Revised Common Lectionary (Complementary)
EKITABO V
Zabbuli 107–150
107 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
23 Abalala baasaabalira mu maato ku nnyanja;
baali basuubuzi b’oku gayanja aganene.
24 Baalaba Mukama bye yakola,
ebikolwa bye eby’ekitalo mu buziba bw’ennyanja.
25 (A)Kubanga yalagira omuyaga
ne gusitula amayengo waggulu.
26 (B)Ne gagulumira okutuuka ku ggulu, ate ne gakka wansi mu ddubi;
akabenje ne kabayitirira, ne baggwaamu amaanyi.
27 Ne beesunda, eruuyi n’eruuyi ne baba ng’omutamiivu atagala;
n’amagezi ne gabaggwaako.
28 Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu buzibu;
n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
29 (C)Omuyaga yagusirisa,
ennyanja n’etteeka.
30 Ne bajjula essanyu kubanga ennyanja yateeka;
n’abakulembera n’abatuusa bulungi ku mwalo gwabwe.
31 Kale singa abantu beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!
32 (D)Bamugulumizenga ng’abantu bakuŋŋaanye,
era bamutenderezenga mu lukiiko lw’abakulu.
37 “Kino kikankanya omutima gwange,
ne gubuuka okuva mu kifo kyagwo.
2 (A)Wuliriza okubwatuka kw’eddoboozi lye,
n’okuwuluguma okuva mu kamwa ke.
3 Asumulula eggulu ne limyansa wansi w’eggulu wonna,
n’aliragira ligende ku nkomerero y’ensi.
4 Kino oluggwa, okuwuluguma kw’eddoboozi lye kwe kuddako,
abwatuka n’eddoboozi lye ery’omwanguka,
era eddoboozi lye bwe liwulirwa,
tewabaawo kisigala nga bwe kibadde.
5 (B)Eddoboozi lya Katonda libwatuka mu ngeri ey’ekitalo;
akola ebintu ebikulu ebisukka okutegeera kwaffe.
6 (C)Agamba omuzira nti, ‘Ggwa ku nsi,’
ate eri enkuba etonnya nti, ‘Ttonnya nnyo.’
7 (D)Emirimu gya buli muntu giyimirira,
buli omu n’alyoka amanya amaanyi ga Katonda.
8 (E)Ensolo ne ziryoka zessogga empuku zaazo,
ne zigenda zeekukuma.
9 Omuyaga ne gulyoka guva mu nnyumba yaagwo,
n’obunnyogovu ne buva mu mpewo ekuŋŋunta.
10 (F)Omuzira ne guva mu mukka gwa Katonda
n’amazzi amangi ne gekwata kitole.
11 (G)Ebire abijjuza amatondo g’amazzi,
n’asaasaanya okumyansa kw’eggulu.
12 (H)Byetooloolatooloola nga y’abiragira,
ne bituukiriza byonna by’abiragira,
ku nsi yonna okubeera abantu.
13 (I)Bwe kuba kubonereza, oba okufukirira ensi
oba okulaga okwagala kwe, atonnyesa enkuba.
Okujja kw’Omwana w’Omuntu
25 (A)“Walibaawo obubonero ku njuba, ne ku mwezi, ne ku mmunyeenye. Wano ku nsi amawanga galibeera mu kunyolwa, olw’ab’amawanga, ng’abantu basamaaliridde olw’ennyanja eziyira n’amayengo ageesiikuula. 26 (B)Abantu baliggwaamu amaanyi ne bazirika nga batidde nnyo olw’ebirijja ku nsi; kubanga amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa. 27 (C)Mu kiseera ekyo muliraba Omwana w’Omuntu ng’ajjira mu kire n’obuyinza n’ekitiibwa kingi. 28 (D)Kale ebintu ebyo bwe bitandikanga muyimiriranga butereevu ne muyimusa amaaso gammwe waggulu! Kubanga okulokolebwa kwammwe nga kusembedde.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.