Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
24 (A)Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo!
Byonna wabikola n’amagezi ag’ekitalo;
ensi ejjudde ebitonde byo.
25 (B)Waliwo ennyanja, nnene era ngazi,
ejjudde ebitonde ebitabalika,
ebintu ebirina obulamu ebinene era n’ebitono.
26 (C)Okwo amaato kwe gaseeyeeyera nga galaga eno n’eri;
ne galukwata ge wakola mwe gabeera okuzannyiranga omwo.
27 (D)Ebyo byonna bitunuulira ggwe
okubiwa emmere yaabyo ng’ekiseera kituuse.
28 (E)Bw’ogibiwa,
nga bigikuŋŋaanya;
bw’oyanjuluza engalo zo n’obigabira ebintu ebirungi
ne bikkusibwa.
29 (F)Bw’okweka amaaso go
ne byeraliikirira nnyo;
bw’obiggyamu omukka nga bifa,
nga biddayo mu nfuufu.
30 Bw’oweereza Omwoyo wo,
ne bifuna obulamu obuggya;
olwo ensi n’ogizza buggya.
35 (A)Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi;
aboonoonyi baleme kulabikirako ddala.
Weebaze Mukama, gwe emmeeme yange.
Mumutenderezenga Mukama.
7 (A)“ ‘Ndimanyisa abantu bange Isirayiri Erinnya lyange ettukuvu. Siriganya linnya lyange kuddayo kuvumibwa, era amawanga galimanya nga nze Mukama, Omutukuvu mu Isirayiri. 8 Ekiseera kyakyo kituuse era kirituukirira, bw’ayogera Mukama Katonda. Luno lwe lunaku lwe nayogerako.
21 (A)“Ndyoleka ekitiibwa kyange mu mawanga, era amawanga gonna galiraba ekibonerezo kye ndikuwa, nga n’omukono gwange gubateekeddwaako. 22 Okuva ku lunaku olwo, ennyumba ya Isirayiri balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe. 23 (B)N’amawanga galimanya ng’abantu ba Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse olw’ebibi byabwe, kubanga tebaali beesigwa gye ndi. Kyenava mbakweka amaaso gange ne mbawaayo mu mukono gw’abalabe baabwe, bonna ne battibwa ekitala. 24 (C)Nababonereza ng’obutali butuukirivu bwabwe n’ebikolwa byabwe bwe byali, ne mbakisa amaaso gange.
25 (D)“Noolwekyo Mukama Katonda ayogera nti, Ndikomyawo Yakobo okuva mu buwaŋŋanguse, era ndikwatirwa ekisa ennyumba ya Isirayiri yonna, era ndirwanirira erinnya lyange ettukuvu. 26 (E)Balyerabira okuswazibwa kwabwe, n’obutali bwesigwa bwe bandaga, bwe baabeera mu nsi yaabwe emirembe, nga tebaliiko abatiisa. 27 (F)Bwe ndibakomyawo okuva mu mawanga, nga mbakuŋŋaanyizza okuva mu nsi ez’abalabe baabwe, ndyoleka obutukuvu bwange mu bo eri amawanga mangi. 28 Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda, kubanga nabasindika mu buwaŋŋanguse mu mawanga, ate ne mbakuŋŋaanya eri ensi yaabwe, ne sirekaayo n’omu. 29 (G)Siribakisa maaso gange nate, bwe ndifuka Omwoyo wange ku nnyumba ya Isirayiri, bw’ayogera Mukama Katonda.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.