Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 33:12-22

12 (A)Lirina omukisa eggwanga eririna Katonda nga ye Mukama waalyo,
    ng’abantu baalyo yabalonda babeere bantu be.
13 (B)Mukama asinziira mu ggulu
    n’alaba abaana b’abantu bonna;
14 (C)asinziira mu kifo kye mw’abeera
    n’alaba abantu bonna abali ku nsi.
15 (D)Ye y’ategeka ebirowoozo byabwe bonna
    ne yeetegereza byonna bye bakola.

16 (E)Tewali kabaka asobola kuwona olw’obunene bw’eggye lye;
    era tewali mulwanyi ayinza kuwona olw’amaanyi ge amangi.
17 (F)Okusuubira embalaasi yokka okukuwanguza olutalo kuteganira bwerere;
    newaakubadde erina amaanyi mangi naye tesobola kulokola.
18 (G)Naye amaaso ga Mukama galabirira abo abamutya;
    abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo,
19 (H)abawonya okufa,
    era abawonya enjala.

20 (I)Tulindirira Mukama nga tulina essuubi,
    kubanga ye mubeezi waffe era ye ngabo yaffe.
21 (J)Mu ye emitima gyaffe mwe gijaguliza,
    kubanga twesiga erinnya lye ettukuvu.
22 Okwagala kwo okutaggwaawo kubeerenga mu ffe,
    Ayi Mukama, ng’essuubi lyaffe bwe liri mu ggwe.

Okuva 19:16-25

Musa Asisinkana Katonda ku Lusozi Sinaayi

16 (A)Awo ku lunaku olwokusatu ku nkya ne waba okubwatuka n’okumyansa, n’ekire ekikutte ku lusozi, n’eddoboozi ly’akagombe ery’omwanguka ennyo; abantu bonna abaali mu lusiisira n’okukankana ne bakankana. 17 Musa n’aggya abantu mu lusiisira n’abaleeta basisinkane Katonda; ne bayimirira wansi w’olusozi. 18 (B)Olusozi Sinaayi ne lubikkibwa omukka; kubanga Mukama yalukkako mu muliro. Omukka ne gunyooka nga gwambuka ng’oguva mu kyoto, n’olusozi lwonna ne lukankana nnyo. 19 (C)Eddoboozi ly’akagombe bwe lyeyongera okuvuga n’omwanguka ogw’amaanyi, Musa n’ayogera, ne Katonda n’amwanukula n’eddoboozi ery’okubwatuka.

20 Awo Mukama n’akka ku ntikko y’Olusozi Sinaayi. Mukama n’ayita Musa agende ku ntikko y’olusozi; Musa n’alinnya. 21 (D)Mukama n’agamba Musa nti, “Serengeta eri abantu obalabule baleme kuwaguza okujja okutunula ku Mukama, abantu bangi baleme kuzikirira. 22 (E)Ne bakabona, abasemberera Mukama, nabo basaana beetukuze, kubanga Mukama ayinza okubasaanyaawo.”

23 (F)Musa n’addamu Mukama nti, “Abantu tebasobola kwambuka ku Lusozi Sinaayi, kubanga ggwe wennyini watulagira nti, ‘Muteekeewo akakomera okwetooloola olusozi, lusigale lwokka nga lutukuvu.’ ”

24 (G)Mukama n’alagira Musa nti, “Serengeta oleete Alooni; naye bakabona n’abantu tobaganya kuwaguza kujja kwambuka eri Mukama, kubanga ayinza okubasaanyaawo.”

25 Bw’atyo Musa n’aserengeta mu bantu n’abategeeza.

Abaruumi 8:14-17

14 (A)kubanga abo bonna abakulemberwa Omwoyo wa Katonda be baana ba Katonda. 15 (B)Temwaweebwa mwoyo gwa buddu ate mutye, wabula mwaweebwa Omwoyo eyabafuula abaana, era ku bw’oyo tumukoowoola nti, “Aba, Kitaffe.” 16 (C)Omwoyo yennyini akakasiza wamu n’omwoyo waffe nga bwe tuli abaana ba Katonda. 17 (D)Kale nga bwe tuli abaana, tuli basika ba Katonda, era tulisikira wamu ne Kristo, bwe tubonaabonera awamu naye, tulyoke tuweerwe wamu naye ekitiibwa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.