Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
EKITABO I
Zabbuli 1–41
1 (A)Alina omukisa omuntu
atatambulira mu kuteesa kw’ababi,
era atayimirira mu kibiina ky’ababi,
newaakubadde okutuula n’abo abanyooma ebya Katonda.
2 (B)Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama,
era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro.
3 (C)Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga,
ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo,
n’ebikoola byagwo tebiwotoka.
Na buli ky’akola kivaamu birungi byereere.
4 (D)Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo.
Bali ng’ebisusunku ebifuumuuliddwa.
5 (E)Noolwekyo abakola ebibi tebaligumira lunaku lwa kusalirako musango;
newaakubadde aboonoonyi okuyimirira mu kibiina ky’abatuukirivu.
6 (F)Kubanga Mukama alabirira ekkubo ly’abatuukirivu,
naye ekkubo ly’abakola ebibi liribula.
Ekibi n’Ekibonerezo kya Yuda
17 (A)“Ekibi kya Yuda kiwandiikiddwa n’ekkalaamu ey’ekyuma
n’ejjinja essongovu;
kirambiddwa ku mitima gyabwe
ne ku mayembe g’ebyoto byabwe.
2 (B)N’abaana baabwe basinziza
ku byoto bya bakatonda ba Asera
ebiri ku buli muti oguyimiridde
era ne ku busozi obuwanvu.
3 (C)Olusozi lwange oluli mu nsi,
obugagga bwammwe n’ebintu byo eby’omuwendo byonna,
ndibiwaayo byonna binyagibwe
n’ebifo byammwe ebigulumivu kwe musaddaakira
olw’ekibi ekibunye mu nsi yonna.
4 (D)Musango gwo ggwe nti olifiirwa ensi gye nakuwa okuba omugabo gwo,
ndikufuula muddu wa balabe bo mu nsi gy’otomanyangako,
kubanga mu busungu bwange omuliro gukoleezeddwa
ogunaayakanga emirembe gyonna.”
24 “Omwoyo ogutali mulongoofu bwe guva mu muntu guyita mu malungu nga gunoonya aw’okuwummulira. Bwe gubulwa, gugamba nti, ‘Nzija kuddayo mu nnyumba mwe nava.’ 25 Bwe guddayo gusanga ennyumba ng’eyereddwa era nga ntegeke. 26 (A)Kyeguva gugenda ne gufunayo emyoyo emirala musanvu egigusingako obwonoonefu, ne giyingirira omuntu oyo. Kale embeera y’omuntu oyo ey’oluvannyuma n’ebeera mbi nnyo okusinga eyasooka.”
27 (B)Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera ebigambo ebyo, omukazi eyali mu kibiina n’ayogerera waggulu nti, “Lulina omukisa olubuto olwakuzaala, n’amabeere kwe wayonka!”
28 (C)Naye Yesu n’addamu nti, “Weewaawo, naye balina omukisa abo bonna abawulira ekigambo kya Katonda ne bakigondera.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.