Revised Common Lectionary (Complementary)
EKITABO V
Zabbuli 107–150
107 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
33 (A)Afuula emigga amalungu,
n’emikutu gy’amazzi ne giba ng’ettaka ekkalu,
34 (B)ensi engimu n’agifuula olukoola olw’olunnyo
olw’obwonoonyi bw’abantu baamu.
35 (C)Eddungu yalijjuza ebidiba by’amazzi,
n’ensi enkalu n’agikulukusizaamu amazzi,
36 abalina enjala n’abateeka omwo,
ne beezimbira ekibuga eky’okubeeramu,
37 (D)ennimiro zaabwe ne bazisigamu emmere, ne basimba emizabbibu,
ne bakungula ebibala bingi.
38 (E)Yabawa omukisa gwe, ne beeyongera obungi;
n’ebisibo byabwe n’atabiganya kukendeera.
39 (F)Ate ne bakendeera obungi, ne bakkakkanyizibwa
olw’okujeezebwa, n’okujoogebwa n’okulaba ennaku;
40 (G)oyo anyooma n’abakungu,
n’ababungeetanyiza mu lukoola omutali kantu.
41 (H)Naye abaali mu kwetaaga yabamalako ennaku n’okubonaabona,
n’ayaza ezzadde lyabwe ng’ebisibo.
42 (I)Abagolokofu, bino babiraba ne basanyuka;
naye abakola ebibi bo basirika busirisi.
43 (J)Abalina amagezi bonna, bagondere ebigambo bino
era bategeere okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.
Abalumwa Ennyonta Bayitibwa
55 (A)“Kale mujje,
mmwe mwenna abalumwa ennyonta, mujje eri amazzi.
Mujje mmwe abatalina ssente zigula,
mujje muweebwe bye mwagala,
envinnyo oba amata ebitali bya kugula
ebitaliiko miwendo gya kusasula.
2 (B)Lwaki musaasaanya ensimbi zammwe ku ebyo ebitali bya kulya
muteganira ebyo ebitakkusa?
Mumpulirize, mumpulirize n’obwegendereza mulye ebyo ebirungi,
emmeeme yammwe eneesanyuka nnyo.
3 (C)Mumpulirize mujje gye ndi.
Muwulirize mubeere balamu;
nnaabakolera endagaano ey’olubeerera,
era egyo gy’emikisa gyange n’okwagala bye nasuubiza Dawudi.
4 (D)Laba namufuula omujulirwa eri abantu,
omukulembeze era omugabe w’abantu.
5 (E)Laba oliyita amawanga g’otomanyi,
era amawanga g’otomanyi galyanguwa okujja gy’oli.
Kiribaawo olw’obuyinza bwa Mukama Katonda wo
era Omutukuvu wa Isirayiri
kubanga akugulumizza.”
6 (F)Munoonye Mukama nga bw’akyayinzika okulabika,
mumukaabirire nga bw’akyali okumpi.
7 (G)Omubi aleke ekkubo lye,
n’atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye.
Leka adde eri Mukama naye anaamusaasira, adde eri Katonda waffe
kubanga anaamusonyiyira ddala.
Yesu Aliisa Abantu Enkumi Ennya
8 Mu biseera ebyo, ebibiina ne byeyongera obunene nate, abantu emmere n’ebaggwaako. Yesu n’ayita abayigirizwa be n’abagamba nti, 2 (A)“Abantu bano bankwasa ekisa, kubanga baakamala nange ennaku ssatu, naye tebalina kyakulya. 3 Singa mbasiibula baddeyo ewaabwe nga tebalidde, enjala ejja kubasuula ku kkubo! Ate abamu bava wala.”
4 Abayigirizwa ne bamubuuza nti, “Emigaati tunaagiggya wa wano mu ddungu eginaamala abantu bano bonna?”
5 Yesu n’ababuuza nti, “Mulinawo emigaati emeka?” Ne baddamu nti, “Musanvu.”
6 Awo Yesu n’alagira abantu batuule wansi. N’addira emigaati omusanvu, ne yeebaza Katonda, n’agimenyaamenyamu, n’agiwa abayigirizwa be ne bagitwalira ekibiina ne babagabula. 7 (B)Era baalina wo n’ebyennyanja bitono, nabyo Yesu n’abiwa omukisa n’agamba abayigirizwa be babigabule abantu. 8 (C)Abantu bonna ne balya okutuusa lwe bakkuta, ne bakuŋŋaanya ebyabalema ebisero musanvu ebijjudde. 9 Mu kibiina ekyo mwalimu abantu ng’enkumi nnya. N’abasiibula. 10 Amangwago n’asaabala mu lyato n’abayigirizwa be n’ajja mu kitundu eky’e Dalumanusa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.