Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
11 (A)Mu Mukama mwe neekweka;
ate muyinza mutya okuŋŋamba nti,
“Ddukira ku nsozi ng’ebinyonyi?
2 (B)Kubanga laba ababi baleega emitego gyabwe
egy’obusaale,
balase abalina omutima
omulongoofu.
3 (C)Emisingi nga gizikirizibwa,
omutuukirivu ayinza kukola ki?”
4 (D)Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu;
Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu.
Amaaso ge gatunuulira
era geetegereza abaana b’abantu.
5 (E)Mukama akebera abatuukirivu
naye omutima gwe gukyawa ababi,
n’abakola eby’obukambwe.
6 (F)Ababi alibayiwako
amanda ag’omuliro;
n’empewo ezibambula gwe guliba omugabo gwabwe.
7 (G)Kubanga Mukama mutuukirivu
era ayagala eby’obutuukirivu;
abo abalongoofu be balimulaba.
14 (A)Bayimusa amaloboozi gaabwe, baleekaana olw’essanyu,
batendereza ekitiibwa kya Mukama Katonda okuva mu bugwanjuba.
15 (B)Noolwekyo abo abali mu buvanjuba mugulumize Mukama,
mutendereze erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri,
mu bizinga eby’ennyanja.
16 (C)Tuwulira okuyimba okuva ku nkomerero y’ensi,
“Ekitiibwa kibeere eri Omutuukirivu.”
Naye ne njogera nti, “Nsanawo, nsanawo.
Zinsaze.
Ab’olukwe balya mu bannaabwe olukwe,
Ab’enkwe bakozesa enkwe okulya mu bannaabwe olukwe.”
17 (D)Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde,
mmwe abantu b’ensi.
18 (E)Buli alidduka eddoboozi ery’entiisa,
aligwa mu kinnya,
na buli alirinnya n’ava mu kinnya
alikwatibwa mu mutego.
Enzigi z’eggulu ziguddwawo,
N’emisingi gy’ensi gikankana.
19 (F)Ensi emenyeddwamenyeddwa,
ensi eyawuliddwamu,
ensi ekankanira ddala.
20 (G)Ensi etagala ng’omutamiivu,
eyuugayuuga ng’akasiisira bwe kayuugayuuga mu kibuyaga,
omusango gwe gumulumiriza nnyo olw’obujeemu bwe,
era ensi egwa n’etaddamu kuyimuka.
21 (H)Ku lunaku olwo Mukama Katonda alibonereza
ab’amaanyi abali waggulu mu bwengula,
ne bakabaka abali wansi ku nsi.
22 (I)Balikuŋŋaanyirizibwa wamu
ng’abasibe bwe bakuŋŋanyirizibwa mu kkomera,
era baliweebwa ekibonerezo
eky’okuggalirwa mu kkomera ennaku ennyingi.
23 (J)Omwezi gulitabulwatabulwa, n’enjuba eriswazibwa;
Mukama Katonda ow’Eggye alifugira mu kitiibwa
ku Lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi,
ne mu maaso g’abakadde.
41 Awo Peetero n’amubuuza nti, “Mukama waffe, olugero luno olugeredde ffe, oba bonna?”
42 (A)Mukama waffe n’addamu nti, “Omuweereza oyo omwesigwa era ow’amagezi ye aluwa mukama we gw’alikwasa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira abaweereza be n’okugaba emmere mu kiseera ekituufu? 43 Alina omukisa mukama we bw’alikomawo gw’alisanga ng’atuukiriza bulungi emirimu gye. 44 Ddala ddala mbagamba nti mukama we alimukwasa okulabirira ebintu bye byonna. 45 Naye singa omuddu oyo alowooza mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange ajja kulwawo okudda,’ n’adda ku baweereza banne, n’abakuba, n’ebiseera bye n’abimala mu kulya ne mu kunywa ne mu kutamiira, 46 (B)mukama we agenda kudda mu kiseera ky’atamusuubira, amubonereze, era amusuule eyo abatakkiriza gye bali.
47 (C)“Omuweereza oyo eyamanya mukama we by’ayagala akole, kyokka ye n’atabikola agenda kuweebwa ekibonerezo kinene. 48 (D)Naye ataamanya n’akola ebisaanidde okumukubya alikubwa kitono. Oyo aweebwa ebingi alisuubirwamu bingi, n’oyo gwe basigira ebingi, alivunaanyizibwa bingi okusingawo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.