Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 52

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Dowegi Omwedomu bwe yagenda n’abuulira Sawulo nti, “Dawudi alaze mu nnyumba ya Akimereki.”

52 (A)Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja ow’amaanyi?
    Endagaano ya Katonda ey’obwesigwa ebeerera emirembe n’emirembe.
(B)Oteekateeka enkwe ez’okuzikiriza.
    Olulimi lwo lwogi nga kkirita
    era buli kiseera lwogera bya bulimba.
(C)Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi,
    n’okulimba okusinga okwogera amazima.
(D)Osanyukira nnyo okwogera ebirumya.
    Ggwe olulimi kalimbira!

(E)Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna;
    alikusikula, akuggye mu maka go;
    alikugoba mu nsi y’abalamu.
(F)Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde.
    Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti,
(G)“Mumulabe omusajja
    ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye,
naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi,
    ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”

(H)Naye nze nfaanana ng’omuti omuzeyituuni
    ogukulira mu nnyumba ya Katonda.
Neesiga okwagala kwa Katonda okutaggwaawo
    emirembe n’emirembe.
(I)Nnaakwebazanga emirembe gyonna olw’ekyo ky’okoze.
    Nneesiganga erinnya lyo kubanga erinnya lyo ddungi;
    era nnaakutendererezanga awali abatuukirivu bo.

Ezeekyeri 31:1-12

Olugero olw’Omuvule gwa Lebanooni

31 (A)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogwokusatu ku lunaku olw’olubereberye, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tegeeza Falaawo, ye kabaka w’e Misiri n’olufulube lw’abantu be nti,

“ ‘Ani ayinza okwegeraageranya naawe mu kitiibwa?
(B)Tunuulira Obwasuli, ogwali omuvule mu Lebanooni,
    nga gulina amatabi amalungi agaasiikirizanga ekibira;
ogwali omuwanvu ennyo,
    nga guyitamu ne mu kasolya ak’ekibira.
Amazzi gaaguliisanga,
    n’enzizi ezikka wansi ennyo ne ziguwanvuya,
n’emigga gyagyo
    ne gigwetooloola wonna,
ne giweerezanga n’amatabi gaagyo
    eri emiti gyonna egy’omu ttale.
(C)Kyegwava gukula ne guwanvuwa
    okusinga emiti gyonna egy’omu kibira,
n’amatabi gaagwo amanene
    ne geeyongera obunene,
n’amatabi gaagwo amatono ne gawanvuwa
    ne gasaasaana olw’obungi bw’amazzi.
(D)Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga
    ne bizimba ebisu byazo mu matabi gaagwo amanene,
n’ensolo enkambwe ez’oku ttale
    ne zizaaliranga wansi w’amatabi gaagwo,
n’amawanga gonna amakulu
    ne gabeeranga wansi w’ekisiikirize kyagwo.
Gwali gwa kitalo mu bulungi bwagwo,
    n’amatabi gaagwo amanene,
kubanga emirandira gyagwo
    gyasima awali amazzi amangi.
(E)Emivule egyali mu nnimiro ya Katonda
    tegyayinza kuguvuganya,
newaakubadde emiberoosi okwenkana
    n’amatabi gaagwo amanene;
n’emyalamooni nga tegifaanana
    matabi gaagwo amatono,
so nga tewali muti mu nnimiro ya Katonda
    ogugwenkana mu bulungi.
(F)Nagulungiya n’amatabi amangi,
    emiti gyonna egy’omu Adeni
egyali mu nnimiro ya Katonda
    ne gigukwatirwa obuggya.

10 (G)“ ‘Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti; Kubanga gwegulumiza, ne gwewanika waggulu okuyita mu kasolya ak’ekibira, ate ne guba n’amalala olw’obuwanvu bwagwo, 11 (H)kyendiva nguwaayo mu mukono gw’omufuzi ow’amawanga agukole ng’obutali butuukirivu bwagwo bwe buli, era ngugobye. 12 (I)Era bannaggwanga abasingirayo ddala obukambwe baagutema ne bagusuula. Amatabi gaagwo amanene gaagwa ku nsozi ne mu biwonvu byonna, n’amatabi gaagwo amatono ne gagwa nga gamenyese mu biwonvu byonna eby’ensi. N’amawanga gonna ag’oku nsi gaava wansi w’ekisiikirize kyagwo, ne gagulekawo.

Abaggalatiya 6:11-18

Si kukomola wabula abantu abaggya

11 (A)Mulabe, bwe nnabawandiikira n’omukono gwange mu nnukuta ennene! 12 (B)Abo abanoonya okweraga mu mubiri be babawaliriza okukomolebwa mu mubiri, balemenga okuyigganyizibwanga olw’omusaalaba gwa Kristo, balyoke beenyumirize olw’omubiri gwammwe. 13 (C)Kubanga n’abo bennyini abakomolebwa tebakwata mateeka, naye baagala mukomolebwe balyoke beenyumirize olw’omubiri gwammwe. 14 Naye nze sigenda kwenyumiririza mu kintu kyonna okuggyako omusaalaba gwa Mukama waffe Yesu Kristo, kubanga olw’omusaalaba ogwo, nkomereddwa eri ensi, n’ensi ekomereddwa eri nze. 15 (D)Kubanga okukomolebwa oba obutakomolebwa si kintu, wabula ekikulu kye kitonde ekiggya. 16 N’abo bonna abanaatambuliranga mu tteeka eryo, emirembe gibeerenga ku bo, n’okusaasirwa, ne ku Isirayiri ya Katonda.

17 (E)Okuva kaakano tewabanga muntu n’omu anteganya, kubanga nnina enkovu za Yesu ku mubiri gwange.

18 (F)Abooluganda, ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe n’omwoyo gwammwe. Amiina.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.