Revised Common Lectionary (Complementary)
א Alefu
119 (A)Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu;
abatambulira mu mateeka ga Mukama.
2 (B)Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye,
era abanoonya Mukama n’omutima gwabwe gwonna.
3 (C)Abo abatasobya, era abatambulira mu makubo ge.
4 Ggwe wateekawo ebiragiro byo;
n’olagira bigonderwenga n’obwegendereza bungi.
5 Ayi Mukama, nsaba mbeerenga munywevu bulijjo;
nga nkuuma bye walagira.
6 Bwe ntyo siriswazibwa, amaaso gange nga
ngasimbye ku ebyo bye walagira byonna.
7 Nga njiga ebiragiro byo ebitukuvu,
nnaakutenderezanga n’omutima omulungi.
8 Nnaakwatanga amateeka go;
Ayi Mukama, tonsuulira ddala.
32 (A)“Ositukiranga ow’envi, n’omukadde omussangamu ekitiibwa, era ne Katonda wo omutyanga. Nze Mukama.
33 “Omugwira bw’abeeranga omutuuze mu nsi yammwe, temumuyisanga bubi. 34 (B)Omugwira atuula mu mmwe mumuyisenga ng’omuzaaliranwa ow’omu nsi yammwe. Mumwagalenga nga bwe mweyagala, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi y’e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.
35 “Temubangamu kyekubiira nga mupima obuwanvu, oba obuzito, oba obungi bw’ebintu. 36 (C)Mubanga ne minzaani entuufu, n’amayinja agapima obuzito amatuufu, n’ekipima ebikalu (efa) ekituufu, n’ekipima ebiyiikayiika ng’amazzi (ini) ekituufu. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri.
37 “Munaakwatanga amateeka gange gonna, n’ebiragiro byange byonna, okubitambulirangako. Nze Mukama.”
Obutuukirivu buva mu Kukkiriza
21 (A)Kale kaakano tutegeere ng’obutuukirivu bwa Katonda tebutuweebwa lwa kugondera Mateeka. Ekyo kikakasibwa Amateeka ne bannabbi. 22 (B)Obutuukirivu bwa Katonda butuweebwa olw’okukkiriza Yesu Kristo. Katonda tasosola. 23 Ffenna twayonoona era tetusaanira kitiibwa kya Katonda. 24 (C)Kyokka twaweebwa obutuukirivu bwa buwa olw’ekisa kye ekiri mu kununulibwa okuli mu Yesu Kristo; 25 (D)Katonda yaweereza Kristo okuba omutango, bwe tukkiriza Kristo olw’omusaayi gwe yayiwa. Alaga obutuukirivu bwe mu kugumiikiriza ebibi ebyakolebwa edda, be bantu abaayonoona mu biseera biri eby’edda. 26 Kino kiraga Katonda bw’alaga okwaniriza kw’alina eri abantu mu biro bino, bwe baba n’okukkiriza mu Yesu.
27 (E)Kale lwaki twenyumiriza? Tewali nsonga etwenyumirizisa. Lwa kuba nga twagoberera amateeka? Nedda, lwa kukkiriza. 28 (F)Noolwekyo omuntu aweebwa obutuukirivu lwa kukkiriza so si lwa kugoberera mateeka. 29 (G)Oba Katonda wa Bayudaaya bokka? Si ye Katonda w’amawanga amalala gonna? Weewaawo nabo Katonda waabwe. 30 (H)Kubanga ye Katonda omu awa obutuukirivu abaakomolebwa, n’abo abataakomolebwa olw’okukkiriza kwabwe. 31 Kale amateeka tugaggyewo olw’okukkiriza? Kikafuuwe. Tunyweza manyweze.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.