Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi.
58 (A)Ddala mwogera eby’amazima oba musirika busirisi?
Abaana b’abantu mubasalira emisango mu bwenkanya?
2 (B)Nedda, mutegeka ebitali bya bwenkanya mu mitima gyammwe;
era bye mukola bireeta obwegugungo mu nsi.
3 Abakola ebibi bakyama nga baakazaalibwa,
bava mu lubuto nga balina ekibi, era bakula boogera bya bulimba.
4 (C)Balina obusagwa ng’obw’omusota;
bali ng’enswera etawulira ezibikira amatu gaayo;
5 n’etawulira na luyimba lwa mukugu
agisendasenda okugikwata.
6 (D)Ayi Katonda, menya amannyo gaabwe;
owangulemu amannyo g’empologoma zino, Ayi Mukama.
7 (E)Leka babule ng’amazzi agakulukuta ne gagenda.
Bwe banaanuula omutego, leka obusaale bwabwe bwe balasa bufufuggale.
8 (F)Babe ng’ekkovu erisaanuukira mu lugendo lwalyo.
Babe ng’omwana azaaliddwa ng’afudde, ataliraba ku njuba!
9 (G)Nga n’entamu tennabuguma,
alibayerawo n’obusungu obungi nga kibuyaga ow’amaanyi ennyo.
10 (H)Omutuukirivu alisanyuka ng’alabye bamuwalanidde eggwanga,
olwo n’ebigere bye ne bisaabaana omusaayi ogw’abakola ebibi.
11 (I)Awo abantu bonna balyogera nti,
“Ddala, abatuukirivu balwanirirwa.
Ddala waliwo Katonda alamula mu bwenkanya ku nsi.”
Yuda Omukazi Atali Mwesigwa
3 (A)“Omusajja bw’agoba mukazi we,
omukazi oyo n’agenda n’afuuka ow’omusajja omulala,
omusajja we alimukomyawo nate?
Ensi eba teyonoonekedde ddala nnyo?
Naye obadde nga malaaya, ng’olina abasajja bangi;
naye kaakano oyagala okukomawo gye ndi?”
bw’ayogera Mukama.
2 (B)Yimusa amaaso go olabe ku ntikko y’obusozi.
Waliwo ekifo we bateebakira naawe?
Ku mabbali g’ekkubo we watulanga
n’olinda abasajja ng’oli nga Omuwalabu mu ddungu;
n’olyoka oyonoona ensi
n’obwenzi bwo n’ekibi kyo.
3 (C)Noolwekyo enkuba kyevudde eziyizibwa,
n’enkuba eya ttoggo n’etetonnya.
Naye era otemya nga malaaya
tokwatibwa nsonyi.
4 (D)Tewakaŋŋamba nti Kitange ggwe mukwano gwange
okuva mu buto bwange,
5 (E)onoonyiigira ddala emirembe gyonna,
olisunguwala emirembe gyonna?
Bw’otyo bw’oyogera,
naye okoze ebibi byonna ebisoboka.
Isirayiri, Atali Mwesigwa
6 (F)Mu nnaku z’obufuzi bwa kabaka Yosiya Mukama yayogera nange n’aŋŋamba nti, “Olabye Isirayiri etali neesigwa ky’ekoze? Agenze ku buli kasozi na buli wansi w’omuti oguyimiridde ne yeeyisa ng’omukazi omwenzi. 7 (G)Nalowooza nti, Bw’alimala okukola bino byonna agenda kudda gye ndi naye teyadda, era muganda we atali mwesigwa Yuda n’akiraba. 8 (H)Yalaba nti bwe namala okugoba Isirayiri eyanvaako, ne muwa n’ebbaluwa ey’okumugoba olw’obwenzi bwe. Naye ate ne ndaba muganda we atali mwesigwa Yuda nga taliimu kutya, naye n’agenda n’akola obwenzi. 9 (I)Awo obwenzi bwe bwatuuka ne bumwanguyira nnyo n’ayenda n’asinza amayinja n’ebikonge. 10 (J)Naye wadde nga byonna bimaze okubaawo, muganda we Yuda atali mwesigwa, teyakomawo gye ndi na mutima gwe gwonna, naye yali alimbalimba,” bw’ayogera Mukama.
11 (K)Mukama n’aŋŋamba nti, Isirayiri asudde obwesigwa, mutukuvu okusinga Yuda atali mwesigwa. 12 (L)Genda obuulire abantu b’omu bukiikakkono obubaka buno, obagambe nti,
“ ‘Komawo ggwe Isirayiri,
eyanvaako,’ bw’ayogera Mukama.
‘Siribatunuuliza busungu kubanga ndi waakisa,’ bw’ayogera Mukama;
‘Sirisiba busungu ku mwoyo emirembe gyonna.
13 (M)Mukkirize bukkiriza ekibi kyammwe,
mwajeemera Mukama Katonda wammwe,
mwasinza bakatonda abalala,
wansi wa buli muti oguyimiridde,
era ne mutaŋŋondera,’ ”
bw’ayogera Mukama.
14 (N)“Mukomeewo mmwe abaana abanvaako,” bw’ayogera Mukama; “kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni.
1 (A)Pawulo omuweereza wa Katonda, era omutume wa Yesu Kristo ng’okukkiriza kw’abalonde ba Katonda bwe kuli n’okutegeera amazima agali mu kutya Katonda, 2 (B)ebyesigamye ku kusuubira okw’obulamu obutaggwaawo, Katonda ow’amazima kwe yasuubiza ng’ebiro eby’emirembe n’emirembe tebinnabaawo, 3 (C)naye mu ntuuko zaabyo, yayolesa ekigambo kye mu kubuulira Enjiri, kwe nateresebwa ng’ekiragiro kya Katonda Omulokozi waffe bwe kiri, 4 (D)eri Tito omwana wange ddala ng’okukkiriza kwaffe ffenna okwa awamu bwe kuli, n’ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu omulokozi waffe.
5 (E)Kyennava nkuleka mu Kuleete, olyoke otereeze ebyo ebyetaaga okutereeza, era otekewo n’abakadde[a] b’ekkanisa mu buli kibuga, nga bwe nakulagira. 6 (F)Omuntu ateekwa okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja alina omukazi omu, era nga n’abaana baabwe bakkiriza, nga tebalina kibi kiyinza kuboogerwako era nga tebeenyigira mu bikolwa bya buseegu oba mu bujeemu. 7 (G)Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa ng’omuwanika wa Katonda, nga si mukakanyavu, nga si wa busungu, nga si mutamiivu, nga si mukambwe, nga teyeegomba kufuna magoba mu bukuusa 8 (H)naye ayaniriza abagenyi, ayagala okukola obulungi, omutegeevu, nga mwenkanya, nga mutukuvu, era ng’amanyi okwefuga. 9 (I)Ateekwa okuba omuntu anywerera ku kigambo ekyesigwa, alyoke asobole okunnyonnyola abantu enjigiriza entuufu, n’okulaga obukyamu bw’abo abagiwakanya.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.