Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yeremiya 17:5-10

(A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

Akolimiddwa oyo eyeesiga omuntu
    era eyeesiga omubiri okuba amaanyi ge,
    era alina omutima oguva ku Katonda.
(B)Aliba ng’ekisaka mu ddungu,
    ataliraba birungi bwe birijja,
naye alibeera mu biwalakate mu ddungu,
    ensi ey’omunnyo omutali abeeramu.

(C)Naye alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama,
    nga Mukama ly’essuubi lye.
(D)Ali ng’omuti ogusimbiddwa awali amazzi,
    ne gulandiza emirandira gyagwo ku mabbali g’omugga,
nga wadde omusana gujja, tegutya
    n’amakoola gaagwo tegawotoka,
so tegulyeraliikirira mu mwaka ogw’ekyeya
    era teguliremwa kubala bibala.
(E)Omutima mulimba okusinga ebintu byonna,
    era gulwadde endwadde etawonyezeka.
    Ani ayinza okugutegeera?

10 (F)“Nze Mukama nkebera omutima,
    ngezesa emmeeme,
okuwa buli muntu ng’amakubo ge bwe gali,
    ng’ebikolwa bye bwe biri.”

Zabbuli 1

EKITABO I

Zabbuli 1–41

(A)Alina omukisa omuntu
    atatambulira mu kuteesa kw’ababi,
era atayimirira mu kibiina ky’ababi,
    newaakubadde okutuula n’abo abanyooma ebya Katonda.
(B)Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama,
    era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro.
(C)Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga,
    ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo,
n’ebikoola byagwo tebiwotoka.
    Na buli ky’akola kivaamu birungi byereere.

(D)Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo.
    Bali ng’ebisusunku ebifuumuuliddwa.
(E)Noolwekyo abakola ebibi tebaligumira lunaku lwa kusalirako musango;
    newaakubadde aboonoonyi okuyimirira mu kibiina ky’abatuukirivu.

(F)Kubanga Mukama alabirira ekkubo ly’abatuukirivu,
    naye ekkubo ly’abakola ebibi liribula.

1 Abakkolinso 15:12-20

Okuzuukira kw’Abafu

12 (A)Kale obanga abantu bategeezebwa nti Kristo yazuukizibwa mu bafu lwaki abamu mu mmwe bagamba nti tewali kuzuukira kwa bafu? 13 Kale obanga tewali kuzuukira kwa bafu ne Kristo teyazuukizibwa. 14 (B)Era obanga Kristo teyazuukizibwa, bye tubategeeza tebiriimu, era n’okukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa. 15 (C)Ate era tuba ng’aboogera eby’obulimba ku Katonda, kubanga twakakasa nti Katonda yazuukiza Kristo. Naye teyamuzuukiza bwe kiba ng’abafu tebazuukizibwa. 16 Kale obanga abafu tebazuukizibwa, ne Kristo teyazuukizibwa. 17 (D)Era obanga Kristo teyazuukizibwa okukkiriza kwammwe tekuliimu nsa, era mukyali mu bibi byammwe. 18 Era n’abo abaafa nga bakkiriza Kristo baazikirira. 19 (E)Kale obanga essuubi lyaffe mu Kristo likoma mu bulamu buno bwokka, tuli bakusaasirwa nnyo okusinga abantu bonna.

20 (F)Kyokka ddala Kristo yazuukizibwa mu bafu, era bye bibala ebibereberye eby’abo abaafa.

Lukka 6:17-26

Yesu Ayigiriza era Awonya

17 (A)Awo Yesu bwe yava ku lusozi awamu nabo, n’ayimirira wansi w’olusozi mu lusenyi awatereevu, ekibiina kinene eky’abayigirizwa be, n’ekibiina kinene eky’abantu abaava mu Buyudaaya yonna ne Yerusaalemi n’ebitundu eby’oku lubalama lw’ennyanja olwa Ttuulo ne Sidoni, 18 ne bajja okumuwuliriza n’okuwonyezebwa endwadde zaabwe. Abo abaali batawaanyizibwa emyoyo emibi ne bawonyezebwa; 19 (B)era abantu bonna ne bafuba okumukwatako, kubanga amaanyi agawonya gaamuvangamu nga gawonya buli muntu.

20 (C)Awo Yesu n’atunuulira abayigirizwa be enkaliriza n’agamba nti,

“Mulina omukisa abaavu,
    kubanga obwakabaka bwa Katonda bwammwe.
21 (D)Mulina omukisa abalumwa enjala kaakano,
    kubanga mulikkusibwa.
Mulina omukisa abakaaba kaakano,
    kubanga muliseka.
22 (E)Mulina omukisa bwe babakyawa, ne babeewala, ne babavuma,
    ne basiiga erinnya lyammwe enziro,
    olw’Omwana w’Omuntu.”

23 (F)“Musanyukanga ku lunaku olwo ne mujaguza, kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, kubanga ebintu ebyo bajjajjammwe baabikola bannabbi abaabasooka.

24 (G)“Naye zibasanze mmwe abagagga,
    kubanga mufunye essanyu lyammwe erijjuvu.
25 (H)Zibasanze mmwe abalya ne mukkuta kaakano,
    kubanga mulirumwa enjala.
Zibasanze mmwe abaseka kaakano,
    kubanga mulikungubaga, ne mukaaba.
26 (I)Zibasanze mmwe abantu bonna bwe babawaana,
    kubanga bwe batyo bajjajjammwe bwe baayisa bannabbi aboobulimba.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.