Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
13 (A)Olinneerabira kutuusa ddi, Ayi Mukama? Okutuusa emirembe gyonna?
Olikomya ddi okunkweka amaaso go?
2 (B)Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi,
n’okunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi?
Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza?
Amakulu g’Okwolesebwa
15 (A)Awo nze Danyeri bwe namala okufuna okwolesebwa okwo nga nkyagezaako okutegeera amakulu gaakwo, laba ne wayimirira mu maaso gange ekifaananyi ng’eky’omusajja. 16 (B)Ne mpulira eddoboozi ly’omusajja emitala w’omugga Ulaayi, eryakoowoola, ne lyogera nti, “Gabulyeri, tegeeza omusajja oyo amakulu g’okwolesebwa okwo.”
17 (C)Awo n’asembera okumpi ne we nnali nnyimiridde, ne ntya, ne neeyala wansi. Naye n’aŋŋamba nti, “Tegeera, ggwe omwana w’omuntu, ng’okwolesebwa, kwogera ku biro eby’enkomerero.”
18 (D)Awo bwe yali akyayogera nange, ne nkwatibwa otulo otungi ennyo, ng’amaaso gange nga ngavuunise ku ttaka, ye n’ankwatako n’angolokosa.
19 (E)N’ayogera nti, “Laba, ndikumanyisa ebiribaawo mu biro eby’enkomerero eby’okubonaabona, kubanga okwolesebwa kwogera ku kiseera ekyalondebwa eky’enkomerero. 20 Endiga ennume gye walaba ey’amayembe abiri, be bakabaka ab’Obumeedi, n’Obuperusi. 21 (F)N’embuzi ennume endaawo ye kabaka w’e Buyonaani, n’ejjembe eddene eriri mu kyenyi kyayo ye kabaka ow’olubereberye. 22 N’amayembe ana agadda mu kifo kyalyo nga limenyese, bwe bwakabaka obuna obuliva mu ggwanga lye, naye tebuliba na buyinza bwe bumu ng’obubwe.
23 “Mu biro eby’enkomerero eby’okufuga kwabwe, abajeemu nga batandise okusobya ennyo, kabaka omuzira ate omukambwe, ng’alina obukoddyo bungi alivaayo. 24 (G)Aliba n’amaanyi mangi, naye si lwa buyinza bwe ye, era alireeta entiisa nnene, era aliba wa mukisa mu buli ky’akola. Alizikiriza abantu ab’amaanyi n’abantu abatukuvu. 25 (H)Aliba mulimba nnyo, n’aleetera obulimba okweyongera, era alyegulumiza nnyo. Aligwikiriza abantu bangi n’abazikiriza, era n’alumba n’Omukulu w’abalangira. Wabula naye alizikirizibwa so si n’amaanyi ag’obuntu.
26 (I)“Okwolesebwa okukwata ku biro eby’oku makya ne ku by’akawungeezi, kwe wafuna kwa mazima, naye sirikira okwolesebwa okwo, kubanga kwogera ku biro ebigenda okujja.”
27 (J)Nze Danyeri ne mpulira nga nkooye nnyo era ne ndwala okumala ennaku. N’oluvannyuma nga nzisuuse ne nzira ku mirimu gya kabaka, kyokka okwolesebwa okwo ne kuntawanya nnyo mu mutima, ate nga sitegeera makulu gaakwo.
32 (A)Mujjukire ennaku ez’edda bwe mwategeera Kristo, ne mugumiikiriza okubonyaabonyezebwa okw’amaanyi. 33 (B)Oluusi mwavumibwanga era ne muyigganyizibwa mu lwatu, ate olulala ne mussa kimu n’abo abaabonaabona nga mmwe. 34 Mwalumirwa wamu n’abasibe, era mwagumiikiriza n’essanyu bwe mwanyagibwako ebyammwe kubanga mwamanya nti mulina ebisinga obulungi era eby’olubeerera ebibalindiridde.
35 Kale munywererenga ku buvumu bwammwe bwe mulina, obuliko empeera ennene. 36 (C)Kubanga kibasaanira okugumiikiriza nga mukola Katonda by’ayagala mulyoke mufune ebyo bye yasuubiza.
37 (D)Wasigadde akaseera katono nnyo,
oyo ow’okujja ajje era talirwa.
38 (E)Omutuukirivu wange, anaabanga mulamu lwa kukkiriza,
kyokka bw’adda emabega simusanyukira.
39 Naye ffe tetuli ba kudda mabega mu kuzikirira, wabula tulina okukkiriza okunywevu okutuleetera okulokoka.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.