Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
111 Mutendereze Mukama!
Nneebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna,
mu lukiiko lw’abalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana.
2 (A)Mukama by’akola bikulu;
bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira.
3 Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa,
n’obutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna.
4 (B)Ayamba abantu okujjukira ebyamagero bye,
Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.
5 (C)Agabira abamutya emmere;
era ajjukira endagaano ye buli kiseera.
6 Abantu be abalaze ng’ebikolwa bye bwe biri eby’amaanyi;
n’abagabira ensi eyali ey’abannaggwanga.
7 (D)By’akola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya;
n’amateeka ge gonna ga bwesigwa,
8 (E)manywevu emirembe gyonna;
era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima.
9 (F)Yanunula abantu be;
n’alagira endagaano ye ebeerewo emirembe gyonna.
Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa!
10 (G)Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera
era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu.
Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.
28 (A)Weegenderezenga okugoberera ebiragiro bino byonna bye nkuwa, olyoke obeenga bulungi, ggwe, n’abaana bo, oluvannyuma lwo, emirembe gyonna, kubanga onoobanga okoze ekituufu mu maaso ga Mukama Katonda wo.
Okulabula ku Kusinza bakatonda abalala
29 (B)Amawanga ago g’ogenda okulumba ogatwaleko ensi yaabwe, Mukama agenda kugazikiriza nga naawe olaba. Naye bw’obanga omaze okubagoba mu nsi yaabwe, n’okugibeeramu n’ogibeeramu, 30 era ng’amawanga ago gamaze okuzikirizibwa nga naawe olaba, weekuumanga n’otabuuliriza ku bya bakatonda baabwe ng’ogamba nti, “Ab’omu mawanga ago baasinzanga batya bakatonda baabwe, nange njagala nkole bwe ntyo?” 31 (C)Mukama Katonda wo tomusinzanga mu ngeri efaanana ng’eya bali, kubanga mu kusinza bakatonda baabwe bakoleramu ebikolobero bingi Mukama by’atayagala, by’akyawa. Bayokya ne batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro nga ssaddaaka eri bakatonda baabwe.
32 (D)Kibagwanidde okunyiikiranga okukolanga buli kintu kye mbalagira, tokyongerangako wadde okukikendeezangako.
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Perugamo
12 (A)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’e Perugamo wandiika nti:
Bw’ati bw’ayogera oyo alina ekitala ekyogi eky’obwogi obubiri 13 (B)nti, Mmanyi gy’obeera awo awali entebe y’obwakabaka bwa Setaani, kyokka ng’onywezezza erinnya lyange era wasigala n’okukkiriza kwo, ne mu biseera Antipa omujulirwa wange omwesigwa mwe yattirwa wakati mu mmwe, eyo Setaani gy’abeera.
14 (C)Naye nkulinako ensonga ntono: eyo olinayo ab’enjigiriza eya Balamu eyayigiriza Balaki okutega abaana ba Isirayiri omutego n’abaliisa ennyama ey’omuzizo eyassaddaakirwa eri bakatonda abalala, era n’okwenda. 15 (D)Ate era olinayo n’abakkiririza mu njigiriza y’Abanikolayiti. 16 (E)Noolwekyo weenenye, bw’otookikole ndijja mangu ne nnwanyisa abantu abo n’ekitala eky’omu kamwa kange.
17 (F)Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa. Era ndimuwa ejjinja eryeru eriwandiikiddwako erinnya eriggya eritamanyiddwa muntu mulala yenna wabula oyo aliweereddwa.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.