Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 34:9-14

(A)Musseemu Mukama ekitiibwa mmwe abatukuvu be,
    kubanga abamutya tebaajulenga.
10 (B)Empologoma zirumwa enjala ne ziggwaamu amaanyi;
    naye abo abanoonya Mukama, ebirungi tebiibaggwengako.
11 (C)Mujje wano baana bange, mumpulirize;
    mbayigirize okutya Mukama.
12 (D)Oyagala okuwangaala mu bulamu obulungi,
    okuba mu ssanyu emyaka emingi?
13 (E)Olulimi lwo lukuumenga luleme okwogera ebitasaana,
    n’akamwa ko kaleme okwogera eby’obulimba.
14 (F)Lekeraawo okukola ebibi, okolenga ebirungi;
    noonya emirembe era ogigobererenga.

Yobu 13:1-19

13 “Laba, eriiso lyange lyalaba ebyo byonna,
    n’okutu kwange ne kuwulira ne mbitegeera.
(A)Kye mumanyi nange kye mmanyi;
    siri wa wansi ku mmwe.
(B)Naye neegomba okwogera n’oyo Ayinzabyonna,
    era n’okuleeta ensonga zange mu maaso ga Katonda.
(C)Naye mmwe mumpayiriza;
    muli basawo abatagasa mmwe mwenna!
(D)Kale singa musirika!
    Olwo lwe mwandibadde n’amagezi.
Muwulire kaakano endowooza yange,
    muwulirize okwegayirira kw’emimwa gyange.
(E)Katonda munaamwogerera nga mwogera ebitali bya butuukirivu?
    Munaamwogerera eby’obulimba?
(F)Munaamulaga ng’ataliiko luuyi,
    munaamuwoleza ensonga ze.
(G)Singa akukebera, anaakusanga oli bulungi?
    Oyinza okumulimba nga bw’oyinza okulimba abantu?
10 Tayinza butakunenya,
    singa osaliriza mu bubba.
11 (H)Ekitiibwa kye ekisukiridde tekyandikutiisizza?
    Entiisa ye teyandikuguddeko?
12 Ebigambo byammwe ebijjukirwa ngero za vvu,
    n’okwewolereza kwammwe kwa bbumba.
13 Musirike nze njogere;
    kyonna ekinantukako kale kintuukeko.
14 Lwaki neeteeka mu mitawaana,
    obulamu bwange ne mbutwalira mu mikono gyange?
15 (I)Ne bw’anzita, mu ye mwe nnina essuubi,
    ddala ddala nditwala ensonga zange mu maaso ge.
16 (J)Ddala kino kinaavaamu okusumululwa kwange,
    kubanga teri muntu atatya Katonda ayinza kwetantala kujja mu maaso ge!
17 (K)Muwulirize ebigambo byange n’obwegendereza;
    amatu gammwe gawulire bye ŋŋamba.
18 (L)Kaakano nga bwe ntegese empoza yange,
    mmanyi nti nzija kwejeerera.
19 (M)Waliwo ayinza okuleeta emisango gye nvunaanibwa?
    Bwe kiba bwe kityo, nzija kusirika nfe.

Yokaana 4:7-26

Awo omukazi Omusamaliya bwe yajja okukima amazzi, Yesu n’amugamba nti, “Mpa ku mazzi nnyweko.” (A)Mu kiseera ekyo abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugulayo ku mmere. (B)Awo omukazi Omusamaliya n’amugamba nti, “Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okusaba nze Omusamaliya amazzi okunywa?” Kubanga Abayudaaya nga tebakolagana na Basamaliya. 10 (C)Yesu n’amuddamu nti, “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda, n’oyo akugamba nti mpa nnywe ku mazzi bw’ali ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.”

11 Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, tolina kalobo, n’oluzzi luwanvu nnyo. 12 (D)Ate n’ekirala, ggwe oli mukulu okusinga jjajjaffe Yakobo eyatuwa oluzzi luno ate nga yanywangamu ye n’abaana be n’ensolo ze?”

13 Yesu n’amuddamu nti, “Buli muntu yenna anywa ku mazzi gano ennyonta eriddamu okumuluma. 14 (E)Naye buli anywa ku mazzi nze ge ndimuwa, talirumwa nnyonta emirembe gyonna era galifuuka mu ye ensulo etekalira, ne gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.”

15 (F)Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, mpa ku mazzi ago, ennyonta eremenga kunnuma era nneme kujjanga wano kukima mazzi.”

16 Yesu n’amugamba nti, “Genda oyite balo, okomewo.”

17 Omukazi n’amuddamu nti, “Sirina baze!”

Yesu n’amugamba nti, “Oyogedde kituufu nti tolina balo. 18 Kubanga walina babalo bataano, naye oyo gw’olina kaakano si balo. Ekyo oyogedde mazima.”

19 (G)Omukazi n’agamba Yesu nti, “Ssebo, ndaba ng’oli nnabbi. 20 (H)Ku lusozi luno bajjajjaffe kwe baasinzizanga. Naye mmwe mugamba nti, Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.”

21 (I)Yesu n’amugamba nti, “Mukazi wattu nzikiriza, kubanga ekiseera kijja kye mutalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno wadde mu Yerusaalemi. 22 (J)Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi kubanga obulokozi buva mu Buyudaaya. 23 (K)Naye ekiseera kijja, era kituuse, abo abasinziza mu mazima bwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo ne mu mazima. Kubanga Kitaffe anoonya abo abamusinza era n’abo abamusinza kibagwanira okumusinzanga mu mwoyo ne mu mazima. 24 (L)Kubanga Katonda Mwoyo n’abo abamusinza kibagwanira okumusinza mu mwoyo ne mu mazima.” 25 (M)Omukazi n’amugamba nti, “Weewaawo, mmanyi nti Masiya, gwe bayita Kristo, ajja. Ye bw’alijja, alitutegeeza ebintu byonna.” 26 (N)Yesu n’amugamba nti, “Nze nzuuno ayogera naawe.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.