliganya kigere kyo kusagaasagana;
oyo akukuuma taabongootenga.
4 Laba, oyo akuuma Isirayiri
taabongootenga so teyeebakenga.
5 (F)Mukama ye mukuumi wo;
Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo;
6 (G)emisana enjuba teekwokyenga,
wadde omwezi ekiro.
7 (H)Mukama anaakukuumanga mu buli kabi;
anaalabiriranga obulamu bwo.
8 (I)Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda,
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
122 Nasanyuka bwe baŋŋamba nti,
“Tugende mu nnyumba ya Mukama!”
2 Ebigere byaffe biyimiridde
mu miryango gyo, Ayi Yerusaalemi.
3 Yerusaalemi yazimbibwa okuba
ekibuga ekinywevu ekiyimiridde awamu.
4 Eyo ebika byonna gye biraga,
ebika bya Mukama,
okutendereza erinnya lya Mukama
ng’ebiragiro ebyaweebwa Isirayiri bwe biri.
5 Eyo entebe ez’okusalirako emisango gye zaateekebwa;
z’entebe ez’obwakabaka ez’ennyumba ya Dawudi.
6 (J)Musabirenga Yerusaalemi emirembe:
“Abo abakwagala bafune ebirungi.
7 Emirembe gibeerenga munda w’ebisenge byo;
n’amayumba go amanene gabeerenga n’omukisa era nga manywevu.”
8 Olwa baganda bange ne mikwano gyange
nnaayogeranga nti, “Emirembe gibeerenga mu ggwe.”
9 (K)Olw’obulungi bw’ennyumba ya Mukama Katonda waffe, nnaanoonyanga okukulaakulana kwa Yerusaalemi.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
123 (L)Nnyimusa amaaso gange gy’oli,
Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.
2 (M)Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe;
n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we[a],
n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe,
okutuusa lw’alitusaasira.
3 Tusaasire, Ayi Mukama, tusaasire,
kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.
4 Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala,
n’okunyoomebwa ab’amalala.
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
124 (N)Isirayiri agamba nti,
singa Katonda teyali ku ludda lwaffe,
2 singa Katonda teyali ku ludda lwaffe
abalabe baffe bwe baatulumba,
3 banditusaanyizzaawo mu kaseera buseera,
obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukirako.
4 Amataba g’obusungu bwabwe ganditusaanyizzaawo,
ne mukoka n’atukulukutirako;
5 amazzi ag’obusungu bwabwe agayira
ganditukuluggusizza.
6 Mukama atenderezebwe
atatugabuddeeyo ne tutaagulwataagulwa amannyo gaabwe.
7 (O)Tuwonye ng’ekinyonyi bwe kiva
ku mutego gw’abatezi;
omutego gukutuse,
naffe tuwonye!
8 (P)Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama,
eyakola eggulu n’ensi.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
125 (Q)Abeesiga Mukama bali ng’olusozi Sayuuni
olutayinza kusiguukululwa, naye olubeerawo emirembe gyonna.
2 (R)Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi,
ne Mukama bw’atyo bwe yeetooloola abantu be,
okuva kaakano n’okutuusa emirembe gyonna.
3 (S)Kubanga abafuzi abakola ebibi tebalifugira
mu nsi y’abatuukirivu,
baleme okuwaliriza abatuukirivu
okukola ebibi.
4 (T)Ayi Mukama, abalungi n’abo abalina omutima omulongoofu
bakolere ebirungi.
5 (U)Naye abo abalaga mu makubo gaabwe amakyamu,
Mukama alibawaŋŋangusa wamu n’abakola ebitali bya butuukirivu.
Emirembe gibe ku Isirayiri.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
126 (V)Mukama bwe yakomyawo abawaŋŋanguse ba Sayuuni,
twafaanana ng’abaloota.
2 (W)Olwo akamwa kaffe ne kajjula enseko,
ne nnimi zaffe ne ziyimba ennyimba ez’essanyu.
Amawanga ne gagamba nti,
“Mukama abakoledde ebikulu.”
3 (X)Mukama atukoledde ebikulu,
kyetuvudde tusanyuka.
4 (Y)Otuzze obuggya, Ayi Mukama,
tufaanane ng’emigga egikulukutira mu lusenyi.
5 (Z)Abo abasiga nga bakaaba amaziga,
baliyimba ennyimba ez’essanyu nga bakungula.
6 Oyo agenda ng’akaaba
ng’atwala ensigo okusiga;
alikomawo ng’ayimba ennyimba ez’essanyu
ng’aleeta ebinywa bye.
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Sulemaani.
127 (AA)Mukama bw’atazimba nnyumba,
abo abagizimba bazimbira bwereere.
Mukama bw’atakuuma kibuga,
abakuumi bateganira bwereere.
2 (AB)Oteganira bwereere bw’okeera mu makya n’okola,
ate n’olwawo n’okwebaka
ng’okolerera ekyokulya;
kubanga Mukama abaagalwa be abawa otulo.
3 (AC)Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;
era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.
4 Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi,
n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo.
5 (AD)Alina omukisa omuntu oyo
ajjuzza ensawo ye n’obusaale,
kubanga tebaliswazibwa;
balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.
1 (A)Kuno kwe kwolesebwa Katonda kwe yalaga Nakkumu, Omwerukoosi okukwata ku bibambulira ebyali bijjira Nineeve.
Obusungu bwa Mukama ku Nineeve
2 (B)Katonda wa buggya era Mukama awalana eggwanga.
Mukama awalana eggwanga era ajudde ekiruyi.
Mukama yeesasuza ku balabe be
era aterekera abamuwakanya obusungu bwe.
3 (C)Mukama tatera kusunguwala, ate nga wa maanyi mangi
era tayinza n’akatono butabonereza oyo gwe gusinze.
Ekkubo lye liri mu mpewo ey’akazimu ne mu kibuyaga,
n’ebire ye nfuufu y’ebigere bye.
4 (D)Akangavvula ennyanja n’agikaza
era akaza emigga gyonna,
ennimiro ez’omu Basani zikala, olusozi Kalumeeri lwonna lukayuse,
n’ebimuli bya Lebanooni biwotose.
5 (E)Ensozi zikankanira mu maaso ga Katonda,
obusozi ne busaanuuka,
ettaka ne lyatikayatika mu maaso ge,
ensi n’ekankana n’abantu bonna abagirimu.
6 (F)Ani ayinza okuyimirira mu maaso ge ng’asunguwadde?
Ani ayinza okugumira obusungu bwe obw’amaanyi?
Ekiruyi kye kibuubuuka ng’omuliro,
n’enjazi n’eziyatikayatika.
7 (G)Mukama mulungi,
kiddukiro mu kiseera eky’okulabiramu ennaku,
era alabirira abo bonna abamwesiga.
8 Naye alisaanyaawo abalabe be mu mataba amazibu,
ekizikiza kiribawondera.
9 Buli kye mwekobaana okukola Mukama,
alikikomya.
Akabi tekalijja mulundi gwakubiri.
10 (H)Kubanga baliba ng’amaggwa agakwataganye,
era nga batamidde,
balyoke bookebwe omuliro ng’ekisambu ekikalu.
11 Mu ggwe Nineeve muvuddemu omuntu
alowooza akabi
era ateesa ebibi ku Mukama.
12 (I)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Newaakubadde nga balina be bakolagana nabo bangi, ate nga bangi,
balizikirizibwa ne baggwaawo.
Newaakubadde nga mbabonereza mmwe abantu bange,
siriddayo kukikola nate.
13 (J)Kaakano nzija kumenya ekikoligo kyabwe nkibaggyeko
era n’ebibasibye nnaabikutulakutula.”
Twayitibwa kuba Batukuvu
13 Noolwekyo mwetegeke nga muli bateefu, nga mutadde emitima gyammwe ku kisa kya Katonda ekiribaweebwa, Yesu Kristo bw’alirabika. 14 (A)Mugonderenga Katonda, kubanga muli baana be, muleme kufugibwa okwegomba kwammwe okubi okw’edda, kwe mwatambulirangamu mu butamanya. 15 (B)Kale, nga Katonda eyabayita bw’ali omutukuvu, nammwe mubeerenga batukuvu mu byonna bye mukola. 16 (C)Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Mubenga batukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu.”
17 (D)Mujjukire nti Kitammwe gwe musaba, asalira omusango buli muntu awatali kusaliriza, musaana mumusseemu ekitiibwa, nga mwetwala ng’abagenyi ku nsi kuno. 18 (E)Kubanga mumanyi nti mwanunulibwa mu mpisa zammwe embi ezaava ku bajjajjammwe. Temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo nga ffeeza oba zaabu. 19 (F)Wabula mwanunulibwa n’omusaayi gwa Kristo ogw’omuwendo omungi ennyo, ogw’omwana gw’endiga ogutaliiko kamogo oba ebbala. 20 (G)Kristo yategekebwa dda nga n’ensi tennatondebwa, kyokka mu nnaku zino ezaakayita n’alabisibwa ku lwammwe. 21 (H)Mu ye, mwe mwayita okukkiriza Katonda eyamuzuukiza mu bafu, n’amuwa ekitiibwa, era okukkiriza kwammwe n’okusuubira kwammwe kyebivudde binywerera ku Katonda.
22 (I)Kale kaakano nga bwe mumaze okutukuza emyoyo gyammwe olw’okukkiriza amazima, ne mwagalanira ddala mu luganda lwennyini, mweyongere okwagalana n’omutima ogutaliimu bukuusa. 23 (J)Kubanga okusinziira mu kigambo kya Katonda ekiramu era eky’olubeerera, mwazaalibwa omulundi ogwokubiri. 24 Kubanga,
“Abantu bonna bali ng’omuddo,
n’ekitiibwa kyabwe kiri ng’ekimuli ky’omuddo.
Omuddo gukala, ekimuli kyagwo ne kigwa.
25 (K)Naye ekigambo kya Mukama Katonda kibeerera emirembe gyonna.”
Era ekigambo ekyo y’Enjiri eyababuulirwa.
Yesu n’Abaana
13 (A)Yesu ne bamuleetera abaana abato abasseeko emikono gye abawe n’omukisa. Naye abayigirizwa ne bajunga abaabaleeta.
14 (B)Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Mukkirize abaana abato bajje gye ndi so temubaziyiza, kubanga abafaanana ng’abo be bannannyini bwakabaka obw’omu ggulu.” 15 N’abassaako emikono n’abawa omukisa n’alyoka avaayo.
Omuvubuka Omugagga
16 (C)Awo omuntu omu n’amusemberera n’amubuuza nti, “Omuyigiriza, nkole ki ekirungi okufuna obulamu obutaggwaawo?”
17 (D)Yesu n’amuddamu nti, “Lwaki ombuuza ebikwata ku birungi? Omulungi ali omu, naye bw’obanga oyagala okuyingira mu bulamu, ggondera amateeka.”
18 (E)N’amuddamu nti, “Ge galuwa?”
Yesu n’amugamba nti, “ ‘Tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga, 19 (F)ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko era yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ ”
20 Omuvubuka oyo n’amuddamu nti, “Ebyo byonna nabikwata dda, ate kiki ekimpeebuuseeko?”
21 (G)Yesu n’amugamba nti, “Obanga oyagala okuba omutuukirivu genda otunde ebibyo, ensimbi ozigabire abaavu, kale oliba n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”
22 Naye omuvubuka bwe yawulira ebyo n’agenda ng’anakuwadde kubanga yali mugagga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.