Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 93

93 (A)Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa.
    Mukama ayambadde ekitiibwa
    era yeesibye amaanyi.
Ensi yanywezebwa;
    teyinza kunyeenyezebwa.
(B)Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda.
    Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe.

(C)Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama;
    ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo,
    n’amazzi g’ennyanja gayira.
(D)Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
    oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi;
    oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja.

(E)Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu,
    n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo,
    ennaku zonna.

Ezeekyeri 28:1-10

Obunnabbi ku Kabaka w’e Ttuulo

28 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, (A)“Omwana w’omuntu, gamba omufuzi w’e Ttuulo nti,

“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
    Kubanga olina amalala mu mutima gwo kyova oyogera nti,
‘Ndi katonda,
    era ntuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Katonda wakati mu nnyanja,’
songa oli muntu buntu, so si katonda,
    newaakubadde ng’olowooza nga oli mugezi nga katonda.
(B)Oli mugezi okusinga Danyeri?
    Tewali kyama kikukwekeddwa?
(C)Mu magezi go ne mu kutegeera kwo
    weefunidde eby’obugagga,
n’okuŋŋaanya ezaabu n’effeeza
    n’obitereka mu mawanika go.
(D)Olw’obukujjukujju bwo mu by’obusuubuzi
    oyongedde okugaggawala,
era n’omutima gwo
    gwenyumiririza mu byobugagga bwo.”

Mukama Katonda kyava ayogera nti,

“Kubanga olowooza ng’oli mugezi,
    ng’oli mugezi nga katonda,
(E)kyendiva nkuleetera bannaggwanga ne bakulumba,
    ab’omu mawanga agasinga obukambwe,
ne basowola ebitala byabwe eri obulungi n’amagezi go,
    ne boonoona okumasamasa kwo.
(F)Balikusuula mu bunnya
    n’ofiira eyo okufa okubi
    wakati mu gayanja.
Olyogera nate nti, ‘Ndi katonda,’
    mu maaso gaabo abakutta?
Oliba muntu buntu so si katonda
    mu mikono gy’abo abakutta.
10 (G)Olifa okufa okw’abatali bakomole, mu mikono gya bannaggwanga,
    nze nkyogedde, bw’ayogera Mukama Katonda.”

Ebikolwa by’Abatume 7:54-8:1

Suteefano Akubwa Amayinja

54 (A)Awo abakulembeze b’Abayudaaya bwe baawulira ebigambo ebyo byonna Suteefano bye yayogera, ne bajjula obusungu bungi ne bamulumira obujiji. 55 (B)Naye Suteefano ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, n’atunuulira eggulu enkaliriza, n’alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ng’ayimiridde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo. 56 (C)N’abagamba nti, “Laba, ndaba eggulu nga libikkuse, nga n’Omwana w’Omuntu ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.”

57 Ne baleekaanira waggulu nga bazibikidde amatu gaabwe ne bamweyiwako. 58 (D)Ne bamusindiikiriza ebweru w’ekibuga, ne bamukuba amayinja. Abaamukuba ne bassa eminagiro gyabwe ku bigere by’omuvubuka erinnya lye Sawulo.

59 (E)Awo bwe baali bakuba Suteefano amayinja, n’akoowoola Katonda ng’agamba nti, “Mukama wange Yesu, twala omwoyo gwange.” 60 (F)N’agwa wansi ku maviivi n’akaaba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mukama wange, tobavunaana olw’ekibi kino.” Bwe yamala okwogera ekyo, n’afa.

Ekkanisa Eyigganyizibwa

(G)Sawulo yali omu ku abo abaawagira okuttibwa kwa Suteefano. Era ku lunaku olwo okuyigganya Ekkanisa ne kutandika n’amaanyi mangi nnyo mu Yerusaalemi.

Abakkiriza bonna, okuggyako abatume, ne basaasaanira mu Buyudaaya ne mu Samaliya.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.