Add parallel Print Page Options

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba lwa Dawudi.

68 (A)Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane,
    n’abo abamukyawa bamudduke.

Read full chapter

10 Naye

abo abamukyawa alibeesasuza n’okuzikirizibwa;
    tagenda kulwawo kwesasuza oyo amukyawa.

Read full chapter

41 (A)bwe mpagala ekitala kyange ekimasamasa,
    n’omukono gwange ne gukikwata nga nsala emisango,
nnaawalananga abalabe bange,
    ne neesasuzanga eri abanaankyawanga.

Read full chapter

(A)Ng’empewo bw’efuumuula omukka,
    naawe bafuumuule bw’otyo;
envumbo nga bw’esaanuuka mu muliro,
    n’abakola ebibi bazikirire bwe batyo mu maaso ga Katonda!

Read full chapter

12 (A)Woowe oluyoogaano olw’amawanga amangi,
    bawuluguma ng’okuwuluguma kw’ennyanja esiikuuse!
Okuwuluguma kw’abantu,
    bawuluguma ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi!
13 (B)Wadde amawanga galiwuuma n’okuwulikika ne gawulikika ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi,
    Mukama bw’aligagoba, galibulawo mbagirawo.
Galiba ng’ebisusunku bwe bitwalibwa empewo;
    era ng’enfuufu ekunta nga yeetooloola, enkuba ng’eneetera okutonnya.
14 (C)Entiisa ey’amaanyi eribagwako akawungeezi.
    Buliba tebunnakya ng’abalabe bonna tewakyali.
Guno gwe mugabo gw’abo abatunyaga,
    era y’empeera y’abo abatunyagako ebyaffe.

Read full chapter