Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 50:1-8

Zabbuli ya Asafu.

50 (A)Oyo Owaamaanyi, Mukama Katonda,
    akoowoola ensi
    okuva enjuba gy’eva okutuuka gy’egwa.
(B)Katonda ayakaayakana
    ng’ava mu Sayuuni n’obulungi bw’ekitiibwa kye ekituukiridde.
(C)Katonda waffe ajja, naye tajja kasirise,
    omuliro ogusaanyaawo buli kintu gwe gumukulembera,
    n’omuyaga ogw’amaanyi ne gumwetooloola.
(D)Akoowoola abali mu ggulu ne ku nsi,
    azze okusalira abantu be omusango.
(E)Agamba nti, “Munkuŋŋaanyize abantu bange abaayawulibwa,
    abaakola nange endagaano nga bawaayo ssaddaaka.”
(F)Eggulu litegeeza obutuukirivu bwa Katonda
    kubanga Katonda yennyini ye mulamuzi.

(G)“Muwulirize, mmwe abantu bange, nange nnaayogera.
    Ggwe Isirayiri bino bye nkuvunaana:
    Nze Katonda, Katonda wo.
(H)Sikunenya lwa ssaddaaka zo,
    oba ebiweebwayo ebyokebwa by’ossa mu maaso gange bulijjo.

Zabbuli 50:22-23

22 (A)“Ggwe eyeerabira Katonda, ebyo bisseeko omwoyo,
    nneme kukuyuzaayuza nga tewali na wa kukuwonya.
23 (B)Oyo awaayo ssaddaaka ey’okwebaza angulumiza,
    era ateekateeka ekkubo
    ndyoke mulage obulokozi bwa Katonda.”

Isaaya 9:18-10:4

18 (A)Ddala ekibi kyokya ng’omuliro;
    gumalawo emyeramannyo n’obusaana.
Era gukoleeza eby’omu kibira,
    omukka ne gunyooka ne gutumbiira waggulu.
19 (B)Olw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye
    ensi eggiiridde ddala,
era n’abantu bali ng’enku ez’okukuma omuliro,
    tewali muntu alekawo muganda we.
20 (C)Balimalawo eby’oku mukono ogwa ddyo,
    naye balisigala bayala;
balirya n’eby’oku kkono,
    naye tebalikkuta.
Buli omu alirya ku mubiri gw’ezzadde lye.
21     (D)Manase alirya Efulayimu ne Efulayimu n’alya Manase
    ate bombi ne balya Yuda.

Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo,
    era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
10 (E)Nga zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya,
    n’abo abawa ebiragiro ebinyigiriza,
(F)okulemesa abaavu ne batafuna nsala ebagwanidde;
    era n’okunyaga ku bantu bange abaavu ebyabwe,
ne bafuula bannamwandu omunyago gwabwe,
    n’abatalina ba kitaabwe omuyiggo gwabwe!
(G)Mulikola mutya ku lunaku Mukama lwalisalirako omusango
    ne mu kuzikirira okuliva ewala?
Muliddukira w’ani alibayamba?
    Obugagga bwammwe mulibuleka wa?
(H)Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe
    oba okuba mu abo abattiddwa.

Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo,
    era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.

Ebikolwa by’Abatume 7:1-8

Okwogera kwa Suteefano mu Lukiiko

Awo Kabona Asinga Obukulu n’abuuza Suteefano nti, “Ebyo bwe biri bwe bityo?”

(A)Suteefano n’addamu nti, “Baganda bange ne bakadde bange, mumpulirize! Katonda ow’ekitiibwa yalabikira jjajjaffe Ibulayimu ng’akyali mu Mesopotamiya, nga tannaba kulaga mu Kalani. (B)N’amugamba nti, ‘Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo, ogende mu nsi gye ndikulaga.’

(C)“Bw’atyo n’ava mu nsi y’Abakuludaaya n’abeera mu Kalani, okutuusa kitaawe bwe yafa. Awo Katonda n’amuleeta wano mu nsi eno mwe tuli kaakano. (D)Naye n’atamuwaako ttaka lirye newaakubadde awalinnyibwa ekigere. Kyokka n’asuubiza okugimuwa okugirya, ye n’ezzadde lye oluvannyuma lwe, newaakubadde nga mu kiseera ekyo lbulayimu teyalina mwana! (E)Katonda n’amugamba nti ezzadde lye, baliba bagenyi mu nsi y’abalala, era balibafuula abaddu, ne babayisa bubi okumala emyaka ebikumi bina. (F)Era Katonda n’agamba nti, ‘Ndibonereza eggwanga eryo eriribafuula abaddu, n’oluvannyuma balivaayo ne bansinziza mu kifo kino.’ (G)Era n’amuwa okukomolebwa ng’akabonero ak’endagaano. Awo lbulayimu n’azaala lsaaka, n’amukomola ng’awezezza ennaku munaana ez’obukulu. Isaaka n’azaala Yakobo, ne Yakobo n’azaala bajjajjaffe ekkumi n’ababiri.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.