Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
9 Kubanga bw’olifuula Mukama ekiddukiro kyo;
Ali Waggulu Ennyo n’omufuula ekifo kyo mw’obeera,
10 (A)tewali kabi kalikutuukako,
so tewali kibonoobono kirisemberera nnyumba yo.
11 (B)Kubanga Mukama aliragira bamalayika be
bakukuume mu makubo go gonna.
12 (C)Balikuwanirira mu mikono gyabwe;
oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.
13 (D)Olirinnya ku mpologoma ne ku nswera;
olirinnyirira empologoma ey’amaanyi, n’omusota.
Buli Kintu Kirina Ekiseera Kyakyo
3 (A)Buli kintu kirina ekiseera kyakyo,
na buli ekikolebwa wansi w’eggulu kirina ekiseera kyakyo.
2 Waliwo ekiseera eky’okuzaalibwa n’ekiseera eky’okufa;
ekiseera eky’okusimba ate n’ekiseera eky’okukungula ebyo ebyasimbibwa;
3 ekiseera eky’okutta n’ekiseera eky’okuwonya;
ekiseera eky’okumenya n’ekiseera eky’okuzimba;
4 ekiseera eky’okukaabiramu n’ekiseera eky’okusekeramu;
ekiseera eky’okukungubaga n’ekiseera eky’okuzina;
5 ekiseera eky’okusaasaanyizaamu amayinja, n’ekiseera eky’okugakuŋŋaanyizaamu;
ekiseera eky’okugwiramu mu kifuba n’ekiseera eky’okukyewaliramu;
6 waliwo ekiseera eky’okunoonyezaamu n’ekiseera eky’okulekeraawo okunoonya;
ekiseera eky’okukuumiramu ekintu n’ekiseera eky’okukisuuliramu;
7 (B)n’ekiseera eky’okuyulizaamu n’ekiseera eky’okuddabiririzaamu;
ekiseera eky’okusirikiramu n’ekiseera eky’okwogereramu;
8 waliwo ekiseera eky’okwagaliramu n’ekiseera eky’okukyayiramu;
ekiseera eky’entalo n’ekiseera eky’eddembe.
Yesu Ayogera ku Kufa kwe
27 (A)“Kaakano omutima gwange gweraliikiridde. Kale ŋŋambe ntya? Nsabe nti Kitange mponya ekiseera kino? Naye ate ekyandeeta kwe kuyita mu kiseera kino. 28 (B)Kitange gulumiza erinnya lyo.”
Awo eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ndigulumizizza era ndyongera okuligulumiza.” 29 Ekibiina ky’abantu abaali bayimiridde awo bwe baawulira ne bagamba nti, “Laddu y’ebwatuse!” Abalala ne bagamba nti, “Malayika y’ayogedde naye.” 30 (C)Yesu n’abagamba nti, “Eddoboozi lino lizze ku lwammwe, so si ku lwange. 31 (D)Ekiseera ky’ensi okusalirwa omusango kituuse, era omufuzi w’ensi eno anaagoberwa ebweru. 32 (E)Bwe ndiwanikibwa okuva mu nsi, ndiwalulira bonna gye ndi.” 33 (F)Ekyo yakyogera ng’ategeeza enfa gye yali anaatera okufaamu.
34 (G)Awo abantu mu kibiina ekyo ne bamugamba nti, “Ffe tumanyi okuva mu mateeka nti Kristo aba mulamu emirembe gyonna. Naye ggwe lwaki ogamba nti Omwana w’Omuntu kimugwanira okufa? Mwana wa Muntu ki oyo gw’oyogerako?” 35 (H)Yesu n’abaddamu nti, “Omusana gujja kwongera okubaakira okumala akaseera. Kale mugutambuliremu mugende gye mwagala ng’ekizikiza tekinnatuuka. Atambulira mu kizikiza tamanya gy’alaga. 36 (I)Kale Omusana nga bwe gukyayaka mugutambuliremu mulyoke mufuuke abaana b’omusana.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’agenda n’abeekweka.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.