Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Dowegi Omwedomu bwe yagenda n’abuulira Sawulo nti, “Dawudi alaze mu nnyumba ya Akimereki.”
52 (A)Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja ow’amaanyi?
Endagaano ya Katonda ey’obwesigwa ebeerera emirembe n’emirembe.
2 (B)Oteekateeka enkwe ez’okuzikiriza.
Olulimi lwo lwogi nga kkirita
era buli kiseera lwogera bya bulimba.
3 (C)Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi,
n’okulimba okusinga okwogera amazima.
4 (D)Osanyukira nnyo okwogera ebirumya.
Ggwe olulimi kalimbira!
5 (E)Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna;
alikusikula, akuggye mu maka go;
alikugoba mu nsi y’abalamu.
6 (F)Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde.
Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti,
7 (G)“Mumulabe omusajja
ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye,
naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi,
ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”
Omusango eri Bakabaka Ababi
22 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Serengeta ogende mu lubiri lwa kabaka wa Yuda 2 (A)olangirire obubaka buno nti, Wulira ekigambo kya Katonda ggwe kabaka wa Yuda, ggw’atuula ku ntebe ya Dawudi, mmwe abakungu n’abantu bammwe abayita mu miryango gino. 3 (B)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Musale emisango egy’ensonga, mukole ebituufu. Anyagiddwako ebibye mumuggye mu mukono gw’oyo amujooga. Temukola kibi oba eby’obukambwe eri omugwira, newaakubadde atalina kitaawe, newaakubadde nnamwandu so temuyiwa musaayi gw’abantu abataliiko musango mu kifo kino. 4 (C)Kubanga bwe muneegendereza ne mukuuma ebiragiro bino, olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi baliyita mu miryango gy’olubiri luno nga batudde mu magaali gaabwe n’abo abeebagadde embalaasi nga bawerekerwako n’abakungu baabwe, n’abantu baabwe. 5 (D)‘Naye bwe mutaagondere biragiro bino, nneelayirira ku lwange nti olubiri luno lulifuuka matongo,’ bw’ayogera Mukama.”
6 (E)Kubanga kino Mukama ky’agamba ku lubiri lwa kabaka wa Yuda nti,
“Newaakubadde ng’oli nga Gireyaadi gye ndi,
ng’entikko y’olusozi Lebanooni,
ddala ddala nzija kukufuula ddungu,
ng’ebibuga ebitaliimu bantu.
7 (F)Ndikusindikira abakuzikiriza,
buli musajja n’ebyokulwanyisa bye,
era balitema emivule gyo egisinga obulungi
ne bagisuula mu muliro.
8 (G)“Abantu abava mu mawanga amangi baliyita ku kibuga kino nga beebuuzaganya bokka ne bokka nti, ‘Lwaki Mukama yakola ekintu ekifaanana bwe kiti ku kibuga kino ekikulu bwe kiti?’ 9 (H)Era eky’okuddamu kibeere nti, ‘Kubanga beerabira endagaano ya Mukama Katonda waabwe ne basinza era ne baweereza bakatonda abalala.’ ”
43 “Omuti omulungi tegubala bibala bibi, so n’omuti omubi tegubala bibala birungi. 44 (A)Buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Abantu tebanoga ttiini ku busaana so tebanoga mizabbibu ku mweramannyo. 45 (B)Omuntu omulungi afulumya ebirungi okuva mu mutima gwe omulungi, n’omuntu omubi afulumya ebibi okuva mu mutima gwe omubi. Kubanga akamwa koogera ku biba bijjudde mu mutima.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.