Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
8 (A)Ayi Mukama, Mukama waffe,
erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!
Ekitiibwa kyo kitenderezebwa
okutuuka waggulu mu ggulu.
2 (B)Abaana abato n’abawere
wabawa amaanyi okukutendereza;
ne basirisa omulabe wo
n’oyo ayagala okwesasuza.
3 (C)Bwe ntunuulira eggulu lyo,
omulimu gw’engalo zo,
omwezi n’emmunyeenye
bye watonda;
4 (D)omuntu kye ki ggwe okumujjukira,
omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo?
5 (E)Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda;
n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa.
6 (F)Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo:
byonna wabissa wansi w’ebigere bye,
7 ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko,
8 n’ennyonyi ez’omu bbanga,
n’ebyennyanja eby’omu nnyanja;
era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.
9 (G)Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi
era kkulu nnyo mu nsi yonna!
Abimereki Atwala Mukazi wa Ibulayimu
20 (A)Ibulayimu bwe yava eyo n’atambula okwolekera Negevu, n’abeera wakati wa Kadesi ne Ssuuli; n’agenda mu Gerali. 2 (B)Ibulayimu n’ayogera ku Saala mukazi we nti, “Mwannyinaze.” Abimereki kabaka we Gerali n’atumya n’atwala Saala.
3 (C)Naye Katonda n’ajja eri Abimereki mu kirooto ekiro n’amugamba nti, “Laba oli mufu, olw’omukazi gw’otutte kubanga muka musajja.” 4 (D)Naye Abimereki yali tanneebaka naye, n’alyoka agamba nti, “Onotta abantu abataliiko musango. 5 Si yeyaŋŋamba nti, ‘Mwannyinaze?’ Era ne Saala n’aŋŋamba nti, ‘Mwannyina.’ Kino nkikoze mu mutima omutuukirivu n’emikono gyange tegiriiko musango.”
6 (E)Awo Katonda n’ayogera naye mu kirooto nti, “Ddala mmanyi nti okoze kino mu mutima omutuukirivu, era nze nakukuuma oleme okwonoona gye ndi; ne nkuziyiza okumukwatako. 7 (F)Kale kaakano zzaayo mukazi w’omusajja, kubanga nnabbi, era anaakusabira, nawe on’oba mulamu. Naye bw’otomuzzeeyo, manya ng’ojja kufa, ggwe ne by’olina byonna.”
Okwegayirira kw’Abimereki eri Ibulayimu
8 Awo Abimereki n’agolokoka mu makya ennyo n’ayita abakungu be bonna n’abategeeza ebintu bino byonna; abasajja ne batya nnyo. 9 (G)Awo Abimereki n’ayita Ibulayimu n’amugamba nti, “Otukoze ki? Era nsobi ki gye nkukoze, n’ondeetera nze n’obwakabaka bwange ekibi ekinene ekyenkana awo? By’onkoze tebisaana kukolebwa muntu.” 10 Era Abimereki n’agamba Ibulayimu nti, “Wali olowooza ki okukola ekintu kino?” 11 (H)Ibulayimu n’addamu nti, “Nakikola kubanga nalowooza nti mu kifo kino temuliimu kutya Katonda n’akamu, era balinzita olwa mukazi wange. 12 Naze ebyo nga biri awo ddala mwannyinaze, muwala wa kitange, naye si muwala wa mmange; era yafuuka mukazi wange. 13 Katonda bwe yandeeta okuva mu nnyumba ya kitange, ne mugamba nti, ‘Eky’ekisa ky’oyinza okunkolera kye kino, buli kifo kye tutuukamu njogeraako nti ndi mwannyoko.’ ”
14 (I)Awo Abimereki n’atwala endiga n’ente, abaweereza abasajja n’abaweereza abakazi, n’abiwa Ibulayimu, n’amuddiza Saala mukyala we. 15 (J)Era Abimereki n’amugamba nti, “Laba ensi yange eri mu maaso go, beera w’oyagala.”
16 N’agamba ne Saala nti, “Laba mpadde mwannyoko ebitundu bya ffeeza lukumi, okukumalako ensonyi mu maaso gaabo bonna abali naawe.”
17 (K)Awo Ibulayimu n’asabira Abimereki eri Katonda, ne Katonda n’awonya Abimereki era n’awonya ne mukazi we; n’abaweereza be abakazi ne balyoka bazaala abaana. 18 (L)Kubanga Mukama yali aggalidde embuto z’ab’omu nnyumba y’Abimereki olwa Saala mukazi wa Ibulayimu.
23 (A)Naye okukkiriza nga tekunnajja, twafugibwanga mateeka, nga tusibibwa olw’okukkiriza okugenda okubikkulwa; 24 (B)ge gaali gatukuuma, amateeka galyoke gatutuuse eri Kristo, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw’okumukkiriza. 25 Naye okukkiriza bwe kwajja, ng’olwo tetukyetaaga mateeka kutukuuma.
Baana ba Katonda
26 (C)Kubanga kaakano mwenna muli baana ba Katonda olw’okukkiriza Yesu Kristo, 27 (D)kubanga abaabatizibwa bonna mu Kristo, baayambala Kristo. 28 (E)Tewakyali kusosola wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, wakati wa muddu na wa ddembe, wakati wa musajja na mukazi, kubanga mwenna muli omu mu Kristo Yesu. 29 Kale kaakano nga bwe muli aba Kristo, muli zadde lya Ibulayimu, ng’ekisuubizo ky’abasika bwe kiri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.