Revised Common Lectionary (Complementary)
EKITABO V
Zabbuli 107–150
107 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
33 (A)Afuula emigga amalungu,
n’emikutu gy’amazzi ne giba ng’ettaka ekkalu,
34 (B)ensi engimu n’agifuula olukoola olw’olunnyo
olw’obwonoonyi bw’abantu baamu.
35 (C)Eddungu yalijjuza ebidiba by’amazzi,
n’ensi enkalu n’agikulukusizaamu amazzi,
36 abalina enjala n’abateeka omwo,
ne beezimbira ekibuga eky’okubeeramu,
37 (D)ennimiro zaabwe ne bazisigamu emmere, ne basimba emizabbibu,
ne bakungula ebibala bingi.
38 (E)Yabawa omukisa gwe, ne beeyongera obungi;
n’ebisibo byabwe n’atabiganya kukendeera.
39 (F)Ate ne bakendeera obungi, ne bakkakkanyizibwa
olw’okujeezebwa, n’okujoogebwa n’okulaba ennaku;
40 (G)oyo anyooma n’abakungu,
n’ababungeetanyiza mu lukoola omutali kantu.
41 (H)Naye abaali mu kwetaaga yabamalako ennaku n’okubonaabona,
n’ayaza ezzadde lyabwe ng’ebisibo.
42 (I)Abagolokofu, bino babiraba ne basanyuka;
naye abakola ebibi bo basirika busirisi.
43 (J)Abalina amagezi bonna, bagondere ebigambo bino
era bategeere okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.
Mukama Ayanukula Musa
16 Mukama n’agamba Musa nti, “Nfunira abasajja nsanvu mu bakulu ba Isirayiri b’omanyi nga be bakulu b’abantu era nga be bakulembeze baabwe obaleete ku Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, bayimirire awo naawe. 17 (A)Nzija kukka awo njogere naawe; era nzija kutoola ku mwoyo oguli mu ggwe ngubateekemu, balyokenga bakusitulireko omugugu gw’abantu oleme kugwetikkanga wekka.
18 (B)“Abantu bagambe nti, ‘Mwetukuze nga mwetegekera olunaku lw’enkya, lwe mujja okulya ennyama. Kubanga Mukama Katonda yabawulira nga mumukaabirira bwe muti nti, “Singa tufunye ku nnyama ne tulyako! Bwe twali mu Misiri twali bulungi!” Noolwekyo Mukama ajja kubawa ennyama mugirye. 19 Temugenda kugirya mu lunaku lumu, oba mu nnaku bbiri, oba mu nnaku ttaano, oba mu nnaku kkumi, oba nnaku abiri; 20 (C)naye kumala mwezi mulambirira, okutuusa lw’erifulumira mu nnyindo zammwe n’ebanyiwa, kubanga mwesamudde Mukama Katonda abeera mu mmwe, ne mumukaabirira nga mugamba nti, “Mu Misiri twaviirayo ki?” ’ ”
21 (D)Musa n’agamba nti, “Abantu bano mwe ndi bawera omuwendo gwa mitwalo nkaaga abatambuza ebigere, naawe ogamba nti, ‘Nzija kubawa ennyama gye banaalya okumala omwezi mulamba!’ 22 (E)Ebisolo ebiri mu biraalo ne mu bisibo bwe binattibwa binaabamala? Nantiki ebyennyanja byonna eby’omu nnyanja bwe binaavubibwa ne bibaweebwa, binaabamala?”
23 (F)Mukama n’agamba Musa nti, “Omukono gwa Mukama Katonda guyimpawadde? Kaakano ojja kulaba obanga ekigambo kyange kye nkugambye kinaatuukirira oba tekiituukirire.”
Mukama Aweereza Ennyama ey’Obugubi
31 (A)Awo empewo n’eva eri Mukama Katonda n’ereeta obugubi nga buva mu nnyanja ne bugwa okwebungulula olusiisira nga bukoze entuumo nga ya mita emu okuva ku ttaka, nga bujjuza ebbanga lya lugendo lwa lunaku lumu ku ludda olumu olw’olusiisira n’olugendo lwa lunaku lumu ku ludda olulala. 32 Ku lunaku olwo ne ku lunaku olwaddirira abantu ne bakuŋŋaanya obugubi emisana n’ekiro. Tewali yakuŋŋaanya buzito bwakka wansi wa kilo lukumi; ne babwanika buli wantu mu lusiisira.
Obulamu obuggya mu Kristo
17 (A)Ng’omugoberezi wa Mukama waffe, mbalagira okulekeraawo okutambula ng’abatamanyi Katonda bwe batambulira mu birowoozo byabwe eby’obusirusiru. 18 (B)Amagezi gaabwe gajjudde ekizikiza. Tebalina mugabo mu by’obulamu bwa Katonda, kubanga bajjudde obutamanya era emitima gyabwe mikakanyavu. 19 (C)Tebakyalina nsonyi, beemalidde mu bya buwemu, na mululu gwa kukola bya bugwenyufu ebya buli ngeri.
20 Kyokka mmwe si bwe mwayigirizibwa ku bya Kristo. 21 Obanga ddala mwamuwulira, era ne muyigirizibwa mu ye ng’amazima bwe gali mu Yesu, 22 (D)kale mwambulemu obulamu obw’omuntu ow’edda, avunda olw’okwegomba okw’obulimba. 23 (E)Mufuuke baggya olw’Omwoyo afuga ebirowoozo byammwe, 24 (F)era mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu kutukuzibwa okw’amazima.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.