Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 48

Oluyimba. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

48 (A)Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo
    mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.

(B)Sayuuni lwe lusozi lwe olulungi olugulumivu,
    olusanyusa ensi yonna.
Ku ntikko Zafoni kwe kuli
    ekibuga kya Kabaka Omukulu;
(C)Katonda mw’abeera;
    yeeraze okuba ekigo kye.

(D)Kale laba, bakabaka b’ensi baakuŋŋaana
    ne bakyolekera bakirumbe;
(E)bwe baakituukako ne bakyewuunya,
    ne batya nnyo ne badduka;
nga bakankana,
    ne bajjula obulumi ng’omukazi alumwa okuzaala.
(F)Wabazikiriza ng’omuyaga ogw’ebuvanjuba
    bwe guzikiriza ebyombo by’e Talusiisi.

(G)Ebyo bye twawuliranga obuwulizi,
    kaakano tubirabye
mu kibuga kya Mukama ow’Eggye,
    mu kibuga kya Katonda waffe,
    kyalinywereza ddala emirembe gyonna.

(H)Ayi Katonda, tufumiitiriza ku kwagala kwo okutaggwaawo
    nga tuli mu Yeekaalu yo.
10 (I)Erinnya lyo nga bwe liri ekkulu, Ayi Katonda,
    bw’otyo bw’otenderezebwa mu nsi yonna.
    Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obuwanguzi.
11 (J)Sanyuka gwe Sayuuni,
    musanyuke mmwe ebibuga bya Yuda;
    kubanga Katonda alamula bya nsonga.

12 Mutambule mu Sayuuni, mukibune;
    mubale n’ebigo byakyo.
13 (K)Mwekalirize nnyo munda wa bbugwe waakyo
    n’olusiisira lw’amaggye lwamu lwonna;
    mulyoke mutegeeze ab’emirembe egiriddawo.

14 (L)Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna;
    y’anaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.

2 Samwiri 3:1-12

(A)Awo ne wabangawo entalo wakati w’ennyumba ya Sawulo n’ennyumba ya Dawudi okumala ebbanga ddene. Dawudi n’akulaakulana, n’aba w’amaanyi, naye ennyumba ya Sawulo ne yeeyongeranga okunafuwa.

(B)Dawudi n’azaalirwa abaana aboobulenzi e Kebbulooni.

Omuggulanda yali Amunoni eyazaalibwa Akinoamu Omuyezuleeri,

(C)owookubiri yali Kireyaabu eyazaalibwa Abbigayiri nnamwandu wa Nabali Omukalumeeri,

n’owookusatu yali Abusaalomu eyazaalibwa Maaka muwala wa Talumaayi kabaka w’e Gesuli[a];

(D)n’owookuna yali Adoniya eyazaalibwa Kaggisi,

n’owokutaano yali Sefatiya eyazaalibwa Abitali;

n’ow’omukaaga yali Isuleyamu, eyazaalibwa Egula mukyala wa Dawudi.

Abo be baazaalirwa Dawudi mu Kebbulooni.

Abuneeri Asala Eddiiro

Entalo n’enkaayana nga zikyagenda mu maaso wakati w’ennyumba ya Sawulo n’ennyumba ya Dawudi, Abuneeri n’anyweza ekifo kye mu nnyumba ya Sawulo. (E)Sawulo yalina omuzaana erinnya lye Lizupa muwala wa Aya. Isubosesi n’abuuza Abuneeri nti, “Lwaki weetaba n’omuzaana wa kitange?”

(F)Awo Abuneeri n’asunguwala nnyo olw’ekigambo Isubosesi kye yamugamba, n’amuddamu nti, “Nze mutwe gw’embwa ya Yuda? Mbadde wa kisa eri ennyumba ya kitaawo Sawulo, n’eri baganda be, ne mikwano gye, ne sibawaayo mu mukono gwa Dawudi. Kaakano onteekako omusango olw’omukazi oyo. (G)Katonda akole Abuneeri bw’atyo n’okukirawo, bwe siituukirize ekyo Mukama kye yalayirira Dawudi, 10 (H)okuggya obwakabaka ku nnyumba ya Sawulo, n’okunyweza entebe ey’obwakabaka eya Dawudi okufuga Isirayiri ne Yuda okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba[b].” 11 Isubosesi n’ataŋŋaanga kwanukula Abuneeri kigambo kirala, olw’okumutya.

12 Awo Abuneeri n’atumira Dawudi ababaka okumugamba nti, “Ensi y’ani? Kola endagaano nange, laba nnaafuula Isirayiri yonna okuba eyiyo.”

2 Abakkolinso 10:7-11

(A)Mutunuulira ebintu nga bwe birabika kungulu. Omuntu yenna bw’alowooza munda mu ye okuba owa Kristo, ekyo akirowooza ku ye yekka, nti nga naffe tuli ba Kristo nga ye. (B)Kubanga ne bwe ndisukkirira okwenyumiriza olw’obuyinza bwe tulina, Mukama bwe yatuwa olw’okubazimba so si lwa kubassa wansi, sirikwatibwa nsonyi, nneme kufaanana ng’abatiisa mu bbaluwa zange. 10 (C)Kubanga agamba nti, “Ebbaluwa ze ddala nzito era z’amaanyi, naye okubaawo kwe mu mubiri kunafu, n’okwogera kwe kunyoomebwa.” 11 Alowooza bw’atyo ategeere nga bye twogerako mu bbaluwa nga tetuli nammwe, era bye tukola nga tuli nammwe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.