Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 37:1-11

Zabbuli ya Dawudi.

37 (A)Teweeraliikiriranga olw’abantu ababi,
    so tokwatirwanga buggya abo abakola ebitasaana.
(B)Kubanga bagenda kuwotoka ng’omuddo,
    bafiire ddala ng’essubi ekkalu.

(C)Weesigenga Mukama okolenga bulungi,
    onoobeeranga n’emirembe mu nsi n’ofuna ebirungi.
(D)Sanyukiranga mu Mukama,
    anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga.

(E)By’okola byonna byesigamyenga ku Mukama;
    mwesigenga, anaakukoleranga ky’oyagala.
(F)Anaayolekanga obutuukirivu bwo ng’omusana,
    n’obwenkanya bw’ebikolwa byo ne bwakaayakana ng’enjuba ey’omu ttuntu.

(G)Siriikirira awali Mukama,
    ogumiikirize ng’olindirira ky’anaakola.
    Tofangayo ng’abalala bafunye ebirungi nga bayita mu kutetenkanya kwabwe okubi.

(H)Tonyiiganga era weewale ekiruyi;
    teweeraliikiriranga kubanga bivaamu bibi byereere.
(I)Kubanga ababi balisalibwako,
    naye abeesiga Mukama baligabana ensi.

10 (J)Wanaayitawo akabanga katono ababi baggweerewo ddala;
    wadde mulibanoonya temulibalabako.
11 (K)Naye abateefu baligabana ensi
    ne beeyagalira mu ddembe eritatendeka.

Zabbuli 37:39-40

39 (A)Obulokozi bw’abatuukirivu buva eri Mukama;
    ye ky’ekigo kyabwe ekinywevu gye baddukira mu kiseera eky’emitawaana.
40 (B)Mukama abayamba n’abalokola;
    abaggya mu mikono gy’ababi n’abalokola,
    kubanga gy’ali gye baddukira.

Olubereberye 44:1-17

Ekikopo kya Ffeeza Kibula

44 (A)Awo Yusufu n’alagira omuweereza mu nnyumba ye nti, “Jjuza ensawo z’abasajja emmere nga bwe basobola okugyetikka, era oteeke ensimbi za buli omu mu nsawo ye. Era oteeke ekikopo kyange, ekya ffeeza, mu kamwa k’ensawo ya muto waabwe, wamu n’ensimbi ze ez’okugula emmere.” N’akola nga Yusufu bwe yamugamba.

Emmambya eba evaayo abasajja ne basiibulwa n’endogoyi zaabwe. (B)Bwe baali baakava mu kibuga Yusufu n’agamba omuweereza we nti, “Golokoka obagoberere bw’obatuukako obabuuze nti, ‘Lwaki musasudde ekibi olw’ebirungi? Lwaki mubbye ekikopo kyange ekya ffeeza? (C)Mu kino mukama wange si mwanywera, era si kyalaguza? Mu ekyo mukoze bubi.’ ”

Bwe yabatuukako n’abategeeza ebigambo ebyo. Ne bamugamba nti, “Mukama waffe lwaki ayogedde ebigambo ebyo? Olowooza tuli bantu ba ngeri ki abayinza okukola ekintu ng’ekyo? (D)Laba, ensimbi ze twasanga ku mimwa gy’ensawo zaffe twazikuddiza okuva mu nsi ya Kanani, kale twandisobodde tutya okubba ffeeza oba zaabu okuva mu nnyumba ya mukama wo? (E)Oyo gw’onookisanga nakyo mu ffe abaddu bo, afe, era naffe tuliba baddu ba mukama wange.”

10 N’abaddamu nti, “Kale kibeere nga bwe mwogedde, oyo anaasangibwa nakyo abeere muddu wange, naye abalala mu mmwe tewaabe abaako ky’avunaanwa.” 11 Amangwago buli omu nassa ensawo ye wansi n’agisumulula. 12 (F)N’alyoka abaaza ng’asookera ku asinga obukulu okutuuka ku asembayo obuto; ekikopo ne kisangibwa mu nsawo ya Benyamini. 13 (G)Awo ne bayuza engoye zaabwe, buli omu n’atikka endogoyi ye, ne baddayo mu kibuga.

Baganda ba Yusufu Bamuvuunamira

14 (H)Yusufu yali akyali mu nju, Yuda ne baganda be bwe baatuuka gy’ali, ne bagwa mu maaso ge ne bamuvuunamira. 15 (I)Yusufu n’abagamba nti, “Kiki kino kye mukoze? Temumanyi nti omuntu ali nga nze asobola okuvumbula kye mukoze?”

16 (J)Yuda n’addamu nti, “Tunaddamu ki mukama wange? Tunaayogera ki? Oba tuneggyako tutya omusango? Katonda avumbudde obwonoonyi bw’abaddu bo, laba tuli baddu ba mukama wange, ffenna, ffe n’oyo asangiddwa n’ekikopo.” 17 Yusufu n’addamu nti, “Ekyo sijja kukikola, wabula oyo asangiddwa n’ekikopo, y’anaaba omuddu wange, naye mmwe mwambuke mirembe, mutuuke eri kitammwe.”

1 Yokaana 2:12-17

12 Baana bange abaagalwa,
    mbawandiikidde kubanga musonyiyiddwa ebibi byammwe olw’erinnya lye.
13 (A)Era nammwe abakulu, mbawandiikidde
    kubanga mwamutegeera okuva ku lubereberye.
Nammwe abavubuka, mbawandiikidde
    kubanga muwangudde omubi.
Mmwe abaana abaagalwa bawandiikidde,
    kubanga mutegedde Kitaffe.

14 (B)Mbawandiikidde mmwe abakulu
    kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye.
Mbawandiikidde mmwe abavubuka
    kubanga muli ba maanyi
    era n’ekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe,
    era muwangudde omubi.

Temwagalanga Nsi

15 (C)Temwagalanga nsi, wadde eby’ensi. Kubanga omuntu yenna ayagala ensi taliimu kwagala kwa Kitaffe. 16 (D)Kubanga buli eky’ensi: okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwekuluntaza okw’obulamu, si bya Kitaffe, naye bya nsi. 17 (E)Ensi n’okwegomba kwayo byonna biggwaawo, naye buli akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe gyonna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.