Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 107:1-3

EKITABO V

Zabbuli 107–150

107 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

(B)Kale abanunule ba Mukama boogere bwe batyo;
    abo be yanunula mu mikono gy’abalabe;
(C)abo be yakuŋŋaanya mu mawanga; okuva Ebugwanjuba n’Ebuvanjuba,
    n’okuva obukiikakkono ne mu bukiikaddyo.

Zabbuli 107:23-32

23 Abalala baasaabalira mu maato ku nnyanja;
    baali basuubuzi b’oku gayanja aganene.
24 Baalaba Mukama bye yakola,
    ebikolwa bye eby’ekitalo mu buziba bw’ennyanja.
25 (A)Kubanga yalagira omuyaga
    ne gusitula amayengo waggulu.
26 (B)Ne gagulumira okutuuka ku ggulu, ate ne gakka wansi mu ddubi;
    akabenje ne kabayitirira, ne baggwaamu amaanyi.
27 Ne beesunda, eruuyi n’eruuyi ne baba ng’omutamiivu atagala;
    n’amagezi ne gabaggwaako.
28 Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu buzibu;
    n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
29 (C)Omuyaga yagusirisa,
    ennyanja n’etteeka.
30 Ne bajjula essanyu kubanga ennyanja yateeka;
    n’abakulembera n’abatuusa bulungi ku mwalo gwabwe.
31 Kale singa abantu beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!
32 (D)Bamugulumizenga ng’abantu bakuŋŋaanye,
    era bamutenderezenga mu lukiiko lw’abakulu.

Yobu 29:1-20

29 (A)Yobu n’ayongera okwogera nti,

(B)“Nga nneegomba emyezi egyayita,
    ennaku Katonda mwe yali nga y’andabirira,
(C)ettaala ye bwe yayakiranga omutwe gwange,
    n’ekitangaala kye bwe kyanjakiranga nga ntambulira mu kizikiza.
(D)Mu biro we nabeerera ow’amaanyi,
    omukwano gwa Katonda omuyitirivu nga gukuuma amaka gange,
Ayinzabyonna bwe yali ng’akyali nange
    n’abaana bange nga bakyanneetoolodde,
(E)n’ekkubo lyange nga lisiigiddwa omuzigo
    n’olwazi nga lunfukirira omugga ogw’amafuta.

(F)“Bwe nalaganga ku mulyango gw’ekibuga
    ne ntuula ku ntebe mu kifo we baakubiranga enkiiko,
abavubuka abato bandabanga ne badda ebbali,
    abakadde ne basituka ne bayimirira;
(G)abakungu ab’oku ntikko ne balekeraawo okwogera,
    ne bakwata ne ku mimwa;
10 (H)ab’ebitiibwa ne balekeraawo okwogera,
    ennimi zaabwe ne zeesibira waggulu mu kamwa.
11 Buli kutu okwampuliranga nga kwesiima,
    era n’abo abandabanga nga basiima
12 (I)kubanga nawonyanga abaavu abaakaabiranga obuyambi,
    n’abatalina bakitaabwe abatalina abayamba.
13 (J)Omusajja ng’afa, y’ansabira omukisa,
    ne ndeetera omutima gwa nnamwandu okuyimba.
14 (K)Ne nnyambala obutuukirivu ng’engoye zange,
    obwenkanya bwe bwali omunagiro gwange era ekitambala kye neesiba ku mutwe.
15 (L)Nnali maaso g’abamuzibe
    era ebigere by’abalema.
16 (M)Nnali kitaawe w’abanaku,
    ne nneyama okuwolereza besimanyiiko.
17 (N)Namenyanga amannyo g’abakozi b’ebibi,
    ne nziggya mu kamwa kaabwe, be baali bakutte.

18 (O)“Nalowooza nti, ‘Ndifiira mu nnyumba yange
    nga mpezezza ennaku zange nga nnyingi ng’omusenyu ogw’oku nnyanja.
19 (P)Omulandira gwange gulituuka mu mazzi,
    era n’omusulo gulibeera ku ttabi lyange okukeesa obudde.
20 (Q)Ekitiibwa kyange tekirikaddiwa mu nze,
    n’omutego gwange ogw’akasaale gusigale nga tegukaddiye mu mukono gwange.’ 

Ebikolwa by’Abatume 20:1-16

Okuyita mu Makedoniya ne mu Buyonaani

20 (A)Awo akasasamalo bwe kakkakkana, Pawulo n’atumya abayigirizwa, ne bakuŋŋaana, n’ababuulira ekigambo kya Katonda ng’abasiibula n’okubagumya, n’alyoka asitula n’alaga mu Makedoniya. N’agenda ng’ayitaayita mu bitundu ebyo ng’ayogera n’abantu ebigambo bingi eby’okubagumya n’okubanyiikiza mu kukkiriza kwabwe. Oluvannyuma n’atuuka mu Buyonaani, (B)n’amalamu emyezi esatu. Bwe yali ateekateeka okusaabala ku nnyanja okulaga mu Siriya, n’avumbula olukwe Abayudaaya lwe baali basaze okumutta, kyeyava asalawo okuddayo mu Makedoniya gy’aba ayita. (C)Abaamuwerekerako mu lugendo olwo okutuuka mu Asiya, be bano: Sopateri Omuberoya mutabani wa Puulo, ne Alisutaluuko ne Sekundo Abasessaloniika, ne Gaayo Omuderube, ne Timoseewo, n’Abasiya, Tukiko ne Tulofiimo. (D)Oluvannyuma bano bonna ne batukulembera ne batulinda e Tulowa. (E)Ne tusaabala ku nnyanja okuva e Firipi nga tumaze embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa, ne tumala ku nnyanja ennaku ttaano, bannaffe ne tubatuukako mu Tulowa ne tumalawo ennaku musanvu.

Pawulo Azuukiza Yutuko mu Tulowa

(F)Awo olumu ku nnaku za ssabbiiti, bwe twali tukuŋŋaanye okumenya omugaati, Pawulo n’abaako bye yali abayigiriza. Naye olwokubanga enkeera yali asitula, n’ayogerera ebbanga ddene nnyo, n’atuusa mu ttumbi ng’akyayogera! (G)Mu kisenge ekya waggulu mwe twali tukuŋŋaanidde mwalimu ettaala nnyingi nga zaaka. Waaliwo omuvubuka erinnya lye Yutuko, eyali atudde mu ddirisa, otulo ne tumukwata. Pawulo bwe yalwawo ng’akyayogera, omuvubuka ne yeebakira ddala, okutuusa lwe yasimattuka mu ddirisa ku mwaliiro ogwokusatu n’agwa ebweru n’afiirawo. 10 (H)Pawulo n’akka wansi n’amusitula n’amuwambaatira mu mikono gye. N’agamba nti, “Temweraliikirira, mulamu!” 11 (I)Awo bonna ne baddayo waggulu ne bamenya omugaati ne balya. Pawulo ne yeyongera okwogera okutuusiza ddala obudde okukya, n’alyoka asitula n’agenda. 12 Ne baddamu amaanyi, n’omuvubuka ne bamutwala eka nga mulamu.

13 Awo Pawulo ne tumukulembera ne tusaabala ku nnyanja okulaga mu Aso, Pawulo nga bwe yali ateeseteese, kubanga ye yali ateeseteese kuyita ku lukalu. 14 Bwe yatusisinkana mu Aso, ne tutuuka e Mituleene. 15 (J)Bwe twava eyo ne tuwunguka olunaku olwaddirira ne tutuuka mu kifo ekyolekedde Kiyo. Ne ku lunaku olwaddirira ne tusala ne tudda e Samo, ne ku lunaku olwaddirira ne tutuuka e Mireeto. 16 (K)Pawulo yali asazeewo obutayimirira mu Efeso nga yeewala okumala ekiseera ekinene mu Asiya, kubanga yali yeeyuna nti ssinga asobola, atuuke mu Yerusaalemi ng’olunaku lwa Pentekoote terunnatuuka.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.