Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
55 (A)Naye Suteefano ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, n’atunuulira eggulu enkaliriza, n’alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ng’ayimiridde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo. 56 (B)N’abagamba nti, “Laba, ndaba eggulu nga libikkuse, nga n’Omwana w’Omuntu ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.”
57 Ne baleekaanira waggulu nga bazibikidde amatu gaabwe ne bamweyiwako. 58 (C)Ne bamusindiikiriza ebweru w’ekibuga, ne bamukuba amayinja. Abaamukuba ne bassa eminagiro gyabwe ku bigere by’omuvubuka erinnya lye Sawulo.
59 (D)Awo bwe baali bakuba Suteefano amayinja, n’akoowoola Katonda ng’agamba nti, “Mukama wange Yesu, twala omwoyo gwange.” 60 (E)N’agwa wansi ku maviivi n’akaaba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mukama wange, tobavunaana olw’ekibi kino.” Bwe yamala okwogera ekyo, n’afa.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
31 Ayi Mukama, ggwe kiddukiro kyange,
leka nneme kuswazibwa.
Ndokola mu butuukirivu bwo.
2 (A)Ontegere okutu kwo
oyanguwe okunziruukirira.
Beera ekiddukiro kyange eky’olwazi
era ekigo eky’amaanyi eky’okumponya.
3 (B)Nga bw’oli olwazi lwange era ekigo kyange;
olw’erinnya lyo onkulembebere era onnuŋŋamye.
4 (C)Omponye mu mutego gwe banteze;
kubanga ggwe kiddukiro kyange.
5 (D)Nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo;
ondokole, Ayi Mukama, Katonda ow’amazima.
2 (A)Ng’abaana abaakazaalibwa bwe beegomba amata, nammwe mwegombenga amata ag’omwoyo, muganywenga mukule era mulokolebwe, 3 (B)kubanga mwalega ku bulungi bwa Mukama.
4 (C)Mujje gy’ali kubanga ye ly’ejjinja eddamu, abantu lye baasuula nga balowooza nti terigasa, kyokka eryalondebwa Katonda era ery’omugaso omunene ennyo. 5 (D)Mujje gy’ali nga muli ng’amayinja amalamu, muzimbibwemu ennyumba ey’omwoyo. Mulyoke mube bakabona be abaweereza ssaddaaka ey’omwoyo, esiimibwa Katonda mu Yesu Kristo Mukama waffe. 6 (E)Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti,
“Laba, nteeka mu Sayuuni,
ejjinja ery’oku nsonda ery’omuwendo omungi eddonde,
oyo eyeesiga Kristo,
taliswazibwa.”
7 (F)Ejjinja eryo lya muwendo mungi nnyo eri mmwe abakkiriza. Naye eri abatakkiriza,
“Lye jjinja abazimbi lye baagaana,
lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.”
8 (G)Era
“Lye jjinja abantu lye beekoonako,
lwe lwazi kwe beesittala ne bagwa.”
Beesittala kubanga bajeemera ekigambo kya Katonda, nga bwe ky’ateekebwateekebwa.
9 (H)Naye mwe muli kika kironde, bakabona bw’obwakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu ba Katonda bennyini. Mwalondebwa mulyoke mutende ebirungi bya Katonda eyabaggya mu kizikiza n’abayingiza mu butangaavu bwe obutenkanika. 10 (I)Edda temwali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda, era mwali temusaasirwa, naye kaakano Katonda abasaasidde.
Yesu Agumya Abayigirizwa be
14 (A)“Omutima gwammwe tegweraliikiriranga. Mukkiriza Katonda, era nange munzikirize. 2 (B)Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebisenge bingi, era ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. Singa tekiri bwe kityo nandibagambye. 3 (C)Bwe ndimala okubateekerateekera ekifo ndikomawo, ne mbatwala gye ndi, Nze gye ndi nammwe gye muba mubeera. 4 Era gye ŋŋenda ekkubo mulimanyi.”
Yesu ly’Ekkubo Erituusa Abantu eri Kitaawe
5 (D)Tomasi n’amugamba nti, “Mukama waffe, tetumanyi gy’olaga, kale tuyinza tutya okumanya ekkubo?”
6 (E)Yesu n’addamu nti, “Nze kkubo, n’amazima n’obulamu. Tewali n’omu ajja eri Kitange wabula ng’ayita mu Nze. 7 (F)Singa muntegedde ne Kitange mwandimutegedde. Era okuva kaakano mumulabye era mumutegedde.”
8 Firipo n’amugamba nti, “Mukama waffe, tulage Kitaffe, kinaatumala.”
9 (G)Yesu n’amugamba nti, “Firipo, kasookedde mbeera nammwe ebbanga lino lyonna era tontegeeranga? Buli alaba Nze aba alabye Kitange! Kale lwaki ate oyogera nti, ‘Tulage Kitaffe?’ 10 (H)Tokkiriza nga Nze ndi mu Kitange era ne Kitange ali mu Nze? Ebigambo bye mbategeeza si byange ku bwange, wabula biva eri Kitange abeera mu Nze, era akola emirimu ng’ayita mu Nze. 11 (I)Kale munzikirize nti ndi mu Kitange era nga ne Kitange ali mu Nze. Oba si ekyo munzikirize olw’emirimu gyokka.
12 (J)“Ddala ddala mbagamba nti buli anzikiriza alikola emirimu egyo gye nkola, era alikola egisinga egyo, kubanga Nze ŋŋenda eri Kitange. 13 (K)Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana. 14 Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange nnaakikolanga.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.