Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Okulabula ku Lunaku lwa Mukama Olujja
2 (A)Bakabona mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni.
N’akagombe ak’okulabula kavugire ku lusozi lwange olutukuvu.
Buli muntu yenna mu ggwanga akankane olw’entiisa,
kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde,
era lunaatera okutuuka.
2 (B)Luliba olunaku olutaliiko ssanyu, olw’ekizikiza;
olunaku olw’ebire ebingi n’ekizikiza ekikutte.
Eggye ery’enzige ery’amaanyi ennyo,
ng’ery’abantu abalwanyi ab’ekitalo, libuutikidde ensozi.
Tewabangawo ggye lirifaanana mu biro byonna eby’edda,
era teribaayo liryenkana mu mirembe gyonna egiriddawo.
Abantu Bayitibwa Okwenenya
12 (A)Mukama kyava agamba nti,
“Mukomeewo gye ndi n’omutima gwammwe gwonna.
Mukomeewo n’okusiiba n’okukaaba awamu n’okukungubaga.”
13 (B)Muyuze emitima gyammwe
so si byambalo byammwe.
Mudde eri Mukama Katonda wammwe,
kubanga ajjudde ekisa n’okusaasira,
era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo;
n’abandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa.
14 (C)Ani amanyi obanga anaakyuka n’abasonyiwa,
n’abawa omukisa gwe
ne musobola n’okuwaayo eri Mukama Katonda wammwe
ekiweebwayo eky’emmere enkalu, n’ekiweebwayo eky’ekyokunywa?
15 (D)Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni,
mulangirire okusiiba okutukuvu.
Muyite olukuŋŋaana olussaamu Katonda ekitiibwa.
16 (E)Mukuŋŋaanye abantu bonna.
Mutukuze ekibiina ekyo ekikuŋŋaanye.
Muyite abakulu abakulembeze.
Muleete abaana abato
n’abo abakyali ku mabeere.
N’oyo eyakawasa aveeyo mu kisenge kye,
n’eyakafumbirwa naye aveeyo gy’ali.
17 (F)Bakabona abaweereza ba Mukama
bayimirire wakati w’ekisasi kya yeekaalu n’ekyoto,
bakaabirire Mukama nga bamusaba nti, “Saasira abantu bo, Ayi Mukama;
abantu b’obusika bwo tobaleka kugwa mu mikono gya bannamawanga okubafuga
era n’okubasekerera.
Bannamawanga baleme kuduula nga boogera nti,
‘Katonda waabwe ali ludda wa?’ ”
Okusiiba okw’Amazima
58 (A)Kyogere mu ddoboozi ery’omwanguka,
tokisirikira.
Yimusa eddoboozi lyo ng’ekkondeere,[a]
obuulire abantu bange okusobya kwabwe, n’ennyumba ya Yakobo ebibi byabwe.
2 (B)Kubanga bannoonya buli lunaku
era beegomba okumanya amakubo gange,
nga bali ng’abantu abakola eby’obutuukirivu
so si abaaleka edda ebiragiro bya Katonda waabwe.
Bambuuza ensala ennuŋŋamu,
ne basanyukira Katonda okusembera gye bali.
3 (C)Beebuuza nti, “Lwaki twasiiba, naye ggwe n’otokifaako?
Lwaki twetoowaza naye ggwe n’otokissaako mwoyo?”
Musooke mulabe,
ennaku ze musiiba
muba munoonya ssanyu lyammwe ku bwammwe,
musigala munyigiriza abakozi bammwe.
4 (D)Njagala mulabe.
Kalungi ki akali mu kusiiba ng’ate mugenda kudda mu nnyombo,
n’okukaayana n’okukuba bannammwe agakonde.
Temuyinza kusiiba nga bwe mukola kaakano eddoboozi lyammwe ne liwulirwa mu ggulu.
5 (E)Okusiiba kwe nalonda bwe kutyo bwe kufaanana?
Olunaku omuntu lw’eyetoowalizaako?
Kukutamya bukutamya mutwe,
kuguweta nga lumuli n’okugalamira mu bibukutu mu vvu?
Okwo kwe muyita okusiiba,
olunaku olusiimibwa Mukama?
6 (F)Kuno kwe kusiiba kwe nalonda;
okusumulula enjegere ezinyigiriza abantu,
n’okuggyawo emiguwa gy’ekikoligo,
n’okuta abo abanyigirizibwa,
n’okumenya buli kikoligo?
7 (G)Si kugabira bayala ku mmere yo,
n’okusembeza abaavu abatalina maka mu nnyumba yo;
bw’olaba ali obwereere, n’omwambaza
n’otekweka baŋŋanda zo abeetaaga obuyambi bwo?
8 (H)Awo omusana gwo gulyoke guveeyo
gwake ng’emmambya esala, era okuwonyezebwa kwo kujje mangu;
obutuukirivu bwo bukukulembere,
era ekitiibwa kya Katonda kikuveeko emabega.
9 (I)Olwo olikoowoola, Mukama n’akuddamu;
olikaaba naye n’akuddamu nti, Ndi wano.
“Bwe muliggyawo ekikoligo ekinyigiriza
n’okusonga ennwe, n’okwogera n’ejjoogo;
10 (J)bw’olyewaayo okuyamba abayala
n’odduukirira abali mu buzibu,
olwo omusana gwo gulyaka n’ova mu kizikiza,
ekibadde ekiro kifuuke ettuntu.
11 (K)Era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna,
n’akuwa ebintu ebirungi obulamu bwo bye bwetaaga,
amagumba go aligongeramu amaanyi;
era olibeera ng’ennimiro enfukirire obulungi,
era ng’oluzzi olw’amazzi agatakalira.
12 (L)N’abantu bo balizimba ebifo eby’edda ebyazika
era baddemu okuzimba emisingi egy’edda.
Olyoke oyitibwe omuddaabiriza wa bbugwe eyamenyeka,
omuddaabiriza wa mayumba ag’okusulamu.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ng’amaze okutwala Basuseba n’okutemula bba, Uliya.
51 (A)Onsaasire, Ayi Mukama,
ggwe alina okwagala okutaggwaawo.
Olw’okusaasira kwo okungi
nziggyaako ebyonoono byange byonna.
2 (B)Nnaazaako obutali butuukirivu bwange,
ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.
3 (C)Ebyonoono byange mbikkiriza,
era ebibi byange mbimanyi bulijjo.
4 (D)Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye,
ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba;
noolwekyo by’oyogera bituufu,
era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.
5 (E)Ddala, nazaalibwa mu kibi;
kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.
6 (F)Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange.
Ompe amagezi munda ddala mu nze.
7 (G)Onnaaze n’ezobu[a] ntukule
onnaaze ntukule n’okusinga omuzira.
8 (H)Onzirize essanyu n’okwesiima,
amagumba gange ge wamenyaamenya gasanyuke.
9 (I)Totunuulira bibi byange,
era osangule ebyonoono byange byonna.
10 (J)Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda,
era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.
11 (K)Tongoba w’oli,
era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.
12 (L)Onkomezeewo essanyu ery’obulokozi bwo,
era ompe omutima ogugondera by’oyagala,
13 (M)ndyoke njigirizenga aboonoonyi amakubo go,
n’abakola ebibi bakukyukirenga bakomewo gy’oli.
14 (N)Ondokole mu kibi eky’okuyiwa omusaayi, Ayi Katonda,
ggwe Katonda ow’obulokozi bwange;
olulimi lwange lunaatenderezanga obutuukirivu bwo.
15 (O)Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange,
n’akamwa kange kanaakutenderezanga.
16 (P)Tosanyukira ssaddaaka, nandigikuleetedde;
n’ebiweebwayo ebyokebwa tobisanyukira.
17 (Q)Ssaddaaka Katonda gy’ayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo.
Omutima ogumenyese era oguboneredde,
Ayi Katonda, toogugayenga.
20 (A)Noolwekyo ku bwa Kristo tuli babaka, era Katonda atuma ffe okwogera nammwe. Kyetuva tubeegayirira, ku bwa Kristo, mutabagane ne Katonda. 21 (B)Kubanga oyo ataamanya kibi, yafuuka ekibi ku lwaffe, tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda mu Yesu.
6 (C)Ffe ng’abakolera awamu ne Katonda, tubeegayirira, ekisa kya Katonda kye mufunye, kireme kufa bwereere. 2 (D)Kubanga agamba nti,
“Nakuwulira mu biro ebituufu,
era ne nkuyamba ku lunaku olw’obulokozi.”
Laba kaakano kye kiseera ekituufu, era laba kaakano lwe lunaku olw’obulokozi.
Ebizibu bya Pawulo
3 (E)Tetuleeta kintu kyonna kyesittaza, obuweereza bwaffe buleme okunenyezebwa, 4 naye mu buli kintu tweyoleka nga tuli baweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi okw’okubonaabona, mu bizibu byonna ebya buli ngeri, ne mu kunyolwa, 5 (F)ne mu kukubibwa ne mu kusibibwa mu kkomera, ne mu busasamalo, ne mu kutakabana, ne mu kutunula, ne mu kusiiba, 6 (G)ne mu bulongoofu, ne mu kumanya, ne mu bugumiikiriza, ne mu kisa, mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kwagala okutaliimu bukuusa, 7 (H)ne mu kigambo eky’amazima, ne mu maanyi ga Katonda olw’ebyokulwanyisa eby’obutuukirivu ebiri mu mukono ogwa ddyo n’ogwa kkono, 8 (I)wakati mu kitiibwa n’okunyoomebwa, wakati mu kutufeebya, ne wakati mu kututenda, nga tuyitibwa abalimba ate nga tuli ba mazima. 9 (J)Ensi etusussa amaaso nga b’etemanyi, naye ate nga tumanyiddwa ng’abaafa, naye laba nga tuli balamu, nga tubonerezebwa naye ate nga tetuttibwa, 10 (K)nga tunakuwala naye ate nga tusanyuka bulijjo, nga tuli ng’abaavu naye nga tugaggawaza bangi, nga tuli ng’abatalina kintu naye ate nga tulina byonna.
Okuwa Abaavu
6 (A)“Mwegendereze, ebikolwa byammwe eby’obutuukirivu obutabikoleranga mu lujjudde lw’abantu nga mwagala babasiime, kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo Kitammwe ali mu ggulu talibawa mpeera.”
2 “Bw’obanga ogabira omwavu ekintu teweeraganga nga bannanfuusi bwe bakola ne basooka okufuuwa eŋŋombe mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, nga bagenda okugabira abaavu, abantu babalabe babawe ekitiibwa. Ddala ddala mbagamba nti Abo, eyo y’empeera yaabwe. 3 Naye ggwe bw’obanga ogabira omuntu yenna ekintu omukono gwo ogwa kkono guleme kumanya ogwa ddyo kye gukola. 4 (B)Kale Kitaawo amanyi ebyama byonna alikuwa empeera.”
Okusaba
5 (C)“Era bwe mubanga musaba mwekuume obutaba nga bannanfuusi abaagala okweraga nga bwe bali bannaddiini, ne basabira mu makuŋŋaaniro ne ku nguudo mu lujjudde, abantu babalabe. Abo, eyo y’empeera yokka gye balifuna. 6 (D)Naye ggwe bw’obanga osaba, oyingiranga mu nnyumba yo, ne weggalira mu kisenge kyo n’osabira eyo mu kyama. Kitaawo ategeera ebyama byo byonna alikuwa by’omusabye.
Okusiiba
16 (A)“Bwe musiibanga, temukiraganga nga bannanfuusi bwe bakola. Kubanga batunuza ennaku balyoke balabike mu bantu nti basiiba, mbategeeza ng’abo, eyo y’empeera yokka gye bagenda okufuna. 17 Naye ggwe bw’osiibanga olongoosanga enviiri zo n’onaaba ne mu maaso, 18 (B)abantu baleme kutegeera nti osiiba, okuggyako Kitaawo ali mu ggulu era alaba mu kyama alikuwa empeera.”
Obugagga obw’Amazima
19 (C)“Temweterekeranga byabugagga wano ku nsi kwe biyinza okwonoonebwa ennyenje n’obutalagge, n’ababbi kwe bayinza okubibbira. 20 (D)Naye mweterekerenga obugagga bwammwe mu ggulu gye butayinza kwonoonebwa nnyenje wadde obutalagge, n’ababbi gye batayinza kuyingira kububba. 21 (E)Kubanga obugagga bwo gye buli n’omutima gwo gye gunaabeeranga.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.