Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Dawudi.
24 (A)Ensi ya Mukama n’ebigirimu byonna,
n’ensi zonna n’abo abazibeeramu.
2 Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja,
n’agizimba ku mazzi amangi.
3 (B)Alyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya?
Era wa ngeri ki aliyingira n’ayimirira mu nnyumba ye entukuvu?
4 (C)Oyo alina omutima omulongoofu, nga n’emikono gye mirongoofu;
atasinza bakatonda abalala,
era atalayirira bwereere.
5 Oyo Mukama anaamuwanga omukisa,
n’obutuukirivu okuva eri Katonda ow’obulokozi bwe.
6 (D)Ogwo gwe mulembe gw’abo abakunoonya,
Ayi Katonda wa Yakobo.
7 (E)Mweggulewo, mmwe bawankaaki!
Muggulwewo, mmwe enzigi ez’edda,
Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
8 (F)Kabaka ow’ekitiibwa ye ani?
Ye Mukama ow’amaanyi era ow’obuyinza,
omuwanguzi mu ntalo.
9 Mweggulewo, mmwe bawankaaki,
muggulwewo mmwe enzigi ez’edda!
Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
10 Kabaka ow’ekitiibwa oyo ye ani?
Mukama Ayinzabyonna;
oyo ye Kabaka ow’ekitiibwa.
Okuva mu Sinaayi
11 (A)Awo olwatuuka ku lunaku olw’amakumi abiri mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokubiri, ekire ne kisitulibwa okuva waggulu wa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 12 Abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okuva mu Ddungu lya Sinaayi, oluvannyuma ekire ne kiyimirira mu Ddungu lya Palani. 13 (B)Ogwo gwe gwali omulundi omubereberye okusitula okutambula nga bagendera ku kiragiro kya Mukama Katonda kye yayisa mu Musa.
14 (C)Olusiisira lw’abaana ba Yuda lwe lwasooka okusitula okutambula, nga bakulemberwa ebendera yaabwe; Nakusoni mutabani wa Amminadaabu nga ye muduumizi waabwe. 15 Nesaneri mutabani wa Zuwaali ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Isakaali, 16 ne Eriyaabu mutabani wa Keroni n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Zebbulooni. 17 (D)Eweema ya Mukama n’esimbulwa, batabani ba Gerusoni ne batabani ba Merali abaagyetikkanga ne basitula ne batambula.
18 (E)Ebibinja by’omu lusiisira lwa Lewubeeni bye byaddako okusitula okutambula awamu n’ebendera yaabyo, nga biduumirwa Erizuuli mutabani wa Sedewuli. 19 Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Simyoni, 20 ne Eriyasaafu mutabani wa Deweri n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Gaadi. 21 (F)Abakokasi ne basitula okutambula nga beetisse ebintu ebitukuvu. Eweema ya Mukama ng’emala kusimbibwa, nabo ne balyoka batuuka.
22 (G)Ebibinja by’omu lusiisira lwa Efulayimu bye byaddirira okusitula okutambula awamu n’ebendera yaabyo; Erisaama mutabani wa Ammikudi nga ye muduumizi waabyo. 23 Gamalyeri mutabani wa Pidazuuli ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Manase; 24 ne Abidaani mutabani wa Gidyoni n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Benyamini.
25 (H)Ku nkomerero ya byonna, ebibinja by’omu lusiisira lwa Ddaani, nga bye bikuuma emabega, ne bisitula okutambula n’ebendera yaabyo nga bikoobedde ensiisira zonna; Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi nga ye muduumizi waabyo. 26 Pagiyeeri mutabani wa Okulaani ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Aseri; 27 ne Akira mutabani wa Enani n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Nafutaali. 28 Eyo ye yali entegeka ey’abaana ba Isirayiri ng’ebibinja byabwe bwe byali nga basitula okutambula.
29 (I)Awo Musa n’agamba mukoddomi we Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani nti, “Tusitula okutambula okugenda mu kifo Mukama kye yatugamba nti, ‘Ndikibawa.’ Kale nno, jjangu tugende ffenna tulikuyisa bulungi, kubanga Mukama yasuubiza Isirayiri ebintu ebirungi.”
30 (J)Naye n’addamu nti, “Nedda, sijja kugenda nammwe, nzirayo mu nsi ye waffe era mu bantu bange.”
31 (K)Naye Musa n’amugamba nti, “Nkwegayiridde totuleka. Ggwe omanyi obulungi eddungu gye tusaanye okukuba olusiisira lwaffe, ggwe ojja okubeera amaaso gaffe. 32 (L)Singa ojja ne tugenda ffenna, tunaagabaniranga wamu buli kirungi kyonna Mukama ky’anaatuwanga.”
Essanduuko ey’Endagaano, n’Ekire Ekikulemberamu
33 (M)Awo ne basitula okuva ku lusozi lwa Mukama Katonda ne batambulira ennaku ssatu. Essanduuko ya Mukama ey’Endagaano n’ebakulemberanga okumala ennaku ezo essatu ng’ebanoonyeza ekifo eky’okuwummuliramu. 34 (N)Buli lwe baasitulanga okutambula nga bava mu lusiisira, ekire kya Mukama Katonda kyabeeranga waggulu waabwe buli budde bwa misana.
35 (O)Buli abeetissi b’Essanduuko ya Mukama Katonda lwe baasitulanga okutambula, Musa n’agamba nti,
“Golokoka, Ayi Mukama!
Abalabe bo basaasaane;
amaggye agakulwanyisa gakudduke.”
36 (P)Buli Ssanduuko ya Mukama Katonda lwe yawummuzibwanga, Musa n’agamba nti,
“Komawo, Ayi Mukama,
eri enkumi n’enkumi eza Isirayiri.”
Okuzaalibwa kwa Yokaana
57 Awo ekiseera kya Erisabesi eky’okuzaala ne kituuka, n’azaala omwana wabulenzi. 58 Baliraanwa ba Erisabesi n’ab’ekika kye ne bawulira nga Mukama bw’amulaze ekisa, ne basanyukira wamu naye.
59 (A)Awo omwana bwe yaweza ennaku omunaana, ne bajja okumukomola, bonna nga balowooza nti ajja kutuumibwa erinnya lya kitaawe Zaakaliya. 60 (B)Naye Erisabesi n’abagamba nti, “Nedda, ajja kutuumibwa Yokaana.”
61 Ne bamuwakanya nga bagamba nti, “Mu kika kyo kyonna tetuwulirangayo yatuumibwa linnya eryo.”
62 (C)Ne babuuza kitaawe w’omwana erinnya ly’ayagala atuumibwe. 63 (D)N’abasaba eky’okuwandiikako, n’awandiikako nti, “Erinnya lye ye Yokaana!” Bonna ne beewuunya nnyo! 64 (E)Amangwago akamwa ka Zaakaliya ne kagguka, n’olulimi lwe ne lusumulukuka, n’atandika okwogera n’okutendereza Katonda. 65 (F)Abantu bonna ab’omu kitundu ekyo ne batya nnyo, era ebigambo ebyo ne bibuna mu nsi yonna ey’e Buyudaaya ey’ensozi. 66 (G)Buli eyawulira ebigambo ebyo n’abirowoozaako nnyo mu mutima gwe, ne yeebuuza nti, “Naye omwana ono bw’alikula aliba atya?” Kubanga awatali kubuusabuusa, omukono gwa Mukama gwali wamu naye.
Oluyimba lwa Zaakaliya
67 (H)Awo Zaakaliya kitaawe, n’ajjula Mwoyo Mutukuvu n’awa obunnabbi nti,
68 (I)“Atenderezebwe Mukama Katonda wa Isirayiri,
kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde.
69 (J)Yatuyimusiriza obuyinza obw’obulokozi,
mu nnyumba y’omuddu we Dawudi.
70 (K)Nga bwe yasuubiriza mu bigambo bya bannabbi be abatukuvu ab’edda ennyo,
71 Okulokolebwa mu balabe baffe,
n’okuva mu mukono gw’abo bonna abatukyawa,
72 (L)okulaga bajjajjaffe ekisa,
n’ajjukira n’endagaano ye entukuvu,
73 (M)ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu,
74 (N)okukituukiriza, n’okulokolebwa okuva mu mukono gw’abalabe baffe awatali kutya,
tulyoke tuweereze mu maaso ge,
75 (O)mu butukuvu ne mu butuukirivu ennaku zonna ez’obulamu bwaffe.
76 (P)“Naawe, mwana wange, oliyitibwa nnabbi w’Oyo Ali Waggulu Ennyo;
kubanga gw’olikulembera Mukama okumuteekerateekera amakubo ge.
77 (Q)Okumanyisa abantu be obulokozi,
obw’okusonyiyibwa ebibi byabwe.
78 (R)Byonna birituukirira olw’ekisa kya Katonda waffe ekingi.
Emmambya esala eritukyalira okuva mu ggulu,
79 (S)okwakira abo abatudde mu kizikiza
ne mu kisiikirize eky’okufa,
okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery’emirembe.”
80 (T)Omwana n’akula n’ayongerwako amaanyi mu mwoyo, n’abeera mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yayolesebwa eri Isirayiri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.