Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 48

Oluyimba. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

48 (A)Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo
    mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.

(B)Sayuuni lwe lusozi lwe olulungi olugulumivu,
    olusanyusa ensi yonna.
Ku ntikko Zafoni kwe kuli
    ekibuga kya Kabaka Omukulu;
(C)Katonda mw’abeera;
    yeeraze okuba ekigo kye.

(D)Kale laba, bakabaka b’ensi baakuŋŋaana
    ne bakyolekera bakirumbe;
(E)bwe baakituukako ne bakyewuunya,
    ne batya nnyo ne badduka;
nga bakankana,
    ne bajjula obulumi ng’omukazi alumwa okuzaala.
(F)Wabazikiriza ng’omuyaga ogw’ebuvanjuba
    bwe guzikiriza ebyombo by’e Talusiisi.

(G)Ebyo bye twawuliranga obuwulizi,
    kaakano tubirabye
mu kibuga kya Mukama ow’Eggye,
    mu kibuga kya Katonda waffe,
    kyalinywereza ddala emirembe gyonna.

(H)Ayi Katonda, tufumiitiriza ku kwagala kwo okutaggwaawo
    nga tuli mu Yeekaalu yo.
10 (I)Erinnya lyo nga bwe liri ekkulu, Ayi Katonda,
    bw’otyo bw’otenderezebwa mu nsi yonna.
    Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obuwanguzi.
11 (J)Sanyuka gwe Sayuuni,
    musanyuke mmwe ebibuga bya Yuda;
    kubanga Katonda alamula bya nsonga.

12 Mutambule mu Sayuuni, mukibune;
    mubale n’ebigo byakyo.
13 (K)Mwekalirize nnyo munda wa bbugwe waakyo
    n’olusiisira lw’amaggye lwamu lwonna;
    mulyoke mutegeeze ab’emirembe egiriddawo.

14 (L)Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna;
    y’anaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.

Yoweeri 2:18-29

Mukama Asaasira Abantu Be

18 (A)Awo Mukama n’akwatirwa ensi ye ekisa,
    n’asaasira abantu be.

19 (B)N’ayanukula abantu be nti,

“Muwulirize, nzija kubaweereza emmere enkalu, n’envinnyo, n’amafuta,
    ebimala okubakkusiza ddala,
era siriddayo kubaleka, ne mufuuka ekivume,
    bannaggwanga amalala ne babasekerera.

20 (C)“Ndibagobako eggye ery’omu bukiikakkono
    ne ndigobera mu ddungu ery’ewala ennyo.
Ekibinja ekikulembeddemu ndikigobera mu nnyanja ey’Ebuvanjuba,
    n’ekibinja eky’emabega ndikigobera mu nnyanja ey’Ebugwanjuba.
Ekivundu n’okuwunya birituuka wala
    okusinga ebyo byonna bye libakoze.”

21 (D)Mwe abali mu nsi, temutya.
    Musanyuke era mujaguze;
kubanga Mukama abakoledde ebikulu.
22     (E)Nammwe ensolo ez’omu nsiko temutya;
    kubanga omuddo gwonna mu nsiko gusibukidde.
Emiti gibaze ebibala byagyo,
    era emitiini n’emizabbibu nagyo gibaze ebibala bingi.
23 (F)Musanyuke mmwe abaana ba Sayuuni;
    mujagulize Mukama Katonda wammwe.
Kubanga abawadde
    enkuba esooka mu butuukirivu.
Era abawadde enkuba nnyingi esooka n’esembayo
    mu mwaka ng’obw’edda.
24 (G)Amawuuliro gammwe galijjula eŋŋaano,
    n’amasogolero gammwe galijjula envinnyo n’amafuta n’okubooga ne gabooga.

25 “Ndibaddizaawo byonna enzige bye zaalya mu myaka egyo.
    Lyali ggye lyange ery’amaanyi lye nabasindikira nga lirimu lusejjera,
    n’enzige ezisala obusazi,
    awamu n’ezo ezizikiririza ddala.
26 (H)Kale, munaabanga n’ebyokulya bingi nga bwe muneetaaganga.
    Munaatenderezanga erinnya lya Mukama Katonda wammwe
    abakoledde ebintu ebirungi bwe bityo.
Era abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.
27 (I)Mulimanya nga ndi wakati mu Isirayiri,
    era nga Nze, Mukama, Nze Katonda wammwe,
    so tewali mulala;
n’abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.

Mukama Afuka Omwoyo We ku Bantu Be

28 (J)“Awo olulituuka oluvannyuma lw’ebyo,
    ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna.
Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza eby’omu maaso;
    abakadde baliroota ebirooto,
    n’abavubuka bammwe balyolesebwa.
29 (K)Mu biro ebyo
    ndifuka Omwoyo wange ku baweereza bange abasajja n’abakazi.

1 Abakkolinso 2:1-11

(A)Bwe najja gye muli abooluganda sajja gye muli na bumanyirivu mu kwogera wadde amagezi nga nangirira ekyama kya Katonda gye muli. (B)Kubanga nasalawo obutamanya kintu kyonna mu mmwe wabula Yesu Kristo oyo eyakomererwa. (C)Bwe nnali nammwe nnali munafu, nga ntya era nga nkankana nnyo. (D)Era okubuulira kwange n’okuyigiriza tebyali mu bigambo bya magezi ebisendasenda, naye byali mu maanyi ne Mwoyo Mutukuvu, (E)okukkiriza kwammwe kuleme kuba kw’amagezi ga bantu wabula kwesigame ku maanyi ga Katonda.

Amagezi ga Katonda

(F)Naye eri abo abakulu mu mwoyo, twogera eby’amagezi agatali ga mu mulembe guno, wadde ag’abafuzi ab’omu mulembe guno abaggwaawo. Wabula twogera eby’amagezi ga Katonda, agatamanyiddwa era agakisibwa, Katonda bye yateekateeka edda n’edda olw’ekitiibwa kyaffe; (G)tewali n’omu ku bafuzi ab’omulembe guno abaagategeera, kubanga singa baamanya tebandikomeredde Mukama ow’ekitiibwa. (H)Naye nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Eriiso bye litalabangako,
    n’okutu bye kutawulirangako,
n’omutima gw’omuntu kye gutalowoozangako
    Katonda bye yategekera abo abamwagala.”

10 (I)Naye ffe Katonda yabitubikkulira mu Mwoyo, kubanga Omwoyo anoonyereza ebintu byonna, n’eby’omunda ennyo ebya Katonda. 11 (J)Kubanga muntu ki ategeera eby’omuntu omulala okuggyako omwoyo w’omuntu oyo ali mu ffe? Noolwekyo n’ebintu bya Katonda tewali abimanyi okuggyako Omwoyo wa Katonda.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.