Revised Common Lectionary (Complementary)
Alina omukisa omuntu atya Katonda,
era asanyukira ennyo mu mateeka ge.
2 Abaana be baliba ba kitiibwa mu nsi;
omulembe gw’abalongoofu guliweebwa omukisa.
3 Ennyumba ye enejjulanga ebintu n’obugagga obungi;
era anaabanga mutuukirivu ennaku zonna.
4 (B)Ne mu kizikiza, ekitangaala kyakira omulongoofu,
alina ekisa, n’oyo alina okusaasira, era omutuukirivu.
5 (C)Omuntu oyo agabira abeetaaga, era tawolera magoba,
era akola emirimu gye gyonna n’obwenkanya, alifuna ebirungi.
6 (D)Omutuukirivu talinyeenyezebwa,
era anajjukirwanga ennaku zonna.
7 (E)Amawulire amabi tegaamutiisenga,
kubanga omutima gwe munywevu gwesiga Mukama.
8 (F)Omutima gwe guteredde, tewali ky’anaatyanga,
era oluvannyuma alitunuulira abalabe be n’amaaso ag’obuwanguzi.
9 (G)Agabidde abaavu bye beetaaga;
mutuukirivu ebbanga lyonna;
era bonna banaamussangamu ekitiibwa.
10 (H)Omubi anaabirabanga ebyo, n’asunguwala,
n’aluma abugigi, naye nga talina kya kukola.
Okwegomba kw’ababi tekuubengako kye kubagasa.
Isirayiri, Atali Mwesigwa
6 (A)Mu nnaku z’obufuzi bwa kabaka Yosiya Mukama yayogera nange n’aŋŋamba nti, “Olabye Isirayiri etali neesigwa ky’ekoze? Agenze ku buli kasozi na buli wansi w’omuti oguyimiridde ne yeeyisa ng’omukazi omwenzi. 7 (B)Nalowooza nti, Bw’alimala okukola bino byonna agenda kudda gye ndi naye teyadda, era muganda we atali mwesigwa Yuda n’akiraba. 8 (C)Yalaba nti bwe namala okugoba Isirayiri eyanvaako, ne muwa n’ebbaluwa ey’okumugoba olw’obwenzi bwe. Naye ate ne ndaba muganda we atali mwesigwa Yuda nga taliimu kutya, naye n’agenda n’akola obwenzi. 9 (D)Awo obwenzi bwe bwatuuka ne bumwanguyira nnyo n’ayenda n’asinza amayinja n’ebikonge. 10 (E)Naye wadde nga byonna bimaze okubaawo, muganda we Yuda atali mwesigwa, teyakomawo gye ndi na mutima gwe gwonna, naye yali alimbalimba,” bw’ayogera Mukama.
11 (F)Mukama n’aŋŋamba nti, Isirayiri asudde obwesigwa, mutukuvu okusinga Yuda atali mwesigwa. 12 (G)Genda obuulire abantu b’omu bukiikakkono obubaka buno, obagambe nti,
“ ‘Komawo ggwe Isirayiri,
eyanvaako,’ bw’ayogera Mukama.
‘Siribatunuuliza busungu kubanga ndi waakisa,’ bw’ayogera Mukama;
‘Sirisiba busungu ku mwoyo emirembe gyonna.
13 (H)Mukkirize bukkiriza ekibi kyammwe,
mwajeemera Mukama Katonda wammwe,
mwasinza bakatonda abalala,
wansi wa buli muti oguyimiridde,
era ne mutaŋŋondera,’ ”
bw’ayogera Mukama.
14 (I)“Mukomeewo mmwe abaana abanvaako,” bw’ayogera Mukama; “kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni.
Etteeka ly’Obwenzi
27 (A)“Mwawulira bwe kyagambibwa nti, ‘Toyendanga!’ 28 (B)Naye mbagamba nti Buli muntu atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe. 29 (C)Noolwekyo obanga eriiso Lyo erya ddyo likuleetera okwesittala, liggyeemu olisuule wala. Kubanga kirungi okugenda mu ggulu ng’ebitundu byo ebimu tobirina okusinga okugenda nabyo byonna mu ggeyeena. 30 Era obanga omukono gwo ogwa ddyo gukukozesa ebibi, kirungi okugutemako ogusuule wala. Okugenda mu ggulu ng’ekitundu ky’omubiri gwo ekimu tokirina kisinga okugenda mu ggeyeena n’ebitundu by’omubiri gwo byonna. 31 (D)Kyagambibwa nti, ‘Buli anaagobanga mukazi we, anaawanga omukazi oyo ebbaluwa ey’okumugoba.’ 32 (E)Naye mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we wabula olw’obwenzi anaabanga amwenzesezza, n’oyo anaawasanga omukazi gwe bagobye anaabanga ayenze.”
Okulayira
33 (F)“Mwawulira bwe kyagambibwa ab’edda nti, ‘Buli kye weeyamanga eri Mukama okituukirizanga.’ 34 (G)Naye mbagamba nti: Temulayiranga n’akatono! Temulayiranga ggulu, kubanga ye ntebe y’obwakabaka bwa Katonda. 35 (H)Temulayiranga nsi, kubanga y’entebe y’ebigere bye. Temulayiranga Yerusaalemi, kubanga ky’ekibuga kya Kabaka omukulu. 36 Era tolayiranga mutwe gwo, kubanga toyinza na kufuula luviiri lwo olumu okuba olweru oba oluddugavu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.