Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 110

Zabbuli ya Dawudi.

110 (A)Mukama yagamba Mukama wange nti:

“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
    okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bo
    ne mbassa wansi w’ebigere byo.[a]

(B)Mukama aligaziya obufuzi bwo okuva mu Sayuuni;
    olifuga abalabe bo.
(C)Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyo
    ng’ekiseera ky’olutalo kituuse.
Abavubuka bo,
    nga bali mu by’ekitiibwa ekitukuvu,
    balikukuŋŋaanirako ng’omusulo bwe gulabika ng’obudde bwakakya.

(D)Mukama yalayira,
    era tagenda kukijjulula,
yagamba nti, “Olibeera kabona emirembe gyonna
    ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.”

(E)Mukama anaakulwaniriranga;
    bakabaka abakulwanyisa anaababetentanga mu busungu bwe obungi.
(F)Aliramula amawanga, abafuzi b’ensi yonna n’abazikiriza,
    n’entuumo z’emirambo ziriba nnyingi ku nsi yonna.
(G)Alinywa amazzi mu kagga ku kkubo,
    n’addamu amaanyi ag’obuwanguzi.

Engero 22:1-9

Omugaso gw’Erinnya Eddungi

22 (A)Erinnya eddungi lyagalibwa okusinga eby’obugagga ebingi,
    n’okuganja kusinga ffeeza oba zaabu.

(B)Abagagga n’abaavu balina kimu ekibagatta,
    Mukama ye Mutonzi waabwe bonna.

(C)Omuntu omutegeevu bw’alaba akabi yeekweka,
    naye abatalina magezi bagenda bugenzi mu maaso ne balumizibwa.

Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu
    y’empeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.

(D)Amaggwa n’emitego biri mu kkubo ly’omubambaavu;
    naye oyo akuuma emmeeme ye anaabyewalanga.

(E)Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu,
    ne bw’alikula talirivaamu.

Omugagga afuga abaavu,
    naye eyeewola aba muddu w’oyo amuwola.

(F)Asiga obutali butuukirivu akungula mitawaana,
    n’oluga olw’obusungu bwe lulizikirizibwa.

(G)Omuntu omugabi anaabanga n’omukisa,
    kubanga emmere ye agirya n’abaavu.

Lukka 6:27-31

27 (A)“Naye mmwe abampuliriza mbagamba nti: Mwagalenga abalabe bammwe, n’ababakyawa mubayisenga bulungi. 28 (B)Ababakolimira mubasabirenga omukisa; ababayisa obubi mubasabirenga. 29 Omuntu bw’akukubanga oluyi ku luba olumu, omukyusizanga n’akukuba ne ku lwokubiri! Omuntu bw’akunyagangako ekkooti yo, n’essaati yo ogimulekeranga. 30 (C)Omuntu yenna akusabanga omuwanga; era n’oyo akuggyangako ebintu byo tobimusabanga kubikuddizza. 31 (D)Kye mwagala abantu okubakoleranga, nammwe mubibakoleranga bwe mutyo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.