Revised Common Lectionary (Complementary)
Oluyimba nga balinnya amadaala.
12 (A)Awo Yeremiya n’agamba abakungu bonna n’abantu bonna nti, “Mukama yantuma njogere ebyobunnabbi bwe bityo ku nnyumba eno n’ekibuga kino ebintu byonna bye muwulidde. 13 (B)Kaakano mukyuse amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe mugondere Mukama Katonda wammwe. Olwo Mukama anaakyusa n’ataleeta bikangabwa by’aboogeddeko. 14 (C)Nze, ndi mu mikono gyammwe; munkole kyonna kye mulowooza nga kye kirungi era kye kituufu. 15 Mumanyire ddala nno nti bwe munzita, mujja kwereetako omusango gw’okuyiwa omusaayi ogutalina musango, mmwe n’ekibuga kino n’abo abakibeeramu, kubanga eky’amazima Mukama ye yantumye okwogera gye muli ebigambo bino byonna mubiwulire.”
16 (D)Awo abakungu n’abantu bonna ne bagamba bakabona ne bannabbi nti, “Omusajja ono tasaana kusalirwa musango gwa kufa! Ayogedde naffe mu linnya lya Mukama Katonda waffe.”
17 Abamu ku bakadde ne bavaayo ne bajja mu maaso ne boogera eri ekibiina kyonna eky’abantu nti, 18 (E)“Mikka ow’e Moreseesi yawa obunnabbi mu nnaku za Keezeekiya kabaka wa Yuda. Yagamba abantu bonna aba Yuda nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“ ‘Sayuuni ajja kulimibwa ng’ennimiro,
Yerusaalemi ajja kufuuka ntuumu ya mafunfugu,
olusozi lwa yeekaalu, lufuuke akasozi akamezeeko ebisaka.’
19 (F)Keezeekiya oba omuntu omulala yenna mu Yuda, yamutta? Keezeekiya teyatya Mukama n’anoonya ekisa kye? Era Mukama teyakyusa n’ataleeta kuzikirira kwe yali agambye okubaleetako? Naye tunaatera okwereetera obulabe obw’amaanyi!”
20 (G)Waaliwo omusajja omulala Uliya omwana wa Semaaya ow’e Kiriyasuyalimu, eyawa obunnabbi mu linnya lya Mukama. Yawa obunnabbi bwe bumu ng’obwa Yeremiya obugugumbula ekibuga kino era n’ensi eno. 21 (H)Wabula kabaka Yekoyakimu n’abakungu be bonna n’abasajja be n’ab’obuyinza, bwe baawulira ebigambo bye, kabaka n’amunoonya okumutta, naye Uliya bwe yakiwulira n’atya n’addukira e Misiri. 22 (I)Awo kabaka Yekoyakimu n’atuma Erunasani mutabani wa Akubooli n’abasajja abawerako, 23 ne baggya Uliya e Misiri ne bamutwala eri kabaka Yekoyakimu, eyalagira attibwe n’ekitala omulambo gwe ne gusuulibwa mu kifo ekiziikibwamu ekya lukale.
24 (J)Akikamu mutabani wa Safani n’awolereza Yeremiya n’amuwagira n’ataweebwayo eri bantu kuttibwa.
11 (A)Kale singa okutuukirira kwaliwo lwa bwakabona obw’Ekileevi, kubanga abantu baaweebwa amateeka nga gasinzira ku bwo, kiki ekyetaaza kabona omulala okuva mu lubu lwa Merukizeddeeki, mu kifo ky’okuva mu lubu lwa Alooni? 12 Kubanga bwe wabaawo okukyusibwa mu bwakababona, era kiba kyetaagisa n’okukyusa mu mateeka. 13 (B)Oyo ayogerwako ebigambo ebyo wa kika kirala omutaavanga muntu eyali aweerezaako ku Kyoto. 14 (C)Kubanga kimanyiddwa nga Mukama waffe yava mu Yuda ekika Musa ky’ataayogerako bigambo bya bwakabona. 15 Era kitegeerekeka nga wazeewo Kabona omulala mu kifaananyi kya Merukizeddeeki, 16 atassibwawo ng’amateeka ag’ebiragiro eby’omubiri bwe gali, wabula ng’amaanyi bwe gali ag’obulamu obutaggwaawo. 17 (D)Kubanga Kristo ayogerwako nti,
“Oli kabona okutuusa emirembe gyonna
ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.”
18 (E)Ekiragiro ekyasooka kijjululwa olw’obunafu n’olw’obutagasa bwakyo, 19 (F)kubanga amateeka tegaliiko kye gatuukiriza, wabula essubi erisinga obulungi, mwe tuyita okusemberera Katonda.
20 Era kino tekyakolebwa watali kirayiro. Waliwo abaafuulibwa bakabona awatali kirayiro, 21 (G)naye ye yafuulibwa kabona mu kirayiro, ng’ayita mu oyo amwogerako nti,
“Mukama yalayira
era tagenda kwejjusa:
‘Oli kabona emirembe gyonna.’ ”
22 (H)Yesu kyeyava afuuka omuyima w’endagaano esinga obulungi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.