Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 34:15-22

15 (A)Amaaso ga Mukama gatunuulira abo abatuukirivu,
    n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.
16 (B)Mukama amaliridde okumalawo abakola ebibi,
    okubasaanyizaawo ddala n’obutaddayo kujjukirwa ku nsi.

17 (C)Abatuukirivu bakoowoola Mukama n’abawulira
    n’abawonya mu byonna ebiba bibateganya.
18 (D)Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.

19 (E)Omuntu omutuukirivu ayinza n’okuba n’ebizibu bingi,
    naye byonna Mukama abimuyisaamu.
20 (F)Amagumba ge gonna Mukama agakuuma,
    ne watabaawo na limu limenyeka.

21 (G)Ekibi kiritta abakola ebibi,
    n’abalabe b’abatuukirivu balibonerezebwa.
22 (H)Mukama anunula abaweereza be;
    so tewali n’omu ku abo abaddukira gy’ali alibonerezebwa.

Yoswa 22:10-20

10 Era bwe baatuuka mu kitundu ekiriraanye Yoludaani mu nsi ya Kanani, abaana ba Lewubeeni n’abaana ba Gaadi n’ekitundu eky’ekika kya Manase, ne bazimba awo ekyoto, ekinene ddala. 11 Wabula abantu ba Isirayiri bwe baawulira nti bazimbye ekyoto ku Yoludaani ku luuyi lwa Isirayiri, 12 (A)ekibiina kyonna ekya Isirayiri ne bakuŋŋaana e Siiro beetegekere olutalo babalumbe.

13 (B)Awo abaana ba Isirayiri ne batuma Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona eri Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase mu nsi ya Gireyaadi. 14 (C)Ne batumirako abakungu kkumi, omu omu omukulu w’ennyumba mu buli kika kya Isirayiri.

15 Bwe bajja eri Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekibiina kyonna ekya Manase mu nsi ya Gireyaadi ne babagamba nti, 16 (D)“Ekibiina kyonna ekya Mukama bwe kiti bwe kigamba, ‘Muyinza mutya okukyama bwe muti okuva ku Mukama Katonda wa Isirayiri? Muyinza mutya okuva ku Mukama ne mwezimbira ekyoto ne mumujeemera awo? 17 (E)Ekibi kya Peoli tekyatumala, ate nga n’okwerongoosa tubadde tetunnaba kwerongoosa kwemalako kibi ekyo, wadde kawumpuli yagwa ku kibiina kya Mukama Katonda, 18 (F)ate mmwe ne mulekeraawo okugoberera Mukama Katonda? Bwe munaajeemera Mukama leero, enkya ajja kunyiigira eggwanga lyonna erya Isirayiri. 19 Obanga ensi gye mututte sinnongoofu, mujje eno eri ensi ya Mukama, weema ya Mukama gy’eri, tugabane eno gye tuli; kye mutasaana kukola kwe kujeemera Mukama, oba okutufuula ffe abajeemu nga mwezimbira ekyoto ekitali kya Mukama Katonda waffe. 20 (G)Akani mutabani wa Zeera teyajeema bwe yatoola ku bintu Mukama bye yali yeerobozza, ekiruyi kya Mukama ne kijjira ekibiina kyonna ekya Isirayiri? Si ye yekka eyazikirira olw’ekibi kye.’ ”

Abaruumi 13:11-14

11 (A)Mumanye nga kino kye kiseera, era essaawa etuuse mugolokoke okuva mu tulo, kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga ne we twakkiririza. 12 (B)Ekiro kiyise, obudde bunaatera okukya, noolwekyo tweyambulemu ebikolwa eby’ekizikiza, twambale ebyokulwanyisa eby’omusana. 13 (C)Tutambulenga ng’ab’omu musana, so si mu binyumu ne mu kutamiira, ne mu bwenzi n’obukaba, ne mu kuyombagana n’obuggya, 14 (D)naye twambale Mukama waffe Yesu Kristo so tetuwanga mubiri bbanga kukola ng’okwegomba kwagwo bwe kuli.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.